TOP

Ivan Ssemwanga ne banne babbye 'sho' ku Arab Money

Added 17th December 2016

BANKUBAKYEYO abaakazibwako erya ‘Abasama’ batandise okusumulula ssente ze baaleese okucakala mu ggandaalo lya Ssekukkulu.

BANKUBAKYEYO abaakazibwako erya ‘Abasama’ batandise okusumulula ssente ze baaleese okucakala mu ggandaalo lya Ssekukkulu.

Ivan Ssemwanga eyali bba wa Zari Hussein, Edward Cheune, Adamz Ddumba n’omulala eyeeyita Prince n’abasama abalala, mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga baabadde ku kabaga ka ‘Arab Money’ akaategekeddwa Sue O’chola ku ‘The Square’ okuliraana ofiisi za Vision Group efulumya ne Bukedde ne baddugaza emmeeza.

 

 

 

 

Baabadde baakatuuka ne wabaawo eyatemezza ku SK Mbuga era n’aleka bye yabaddeko n’ayingirawo naye alage ssente.

Mbuga yayingiddewo n’omugole we Jalia Birungi era waliwo abaawuliddwa nga bagamba nti bano ke bayingiddewo tugenda kulya ku ssente.

 

 

 

 

Kyokka obutafaanana bulijjo abasama bano we bakasukira ssente n’okugabula abalala, ku mulundi guno bannannyini kifo be baasinze okufunamu kubanga ‘abagagga abato’ bano baasinze kuddugaza mmeeza zaabwe nga beegulira ebyokunywa n’okulya.

Bwe baavudde wano, baayolekedde Guvnor nayo esangibwa mu kibangirizi ky’amakolero ne balya kaasi.

 

 

 

 

Olwo zaabadde ssaawa nga 8:00 ez’ekiro. Mu kufuluma ‘The Square’, waliwo be baasanze nga babateeze wabweru babamansize ku musimbi kyokka ng’asinza amaanyi y’afuna. Kyokka era baagabye ntono!

Moze naye afunzizza bimaama n'akyekola

 

 

 

Omuyimbi wa Goodlyfe Moze Radio naye teyalutumidde mwana.

Bakira aliko bimaama bibiri by’atava ku lusegere nga nabyo wattu bimuli 'bbize', tebimuta. Obwedda ekimu bwe kimwesikako ng’akitaayiza ng’akikomyawo.

Moze eyabadde ayogera ng’olulimi terusituka bulungi yagambye nti, “leero nange kanneedigidire... Mundeke nnyumirwe layifu.”

 

 

 

 

 

Ye Chameleone naye yasazeewo kunyiga Sue O’chola munyigo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...

Akatale k'e Wandegeya nga bwe kafaanana.

Abasuubuzi b'e Wandegeya be...

ABASUUBUZI mu katale k’e Wandegeya bagambye nga bwe bagudde mu lukwe lwa ssentebe waabwe, Jonathan Gitta okwagala...

Aba Lufula baagala Amongi a...

ABATEMI b'ennyama mu lufula ya City Abattoir mu Kampala basabye Minisita wa Kampala, Betty Amongi ateekewo akakiiko...

Omuwandiisi wa kkooti, Sarah Langa Siu.

Etteeka lya siriimu likyusibwe

SSAABALAMUZI wa Uganda, Alfonse Owiny-Dollo, ayagala Palamenti ekole amateeka aganaayamba okulwanyisa okusaasana...

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...