TOP

Abayimbi balaajanidde ba maneja b''amasiteegi; Batuggyako ssente ne tutayimba.

Added 12th June 2015

OMUDIGIZE agenda mu kivvulu n’asasula ssente okulaba omuyimbi. Ekisesa nti n’omuyimbi oyo gw’osasulidde oluusi amala kusasula ssente okufuna omukisa okulinnya ku siteegi.

Bya M. NDIJJO, J. SSEGUYA NE RONALD MUGENYI

OMUDIGIZE agenda mu kivvulu n’asasula ssente okulaba omuyimbi. Ekisesa nti n’omuyimbi oyo gw’osasulidde oluusi amala kusasula ssente okufuna omukisa okulinnya ku siteegi.

Abayimbi okuba abangi ng’ate buli olukya waliwo abapya abatutunuka ng’obutiko buli omu abeera alwana okumanyika n’okufuna ettuttumu atuukirize ekirooto kye.

Erimu ku makubo okutuuka ku kino kwe kuyimbirako mu bivvulu ebinene n’okulinnya ku siteegi emu n’abayimbi abanene. Era kino kifudde siteegi ey’okulwanira.

Kino kiwadde abavunaanyizibwa ku siteegi zino (b’oyinza okuyita Siteegi maneja) okugifuula bizinensi nga basolooza ssente ku bayimbi abato abaagala okulinnya ku siteegi.

Okumanya bizinensi eno efuna, abantu bakeera kunoonya muntu alina ekivvulu nga bamwesooka abawe obu-vunaanyizibwa bwa siteegi ne bw’aba tagenda kumusasula. Ate abalala basaba ssente ntono nga bakibalidde ku ssente ze bagenda okusolooza mu bayimbi abato.

Babaggyako wakati wa 10,000/- ne 100,000/- okusinziira ku bweta¬avu bw’omuyimbi oba obunene bw’ekivvulu. Eky’embi nti abamu ne bwe beefiiriza akasente kaabwe ne bakasasula bafune omukisa okuyimba ate babalemesa nga bawoza nti obudde buyise.

Okumanya bizinensi eno egaaziye ng’eriko n’abakola obwa bbulooka. Bano beefuula abaweereddwa obuvunaany¬izibwa ku bayimbi abagenda okuyimba mu kivvulu olwo ne banoonya abayimbi abato abaagala okuyim¬ba ne babasasuza ssente.

Zibeera wakati wa 50,000/- ne 200,000/-. Olw’okuba baba bamanyi bannannyini bivvulu oba ababivu-naanyizibwako, babatwalira ddiiru zino ne bagabana ssente.

Kasule ng’awandiika abayimbi abalina okuyimba

ABA KALIFAH AGANAGA BANZIBA

Dorah Namis (muyimbi mupya) eyakuyimbira ‘Ring ya Love’ yategeezezza nti ku kivvulu kya Aganaga ekyabadde ku Ambiance Parking e Bukesa, omuwala ono yatabukira abaali bavunaanyizibwa ku siteegi ng’abalumiriza okumulyako 10,000/- ze baamusaba okulinnya ku siteegi kyokka ne bamugaana.

N’abayimbi abalala bangi baavaayo nga bayomba olw’okubagobya CD zaabwe n’okubafuumuula emabega wa siteegi ne babalemesa okuyimba.

Twogedde n’abamu ku bantu abatera okuweebwa obuvunaanyizibwa bwa siteegi mu bivvulu n’abayimbi ne batulaga obulumi n’obugubi bwe bayitamu okulinnya ku siteegi.

ROBERT KASULE

Ono agamba nti amaze emyaka egisoba mu 10 ng’akola ku bivvulu eb’enjawulo ng’avunaanyizibwa ku siteegi. Bwe yabuuziddwa ku ky’okusasuza abayimbi naddala abato okubawa omukisa okuyimba, yategeezezza nti, ‘‘nze sirina muyimbi gwe nali nsasuzza ssente okuyimba okuggyako waliwo abacamuka ng’omuwadde omukisa n’akuwaayo akasiimo.

Abalala bw’omugaana ng’atandika okukuwaayiriza nti wamuliddeko ssente. Ate si buli muyimbi abeera mu kivvulu nti ayimba okuggyako abo bokka nnannyini kivvulu be yatadde ku lukalala. Ky’ova olaba ng’abamu bwe batuuka bafuna we batuula nabo ne banyumirwa ebigenda mu maaso.

Abamu batusobera, bw’amala okusasula ssente ku mulyango ayitawo butereevu n’agenda emabega wa siteegi nga batandika okusumbuwa abategesi nti asasudde ssente ze ayagala kuyimba’’.

Kasule ayongerako nti, ‘‘ng’oggyeko omuyimbi obutaba na pulogulaamu oba olukalala lw’abayimbi, abamu tubagaana lwa kwambala bubi n’okuyimba ebitategeerekeka’’.

OKULINNYA KU SITEEGI OTOBA

Victor Kamenyo eyayimba ‘Sirina malala’ agamba nti okutuuka okumanyika kati ne bamuteeka ne ku lukalala lw’abayimbi mu bivvulu ebimu azze atoba.

“Sigenda kwerabira omwaka oguwedde ku bbaala ya Monalisa e Kabuusu bwe nnali ng’enze okuy¬imba ku lunaku lw’omuyimbi Maro, MC w’olunaku bwe Omuyimbi nga yeegayirira Dickson Okello amukkirize okulinnya ku siteegi.
yangoba n’agattako n’okummenyera CD yange ng’agamba nti nnali mwetawuliddeko nnyo. Olumu nga nnina okusasula

wakati wa 10,000/- ne 50,000/- naye kati Mukama yanyamba batandise okumpita mu bivvulu ne nnyimba’’.

NINCE HENRY

Ono agamba tagenda kwerabira kiro kya December 31, 2014 bwe baamuswaliza ku siteegi ne bamugobako mbu abayimbi abanene bayimbe.

Agamba nti, ‘‘ng’ebula eddakiika 20 okuyingira 2015, eyali avunaanyizibwa ku siteegi, Richard Flavour yampa omukisa nnyimbe.

DJ wange Rodney yasumululirawo omuziki kyokka ekyanzigya enviiri ku mutwe ye MC okweko¬baana ne basajja ba Chameleone ne bakweka akazindaalo nga bagamba nti ono tayinza kubasooka. Embeera eno yavaako olutalo ng’abaserikale bangoba ku siteegi’’.

Ku ky’abayimbi okusasula abavu¬naanyizibwa ku siteegi ssente Nince Henry agamba nti tekiri mu bato bokka n’abayimbi abanene bakikola okubanguyizaako naddala ng’alina ebivvulu ebirala by’agenda okuyimbirako.

FULL FIGURE

Obwa bbulooka bw’ono buva ku ‘jams’ z’alina ku mabaala ag’enjawulo omuli Lavanda e Lusaze ne Dancers ku Salaa¬ma Road buli Lwakubiri. Ebivvulu bino bisinga kuyimbiramu bayimbi bato. Yategeezezza nti olw’okuba bamumanyi nnyo, bwe bamulaba mu bivvulu bamusaba abayiseewo bayimbe.

Agamba nti kino kye kyaleetera omuyimbi omuto mu kivvulu kya King Saha ku Freedom City okumusaba amuyambe alinnye siteegi kyokka ne kitasoboka wadde ng’omuntu gwe yamulaga, Jordan Ssenfuma eyali avunaany¬izibwa ku pulogulaamu y’okuyimba yamuwa 100,000/.

Ssenfuna bwe yatuukiriddwa ku ssimu yabyegaanyi nti tebamuwanga ku ssente n’agaana n’okubaako ekiwanvu ky’ayogera ku nsonga eno.

OMULANGIRA PETER NDAUSI

Engeri gye ndudde mu kintu kino, sikkiriza muyimbi gwe simanyi kulinnya ku siteegi.
Nsooka kumugamba n’aleeta ennyimba ze ku leediyo gye nkolera ne nzikuba okukakasa oba ky’akola akitegeera.

Abo abagaba 10,000/- bakkirizibwe okuyimba ku siteegi sibimanyi kubanga nze nga bw’ondaba nsobola okukwata ezo ssente?

Wabula abakwata CD z’abayimbi okuzitwalira ba DJ, kirabika be balya ssente z’abayimbi naye nga si ba MC ne ba siteegi maneja.
 

Abayimbi balaajanidde ba maneja b''amasiteegi; Batuggyako ssente ne tutayimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kapiteeni wa Arsenal Aubameyang ne mukama we Arteta

Arsenal lwa kuwangula FA Cu...

ARSENAL yamyumyudde likodi y’okuwangula FA Cup emirundi emingi (14) bwe yavudde emabega okukuba Chelsea (2-1) e...

Aba Digi bafunye webabajjan...

EKIBIINA ekidukanya omuzannyo gwa ddigi mu ggwanga ekya Motorcycling Association of Uganda (MAU) kitongoza ekifo...

Mutebi (mu katono) ng’alaga amabwa ku kabina ke.

Abajaasi abalwanyisa envuba...

ABAVUBI babiri ku mwalo gw’e Wanyange mu Ggombolola ye Mafubira e Jinja bakigguddeko, abajaasi abalwanyisa envuba...

Dr. Tumwesigye

Dokita aleppuka na gwa kuka...

OMUSAWO Wilson Tumwesigye 32, ono ng’akola gwa kukebera bakyala ba mbuto (Radiographer) mu ddwaaliro lya Kamwokya...

Abaana abaatomeddwa mmotoka nga batwalibwa mu ddwaaliro e Kawolo. Mu katono bwe babadde bafaanana.

Makanika abadde agezesa mmo...

MAKANIKA olumaze okukanika emmotoka n’agivuga emisinde n’emulemerera okukkakkana nga yeefudde n’etomera abaana...