TOP

ANI ASASULA BAWOLOLE B'ABAYIMBI

Added 26th June 2015

SI BAYIMBI, si bagagga, si bapulomoota kyokka bw’oyita omuyimbi ku mukolo oba ekivvulu be basookawo oba okuyingirawo naye mu gubinja.

Bya MARTIN NDIJJO NE JOSEPHAT SSEGUYA

SI BAYIMBI, si bagagga, si bapulomoota kyokka bw’oyita omuyimbi ku mukolo oba ekivvulu be basookawo oba okuyingirawo naye mu gubinja.

Olwo ggwe eyategekedde omugenyi omu n’ofuna obuzibu olw’abagenyi abatali bayite.
Bano oyinza okubayita abayambi b’abayimbi, bawolole oba abalebeesi abakola guno na guli naye ng’omulimu gwabwe
omutuufu ogunoonya ne gukubula.

Bawolole bano basinga kubeera n’abayimbi abanene nga Jose Chameleone, Bobi Wine, Bebe Cool, Ragga Dee, Juliana Kanyomozi, Iryn Namubiru, Desire Luzinda, Good Lyfe n’abalala. Kyokka waliwo n’abayimbi abato
abakoppye enkola eno.

Omuyimbi bw’aba aluddewo okutuuka ku siteegi, bawolole bano bamanyi okuyingirawo ne bageegenya ennyimba za bannaabwe. Abalala beeyita bazinnyi oba ababayambako okuyimba nga bakola ‘back up’. Waliwo n’abatuuka mu maka g’abayimbi ne basiibayo, okusulayo n’okukola emirimu emitotono ng’oyinza okulowooza nti baana
b’awaka.

Wano abantu we beebuuliza nti abavubuka bano babeerawo batya nga n’abayimbi abamu basanga obuzibu okulabirira amaka gaabwe?

ABAKOZE AMANNYA MU BWA WOLOLE

Issa: Ono ali mu nkambi ya Jose Chameleone ng’akola guno na guli mu Leone Island ng’oluusi y’amuggala ‘okuba kanyama we’.

Y’asooka mu kivvulu okulaba bwe kitambula, okubanja bbaalansi n’okukola ku by’okunywa n’okulya. JB Breeza: N’ono wa Chameleone nga n’awaka atuuka, amuyambako okutwala abaana ku ssomero n’okwaniriza abagenyi.
Ono oyinza okumuyita mbega wa Chameleone kubanga yasooka mu bivvulu.

Jimmy Mukasa Bw’oba onoonya Luzinda n’olaba Jimmy tobuuza gy’ali kubanga y’akola gyonna egya wano na wali omuli okutegeka eng’endo ze, ebyokwerinda, entambula n’okukunga abawagizi n’ebirala.

Ono yagambye nti bamuwa omusaala gwa 500,000/- buli mwezi ne allowance 100,000/-.
Kaguta Yasooka wa Bobi Wine ng’atambuza nnyimba za Fire Base n’okukwata ebivvulu Bobi mw’anaayimbira. Yavaayo n’adda mu kibiina kya Good Lyfe ekya Moze Radio ne Weasle.

Evelyn Namulondo Bw’oba onoonya Rema Namakula teweebuuza gy’ali ng’olabye kw’ono. Kyokka oluusi abeera ne Irene Namatovu. Y’abakwatira engoye ze bayimbiramu oba ze baggyemu nga bakyusa. Muzinyi mu Ebonies naye tava bayimbi ku lusegere.

Desire Luzinda n’abamu ku bawolole be. Ku kkono ye Jimmy Mukasa

ABAFUNYEMU Young Mulo Yali wa Chameleone n’asibwa mu 2012 nga kigambibwa nti, yabba ebintu bya Weasel. 

Yakuba oluyimba lwa ‘Tebatusobola’ olwamuwa etuttumu n’avamu bwa wolole kati ayimba yekka wadde ng’ennaku zino asseemu.

ENNEEYISA YAABWE

Abawagizi b’abayimbi beekokkola empisa z’abamu ku bawolole bano nga bagamba nti babalemesa okutuuka ku bassereebu baabwe nga beefuula bakanyama.

Abalala bagamba nti tebabawa kitiibwa nga beefuula abatabamanyi ne babaswaza nga bawoza nti bali ku biragiro bya bakama baabwe.

Waliwo be balumiriza okutabangula ebivvulu n’emikolo naddala nga basanzeeyo omuyimbi bwe batalima kambugu ne balwana n’oluusi poliisi okubakubamu ttiyaggaasi.

Olw’obungi bwa bawolole abeetooloola abayimbi, abantu bangi nabo bakung’aana ekireetawo akavuyo n’okusala ensawo.

Issa ng’atwalira mukama we Chameleone omwenge.

BABEERAWO BATYA

Bano abasinga tebafuna musaala era kizibu okutegeera engeri gye balabiriramu famile zaabwe. Wabula emmere, ebyokunywa, entambula bakama baabwe babibawa era tebatoma.

Abayimbi bano ebifo gye bacakalira ne bawolole bagenda nabo era guno gwe gulinga omusaala gwabwe kubanga bayingirira bwereere.

Bawolole bano bwe babeera n’emikolo egy’essanyu oba ennaku abayimbi abamu babayambako mu by’ensimbi n’okubabeererawo. Kino kibazzaamu amaanyi ne bafuna essanyu.

Abamanyi okuyimba, bakama baabwe babawa ebivvulu ne babyerangira bo ne bajja ne babayimbirako ne bafuna akasente okukola ku bizibu byabwe.

Mulimu abagezigezi abakwatira bakama baabwe emirimu ne babawa enjawulo gy’oyinza okuyita ‘kamisoni’.
Mu Fire Base Crew, Bobi Wine yategeeza nga mu bavubuka be bwe mulimu be yawa emirimu. Okugeza avunaanyizibwa ku byokwerinda, entambula n’emirimu emirala era ng’abasasula wadde nga tayogera ssente z’abawa.

JB ku ddigi kw’atambulira ng’akola emirimu gya mukama we Chameleone

LWAKI ABAYIMBI BABAAGALA

Abavubuka bano abayimbi batera okubatuma mu situdiyo oba mu bayimbi abato abatalina ssente kyokka nga balina ennyimba ennungi ne bazibabbirayo.

Bakama baabwe abayimbi bwe babaako abakazi be beegombye batuma bano abavubuka ne babakwanira. Nabo oluusi
gye bafunira omukisa gw’okufuna ebyana ebinyirira.

Abayimbi abatera okulwanalwana bakozesa nnyo bawolole bano era bbo tobalabako okweggyako emisango.
Mu bano mubeeramu abategeera eby’okuyimba. Bano be batwala CD ewa DJ n’okumubuulira ennyimba mukama we z’agenda okuyimba.

 

ANI ASASULA BAWOLOLE B’ABAYIMBI

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...