TOP
  • Home
  • Sanyuka ne wikendi
  • Chandiru yeeganyi okukozesa ebiragalalagala: "Nnalya enseenene ng'ate nnina alagye kwe kufuna ebintu ebyankuba ku mikono n'ebigere''

Chandiru yeeganyi okukozesa ebiragalalagala: "Nnalya enseenene ng'ate nnina alagye kwe kufuna ebintu ebyankuba ku mikono n'ebigere''

Added 16th April 2016

KY’OYAGALA kikuseeza. Abavubuka omuli n’abayimbi abettanidde okukozesa ebiragalalagala nga balowooza bye bigenda okubawa amaanyi n’okuyimba obulungi ate gye biggweeredde nga bibasaze. Bafiiriddwa ebitone n’abamu okufa.

 Jackie Chandiru nga bw’afaanana kati. Jackie Chandiru nga bwe yali afaanana. Moze Radio wano yali ku Africana kyokka ng’ayimba ebigambo tebyatuka bulungi.

Jackie Chandiru nga bw’afaanana kati. Jackie Chandiru nga bwe yali afaanana. Moze Radio wano yali ku Africana kyokka ng’ayimba ebigambo tebyatuka bulungi.

KY’OYAGALA kikuseeza. Abavubuka omuli n’abayimbi abettanidde okukozesa ebiragalalagala nga balowooza bye bigenda okubawa amaanyi n’okuyimba obulungi ate gye biggweeredde nga bibasaze. Bafiiriddwa ebitone n’abamu okufa. 

Wadde bakimanyi nti ebintu bino bya bulabe, bisse n’okutabula abamu emitwe. Ekyewuunyisa omuwendo gw’ababikozesa gweyongedde nga balowooza nti bye birimu ekyama ky’okuyitimuka.

Olw’obutaba na mirimu mirala gye bakola, emisana babeera mu kutamiira. We batuukira okugenda ku siteegi gye bayimbira nga bakyuse obwongo. Abamu n’okuyimba kubalema nga bavuya.

Mu bintu bye bakozesa mulimu: Enjaga (bangi bagirima mu maka gaabwe), amayirungi, amafuta g’ennyonyi, Sisha nga bagamba nti bibongera amaanyi n’okukola eddoboozi n’okubamalamu okutya nga bali ku siteegi.

Abamu kati bamira, okunywa n’okwekuba empiso z’ebiragalalagala ebikambwe nga Enjaga, Daye pharm , Kuber n’ebirala ekyongedde okuteeka obulamu bwabwe mu matigga kubanga ebintu bino bw’obyemanyiiza, tebikoma ku kukosa mubiri naye n’obulamu n’okukutta.

Embeera eno yawalirizza abayimbi abamu nga bakulembeddwaamu Ronald Mayinja owa Golden Band okulaajanira gavumenti n’ebibiina by’obwannakyewa ebirina obusobozi okubayamba bakolere wamu okusomesa n’okubudaabuda abavubuka abagudde mu katego okusobola okutaasa ebitone by’eggwanga.

Omuyimbi Madoxx Ssematimba ng’akuba omuziki ku Auto Spa e Munyonyo. Alwana kwetakkuluzaako kyoyerezi kya biragala.

Bano we baviiriddeyo ng’embeera ya Jackie Chandiru eyayimba ‘Gold digger’ (yaliko mu Blue 3) eyongera kweraliikiriza ng’abamuli okumpi bagamba nti yeetaaga ssaala! Olususu lwe luyubuse okufaananako omusota ogweyubula era amumanyi bw’omusanga kizibu okumutegeera.

Chandiru yatwaliddwa mu ddwaaliro lya Bunnamwaya Rehabilitation abudaabudibwe. Baamuggye Mulago gy’abadde ajjanjabirwa amabwa ku mikono n’amagulu agagambibwa nti gajja olw’empiso z’azze yeekuba.

CHANDIRU ayogedde

Bukedde yamusanze e Mulago gye buvuddeko nga tannaba kuggyibwayo kutwalibwa Bunnamwaya n’agamba, ‘‘nze nnina obuzibu bumu, nagwa ku kabenje e Kansanga. Mmotoka yankoona ne nvaamu omusaayi mungi ekintawaanya. Ekirala nalya enseenene ng’ate nnina alagye kwe kufuna ebintu ebyankuba ku mikono n’ebigere’’.

Mayinja avumiridde ababiremeddeko

Yagambye nti mwennyamivu olw’omuwendo gw’abayimbi abakozesa ebiragalalagala ogweyongera buli lukya omuli n’abato ekitadde obulamu bwabwe mu katyabaga n’ebitone okusaanawo.

Ronald Mayinja ng’annyonnyola.

Lwaki abayimbi babikozesa

Mayinja agamba nti ekimu ku kireese embeera eno be bayimbi okulowooza nti okukola myuziki olina kusooka kunywamu oba kukozesa bitamiiza ate abato bakiggya ku bayimbi be bakula nga beegomba. Bano bwe babalaba nga babikozesa balowooza bye bibawadde ettutumu.

Waliwo abeekwasa okubawa obuvumu n’okubamalamu ensonyi okuyimirira mu maaso g’abantu nga tebatya.

Waliwo obweraliikirivu nti ebitone bisaanawo mu ngeri ey’okusaagirira. Abayimbi bosuubira nti wandibadde okwatagana nabo okulwanyisa omuzze guno ogenda okubuuza nga nabo babikozesa.

Katonda yatutonda ng’omubiri bw’oguteekamu ebintu ebikyamu gukosebwa kale kino kye mukola kikyamu era mujja kufa.

Mayinja agamba nti alina ekirowoozo okutandika okusomesa n’okuyamba abo abali mu mbeera eno naye ng’omuntu omu kino takisobola bwatyo n’asaba banne abalumirirwa eggwanga okumwegattako batandike kaweefube w’okuwonya ebitone.

Abayimbi abafudde ebiragalalagala

AK47 

Yadde poliisi n’okutuusa kati ekyanoonyereza ku nfa y’omuyimbi AK47, okusinziira ku alipooti eyafulumizibwa abasawo okuva mu ddwaaliro lya Mulago, yalaga nti yafa biragalalagala.

Abasawo baategeeza nti yakozesa bingi ne bimusinza amaanyi n’asirittuka n’agwa n’akubawo omutwe omusaayi ne gwetugga ku bwongo.

Wabula abamu ku booluganda kino baakiwakanya ne balumiriza be yali nabo okumutta.

Abaserikale nga bakunguzza omu ku bavubuka be baakwatira mu Kisenyi ku by’enjaga.

Whitney Houston
Ono Mumerika eyafa omutima mu 2012. Wabula mu musaayi gwe baasangamu enjaga y’ebika eby’enjawulo omuli Flexeril, marijuana, Xanax ne Benadryl.

Michael Jackson

Yamira eddagala eryebasa n’afa mu June wa 2009. Kyokka lipoota y’abasawo yalaga nga bwe baasanga ebiragalalagala omuli: Propofol, Ephedrine, Lidocaine n’ebirala mu mubiri gwe nga bye bimu ku bigambibwa okumuviirako okufa.

Abalala abagambibwa okubikozesa

Bobi Wine n’abayimbi b’omu kibiina kye ekya Fire Base. Muno mulimu n’abayimbi nga Ganja Planter, Weed ne Tulika.

Moze ne Weasel

Bano be bamu ku bayimbi abazze boogerwako okukozesa ebiragalalagala era waliwo ebyali byogerwa nga Moze embeera bwe yali emutabuseeko n’atwalibwa mu ddwaaliro e Butabika okubudaabudibwa n’atuuka n’okusalibwako enviiri.

Wabula aba Goodlyfe babiwakanya nti ababyogera baagala kumwonoonera linnya gye buvuddeko.

Abaserikale nga bakunguzza omu ku bavubuka be baakwatira mu Kisenyi ku by’enjaga.

Kabaya

Muyimbi wa Fire base. Akulira poliisi ya Kampalamukadde, Mohammed Kirumira yamukutte lwa kunywa njaga n’okusuza abaginywa mu Kisenyi. Kabaya yeewaanidde ku Kirumira nga bw’aginywa era ajja kusigala ng’aginywa kubanga omutima gwagisiima! Teebereza ku tteeka eryayisibwa jjuuzi wabula omuntu n’asigala nga yeewanira mu kikolwa kino.

Dry Tea

Ono muyimbi wa Fire Base ate nneekolera gyange naye kizibu okumusanga ng’ali yekka.

Madoxx Ssemanda Ssematimba

Ono yayatiikirira nnyo mu myaka gya 2000. Abawagizi bwe baamulaba embeera gy’ayitamu poliisi n’etuuka n’okumukwatira e Nakulabye mu bayaaye ne beewuunya amaanyi ga ‘sitaani’ nga bagamba nti kirabika yamutuma okunywa ebintu ebimutamiiza.

Wabula ennaku zino yafuna omugagga eyamukwata ku mukono era ennaku zino takyatamiira nnyo.

Obulabe bw’okukozesa ebitamiiza

  • Bisuula eddalu y’ensonga lwaki abayimbi n’abavubuka batwalibwa e Butabika okujjanjabwa.
  • Bisindiikiriza abavubuka okwetaba mu bikolwa ebikyamu ng’okulwana, okubba kuba baba beewulira eryanyi.
  • Abawala bibaviirako okufuna embuto ze bateetegekedde. Olubinywa ne bibatamiiza, omusajja asobola okumukola ky’ayagala.
  • Binafuya obwongo, omuntu n’aba nga tajjukira bintu byabaddewo.
  • Biremesa abayizi okusoma nga buli kiseera beekweka mu nsiko gye babinywera, bibatabula emitwe n’abalala bagobwa mu masomero.
  • Oluusi bitta omukwano. Bw’obeera ne munno oyinza okwekola obusolosolo oba okumukuba n’akwetamwa.
  • Endwadde z’ekikaba ne siriimu zisaasaanyizibwa nnyo abavubuka bano.
  • Obubenje bungi buva ku kunywa ebiragalalagala. Omuntu bw’abikozesa, obwongo bwe buva mu mbeera n’avuga ndiima awatali kugambwako.
  • Bitta apetayiti. Kino kivaamu okulwala endwadde ezeekuusa ku ndya embi, okukkakkana ng’omuntu abafuddeko.
Ebiragalalagala Chandiru bye yali yeekuba.

 

Etteeka erikwata abakozesa ebiragalalagala

Guweze omwaka okuva Pulezidenti lwe yassa omukono ku tteeka ly’enjaga Palamenti mwe yasalirawo ebibonerezo ebikakali. Ekyewuunyisa, abantu naddala abayimbi bagenda mu maaso n’okuginywa kyere. Etteeka lya The Narcotic Drugs and Psychotropic Substances (Control) Act, 2015 lyayisibwa Palamenti olwo Museveni n’alissaako omukono nga 9/4/2015.

Ebibonerezo by’enjaga

Osibwa wakati w’omwaka gumu n’etaano oba okutanga ssente eziri wakati wa 1,000,000/- ne 2,500,000/- oba byombi.

Poliisi eyogedde

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Patrick Onyango yagambye nti tusaze amagezi ag’enjawulo ku njaga ng’okusomesa abagirima n’okubawa amagezi balime ebirime ebirala.

Twazuula nti bw’etabaawo n’abaginywa tebabaawo. Noolwekyo obutagirima kye kisingako. Bwe bagaana okuwuliriza nga tubakwata ng’amateeka bwe gagamba.

Minisita yakkiriza abalima enjaga

Bw’okwatibwa n’omusiri oba ekikolo kyayo, ovunaanibwa okuggyako nga wafuna olukusa okuva ewa minisita w’ebyobulamu.

Bwe bakukwata ogusooka n’ogenda mu maaso n’okugirima bwe baddamu okukukwata osibwa mayisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...