TOP

Leila Kayondo avuyizza ku kabaga k'abagagga abamansa kaasi

Added 24th December 2016

OMUYIMBI Leilah Kayondo, azze ku bbaala ng’ali mu bigere n’atuuka ku mulyango n’atuula butuuzi mu kifo ky’okuyingira nga kirabika agangayidde.

OMUYIMBI Leilah Kayondo, azze ku bbaala ng’ali mu bigere n’atuuka ku mulyango n’atuula butuuzi mu kifo ky’okuyingira nga kirabika agangayidde.

Yabadde akutte eggiraasi eyabaddemu eby’okunywa ebitaategeerekese ng’alabika mukoowu.

Yabadde azze ku kabaga k’Abasama abeeyita Rich Gang omuli Ivan Ssemwanga, Edward Kyeyune n’abalala eyabadde ku Guvnor ku Lwokusatu nga wolole wa Jose Chameleone eyakazibwako erya JB y’akutte engatto ze n’abayambi abalala babiri abaabadde bamusaba ayambale mangu engatto ave ne mu ttaka we yatudde yeewale omukuba ebifaananyi kyokka ng’awoza kimu nti, ‘Abo nabamanyiira.’

Yatudde yebamba nga bwe bazza amagulu ge n’atandika okwogera ebitakwatagana ku yali bba, SK Mbuga eyakola embaga makeke gye buvuddeko gwe yayagalizza obufumbo obulungi n’amuyita na mukwano gwe.

Ssemwanga ne banne bazzeemu okumansa ssente bwe baakasuse ssente mu bantu wabula ne babakugira olwo nga batandika okuyiwa omwenge ogw’ebbeeyi okulaga nti ensimbi si kizibu kyabwe.

Baagabye ssente ne balagira abantu banywe gwa bwereere ne bakeesezaayo obudde. Abasama okuva mu mawanga ag’enjawulo gye bakolera bajjidde mu mmotoka ez’ebbeeyi eziriko amannya gaabwe.

Abayimbi ba Good Lyfe-Moze Radio ne Weasel, Sheebah Karungi ne Rodin Y-Kabakko be bamu ku baasanyusizza abantu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...