TOP

Kayihura alabudde abayimbi n'abategesi b'ebivvulu ku mivuyo

Added 24th December 2016

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura alabudde abategesi b’ebivvulu n’abayimbi okukomya okulanga ebivvulu ne batatuukiriza bye basuubizza ekivaako abadigize okwecanga n’okwonoona ebintu.

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura alabudde abategesi b’ebivvulu n’abayimbi okukomya okulanga ebivvulu ne batatuukiriza bye basuubizza ekivaako abadigize okwecanga n’okwonoona ebintu.

Okwogera bino yabadde asisinkanye Tonny Ssempijja omukwanaganya w’ekibiina kya UMP-NET ekigatta abategesi b’ebivvulu, abayimbi ne bannannyini bifo ku kitebe kya Poliisi e Naguru.

Ssempijja yabadde n’abayimbi nga Fred Ssebbaale, Gravity Omutujju, Matthias Walukagga n’abalala bangi.

Kayihura yagambye nti akooye okuwulira abadigize nga beecangidde mu bivvulu ne boonoona ebintu n’asaba abategesi b’ebivvulu n’abayimbi okukwatagana obulungi mu biseera bino ebya Ssekukkulu ate n’abayimbi bakwate ssente z’ebifo bye bajja okusobola okutuukamu okuyimba.

Yasabye bannannyini bifo okufaayo okumanya abantu abategese ebivvulu okwewala okusika omuguwa n’abantu okukola effujjo era abanaakwatibwako bajja kuvunaanibwa.

Yasuubizza okuddamu okusisinkana abayimbi n’abategesi b’ebivvulu leero ku Calender Hotel e Makindye okumalawo emivuyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...