TOP

Bebe ne Kenzo bawera kuwangulira Uganda ngule

Added 19th June 2015

EKIMU ku bintu ebisaanikidde emikutu gya yintanenti okuli Face book , Twitter, Instagram, WhatsApp n’emirala z’empaka z’okuyimba ez’enjawulo abayimbi Bannayuganda mwe balondeddwa okuvuganya ku lukalu lwa Afrika n’ensi yonna.

 Bya MARTIN NDIJJO

EKIMU ku bintu ebisaanikidde emikutu gya yintanenti okuli Face book , Twitter, Instagram, WhatsApp n’emirala z’empaka z’okuyimba ez’enjawulo abayimbi Bannayuganda mwe balondeddwa okuvuganya ku lukalu lwa Afrika n’ensi yonna.

Essaawa eno buli muyimbi ali mu keetalo n’okukola ekisoboka okukunga abawagizi be okumulonda nga bagamba nti bakooye okukoma ku by’okuvuganya olwo abayimbi b’ensi endala nga Nigeria, South Afrika ne babatwalako engule n’omudidi ekireetera n’ennyimba zaabwe okubuutikirwa.

Abali mu lwokaana kuliko Eddy Kenzo owa ‘Sitya Loss’ avuganya ku ngule y’ensi yonna ate Biigi sayizi avuganya ku ya Afrika. Abalala kuliko Jose Chameleone, Mathias Walukagga ne Ziza Bafana. 
Leero tukuleetedde abayimbi bano n’empaka ze bavuganyamu, engule ze bazze bawangula ne bye boogera ku buwanguzi buno.

EDDY KENZO 
Yasooka n’awangula engule y’omuyimbi asinga mu buvanjuba bwa Afrika (Best East African Artist) mu mpaka za ‘KUNDE Award’ mu Burkina Faso mu April w’omwaka guno.

Kati alondeddwa okuvuganya mu mpaka za BET (Black Entertainment Television) eziri ku ddaala ly’ensi yonna ne yeewaana. ‘‘Kati eby’okuyimba ne bwe mbivaako ekirooto kyange kituukiridde.

Mu butuufu amawulire gansanyudde nnyo katono ngwe n’eddalu kubanga kibadde kirooto kyange okuvu-ganyako mu mpaka ez’amaanyi era ntaddemu amaanyi, ssente n’okuyiiya’’. Nsaba abawagizi bange bonna okunnonda mpangule nnyongere okuwani¬ka bendera ya Uganda.

Kenzo avuganya ku ngule ya ‘Viewer’s Choice Award’ ng’ali mu kiti kya ‘‘Best New International Act’’. Avuganya ne: Cassper Nyovest ow’e South Africa, Munnaghana Mz Zee, Abangereza George The Poet ne MIC Lowry ssaako Omufaransa, Novelist.

Omuwanguzi alangirirwa June 28, mu Nokia Theatre L.A mu Los Angeles mu Amerika. Okwawukanako n’emitendera emirala mu mpaka zino, guno Kenzo gwavuganyako abategesi bagulekedde bagoberezi mu nsi yonna okulonda omuyimbi abasingira nga bayita ku mi¬kutu gy’empaka zino egy’enjawulo.

Walukagga avuganya ku Kora Awards

Kenzo agamba kino takitidde kubanga alina abagoberezi abawerako nga ku Face book alina emitwalo 17, Instagram emitwalo 6, Twitter emitwalo 5, You -Tube emitwalo 6.

Okulonda Kenzo genda ku mukutu gw’empaka zino okebere omutendera gwalimu owandiike #ipickeddy. 
Era avuganya mu ‘Nigerian Entertain¬ment Awards (NEA) 2015’ ku muten¬dera gwa ‘African Artist of the Year’ mu bayimbi abatali Banigeria. Avuganya ne Diamond Platinum, Sauti Sol, Sarkodie, Stoneboy, AKA Mzvee.

Ate omwaka oguwedde yalondebwa okuvuganya mu mpaka za: Afro-Austra¬lia Music and Movie Awards 2014- Best New Music Act, Channel O Music Video Awards 2014 ku ngule ya Most Gifted East. 
International Reggae and World Music Awards (IRAWMA) ku ngule ya Best African Song/ Entertainer.

BEBE COOL 
Oluyimba lwe olwa ‘Love you every day’ lwawangula mu mpaka za ‘Radio Afro Australia song of the year Award’ n’ammegga abayimbi abanene mu Afrika ne Bulaaya omwezi oguwedde. 
Kati vidiyo y’oluyimba luno evuganya mu mpaka za MTV Africa Music Awards ku ngule ya ‘Video Of The Year’ n’awera nti kye kiseera okukakasa abantu nti alina ekitone.

“Mpulira essanyu n’ekitiibwa okulondebwa okuvuganya mu mpaka zino era kiraga nti myuziki wange takoma mu Uganda ate abantu bamwagala. Vidiyo eno nnagiteekamu obukadde obuwera abamu kye baayita okwejalabya. Kati amagoba gatandise okuvaayo. 
Vidiyo eno okutuuka ku ngule eno yakwatibwa kafulu Clarence Peters. Vidiyo z’abalala Bebe Cool b’avuganya nabo kuliko: “Crazy” - Seyi Shay Featuring Wizkid eyakwatibwa  Meji Alabi.

“Doors” - Prime Circle yakwatibwa Ryan Kruger. 
“Nafukwa” - Riky Rick yakolebwa Adriaan Louw. 
“The Sound” - Davido Featuring Uhuru & DJ Buckz yakwati¬bwa Sesan. 
Okulonda Bebe genda ku mukutu gw’empaka zino okebere omutendera gwalimu omulonde.

Chameleone ku luno avuganya ku Kilimanjalo Awards.

EMPAKA Z’AZZE AVUGANYAMU 
Afrimma Awards 2014 
Tanzanian Music Awards 2011 
Best East African Song (‘Kaseppiki’) 
2007 Mobo Awards 
Kora Awards 2003 – Best East African Artist

ABAYIMBI ABALALA ABAVUGANYA OMWAKA GUNO

Jose Chameleone: 
Oluyimba lwa, Wale Wale luvuganya mu mpaka za Kiliman¬jaro Music Awards ku ngule ya ‘Best East African song 2015’. 
Abbiisanya n’ennyimba endala nga: Kioo (Jaguar), Sura Yako (Sauti Sol), Show (Victoria Kimani) and Prokoto (Victoria Kimani ft Diamond Platinumz.

ENGULE  Z’AWANGUDDE 
2013 Beffta Awards – Best International Act 
2014 Kilimanjaro Music Awards – Best East African Song “Tubonge” 
2007 Kisima

 Music Awards –

Best Ugandan Song (Sivyo Ndiviyo with Professor Jay)

2004 Tanzania Music Awards

– Best East African Album (“Bei Kali”)

2005 Tanzania Music Awards

– Best East African Album (“Jamila”)

 

MATHIAS WALUKAGGA

Ono agenda kuvuganya ku ngule ya Best Traditional Artist- Male mu mpaka za Kora Awards. Singa awangula engule

eno waakufuna ddoola 20,000 mu za Uganda (64,540,000/-).

N’omwaka oguwedde Walukagga yalondebwa kyokka ekirwadde kya Ebola ekyalumba South Afrika ne kibalemesa okulangirira abawanguzi bwatyo n’aviiramu awo.

Pastor George Okudi owa ‘Wipolo’ ye yekka eyakeetaba mu mpaka zino eza Kora Awards n’awangula engule mu 2004.

Ye Ziza Bafana yalondeddwa okuvuganya mu mpaka za RLM Awards ku ngule y’omuyimbi omusajja asinga era naye essaawa eno ali mu keetalo ng’asaba abawagizi be bamuwagire afune ku kitiibwa.

Juliana Kanyomozi azze avuganya ku ngule ez’enjawulo

MOZE RADIO NE WEASEL

Bano be baasooka okuvuganya mu mpaka za BET eziri ku ddaala ly’ensi yonna mu 2013. Baavuganya ku ngule ya

Best International Act - Africa eyawangulwa Omunigeria Ice Prince mu 2013.

Omukolo guno gwali mu Amerika era baamuwerekerako ku siteegi okulaga obwasseruganda.

JULIANA KANYOMOZI

Ono naye azze avuganya mu mpaka ez’enjawulo n’awangula engule ezimu.

2012 Best International Afrobeats Act at BEFFTA Awards, UK .

2012 Best Female Artist East

Africa – Kora Awards – “I Am Ugandan”

2011 East African Music

Awards – Best Female Artist – “Alive Again”

2010 Tanzania Music Awards

– Best East African Song – “Haturudi Nyuma” with Kidum 2006 Tanzania Music Awards

– Best Ugandan song (“mama mbiire”)

Ate Bobi Wine azze alondebwa n’avuganya ku ngule z’ebweru kyokka tawangulayo n’emu.

WADDE Bannayuganda bazze balondebwa okuvuganya mu mpaka z’okuyimba ez’enjawulo mu Afrika n’ensi yonna, bangi bavuddeyo nga banjala ngalo. Olwo abawagizi ne basigala nga beebuuza ekyatuuka ku bayimbi baffe.

Joseph Batte omu ku baludde nga bawandiika, okugoberera n’okutendeka eby’okuyimba agamba nti si buli muntu akola oluyimba n’okuluyimba nti muyimbi.

‘‘Okuyimba kintu kigazi ate omuyimbi olina okuba omuyiiya ennyo. Obuzibu bwe tulina buli omu yeeyita muyimbi naye ng’abamu baava dda ku nnono yaffe.

Agamba nti bw’oba okoppye yongeramu ekipya nga tovudde ku nnono oluyimba lusigale nga balutegeera nti lwa Munnayuganda.

Ayogerako nti, “Kenzo ne Bebe Cool okulondebwa okuvuganya mu mpaka ezo tekinneewuunyisa kubanga bwe babaako kye bakoppye bafuba okukyusa ne bakifuula ekyabwe.

Ate Bebe Cool akuze mu myuziki y’ensonga lwaki atandise okukola ennyimba ez’omulembe.” 

 

Bebe ne Kenzo bawera kuwangulira Uganda ngule

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...

Police FC eyongedde okwenyweza

MU KAWEEFUBE wa Police FC ezannyira mu Star times Uganda Premier League okwetegekera sizoni ejja 2020/2021, basonjodde...