TOP

Nkyali muwala muto okuva ku laavu - Iryn Namubiru

Added 24th December 2016

“Nkyali muwala muto okuva ku bya laavu, ekirungi sinze yabitandikawo……” bwatyo omuyimbi Iryn Namubiru bwe yatandise ng’ayogera ku bulamu bwe. Ono amaze ebbanga ng’asiriikiridde ekireetedde abawagizi be okwebuuza ekyatuuka ku ssereebu waabwe.

 Iryn Namubiru

Iryn Namubiru

“Nkyali muwala muto okuva ku bya laavu, ekirungi sinze yabitandikawo……” bwatyo omuyimbi Iryn Namubiru bwe yatandise ng’ayogera ku bulamu bwe. Ono amaze ebbanga ng’asiriikiridde ekireetedde abawagizi be okwebuuza ekyatuuka ku ssereebu waabwe.

Wabula bino byonna ebyegaanyi n’abasekerera n’agamba nti okusiriikiriramu tekitegeeza kuggwaamu wabula abadde mu kuyiiya nnyimba mpya era kati akomyewo n’amaanyi mu sitayiro empya.

Ng’oggyeko eddoboozi eseeneekerevu n’okukyusa amaloboozi ne sitayiro y’omuziki gw’akuba, Namubiru y’omu ku bayimbi abakyala abazze boogerwako ng’abasinga okuyimba mu ggwanga era aludde ng’avuganya ne Juliana Kanyomozi.

Wabula ababiri bano ennaku zino tebakyavuga ekireetedde abantu okugamba nti kirabika kiseera kya mugigi gw’abayimbi abapya okubasikira.

Abalala bakitadde ku kya kwawukana n’eyali maneja we Thadeus Mubiru gwe bagamba nti ng’oggyeeko okumutegeera ng’omuntu yali akola kinene okumutunda. Twayogedde naye ne tumubuuza ku bulamu bwe obwa bulijjo n’obw’okuyimba.

Obulidde wa nga tokyavuga ng’edda?

Ndowooza gwe atampulira naye gyendi lwakuba nti ennaku zino mbadde nnina ebintu ebirala bye nkolako nga bwe njiiya n’ennyimba.

Bipya ki?

Nnina oluyimba lwa ‘nnakukola ki’ n’ennyimba endala ate ntegeseeyo ne konsati ku Serena Hotel.

Tukitwale nti oweddemu oba omugigi gw’abaana abapya gubabuutikidde?

Wadde waliwo abapya abazze ate nga balungi tekitegeeza nti Namubiru aweddemu. Kizibu omuntu okubeera waggulu ekiseera kyonna ne ku myaka 80 omuntu asobola okuddamu n’akuba ‘hiiti’ ate olumu osalawo okusirikamu ekisinga obukulu ddoboozi lyo kasita liba nga likweyimira.

Olina pulaani ki okudda ku ntikko?

Nze siri mu byakuvuganya oba kulwanira ntikko, nkola myuziki wange n’abantu kunyumirwa bye nkola.

Kusoomoozebwa ki kw’osinze okusanga mu nsiike y’okuyimba?

Abatubbira ennyimba batukola bubi. Tuteekamu amaanyi ne ssente naye abantu abalala be bafunamu.

Ng’oggyeeko okuyimba okola ki ekirala?

Nnina yo bizinensi naye saagala kuzoogera. Kuno kwe ngatta n’okuddukanya ekibiina kya ‘Gather for Children’ ekiyamba abaana abatalina mwasirizi e Mityana.

Ye bannange batabani bo bali batya era bali ludda wa?

Bali bulungi. Kati babeera Bufalansa ne kitaabwe.

Mukyawuliziganya ne taata w’abaana?

Lwaki nedda. Oli taata w’abaana era be batugatta. Olinayo omusajja omupya oba ebya laavu wabyesonyiwa. Ndeka naawe tonsesa. Nze ndi muwala muto kale sisobola kubivaako.

Kati olwo mbiveeko nsigale ku ki?

Simanyi okyanyumirwa okwambala mini ng’edda? Ekyo sijja kukiddamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...