TOP

Nsekaaseka nnyo naye nnyiiga mangu n'okukuba nkuba - Kitooke

Added 30th December 2016

Hajji Haruna Kitooke ye nnannyini Kream Productions. Erinnya yalikolera ku luyimba lwe ‘Ekitooke kifa nsalira’. Yagattako endala: Nkakasa, Ye ggwe, Kanya Mpisa, Mukono ggaamu n’endala. RONNIE MARK KIYINGI yamutuukiridde ne bawayaamu.

 Kitooke ng’ali n’abamu ku bayimbi be.

Kitooke ng’ali n’abamu ku bayimbi be.

Hajji Haruna Kitooke ye nnannyini Kream Productions. Erinnya yalikolera ku luyimba lwe ‘Ekitooke kifa nsalira’. Yagattako endala: Nkakasa, Ye ggwe, Kanya Mpisa, Mukono ggaamu n’endala. RONNIE MARK KIYINGI yamutuukiridde ne bawayaamu.

Hajji, okolaki e Zzana?

Eno gye nadda era ofiisi zange ziri wano ku Explorer. Mbeerawo n’abayimbi bange nga twegezaamu.

Ng’obuze, kapya ki k’olinawo?

Sibuze nnyo era nnina oluyimba olupya ‘Akasaale’ kwe ngasse ‘Kalyonso’.

Bakazi bo bali batya?

Lwaki ombuuza ku bakazi bange, simanyi oyagala kubakwana. Ebyo biveeko twogere ebirala.

Lwaki omwaka guno tewakoze kivvulu?

2016 gubadde bbize ate ebivvulu byange mbikola mbuukawo omwaka n’olwekyo nnina okusooka okweteekateeka obulungi. Wali obaddeko awo ne wejjusa okuva mu kibiina kya Eagles. Kituufu, kubanga ekibiina kyatuuka ne kingejjako nga sikyasobola kukikwasaganya bw’omu. Eagles yalimu abayimbi abanene bangi nga tosobola kumenyeka na kibiina wekka.

Ssinga Mary Bata akomawo mu kibiina kya Kream omwaniriza?

Lwaki aba akomawo? Mu kiseera kino amaanyi nsinze kugateeka ku bayimbi abato nga Julie Mulungi, Donah, Hot Kawa, Fiona Sparkle, n’abalala era benteekamu ssente zange.

Mpaayo omuyimbi omu kw’abo be wali nabo mu Eagles gwe wandyagadde okukola naye kolabo.

Geoffrey Lutaaya kubanga ayimba bulungi era ssinga ampa omukisa nsobola okukikola. Catherine Kusasira ne Maureen Nantume nabo bankolera.

Buzibu ki bw’olina n’omuyimbi Annie Birungi?

Oyo omuwala yaliko mu kibiina kyange era nga bw’olaba Mary Bata. Ayimba bulungi naye simanyi lwaki buli omu alowooza nti nkyalina embiranye naye. Ekinsanyusa kwe kuba nti ye yasigala akola ennyimba ezitegeerekeka.

Mpaayo ekintu kimu omukazi ky’asobola okukuwa n’osanyuka.

Omukazi bw’ampa ekirabo eky’akawoowo akawunya obulungi awo abeera annina. Ekirala, bwanfumbira emmere empoomera ng’amatooke, enva endiirwa.

Kintu ki abantu kye batakumanyiiko?

Ndi muntu ayatula buli ekinnuma, sisiba kintu ku mutima. Newankubadde nsekaaseka nnyo ebyaddala nnyiiga mangu ate nkuba.

Ssinga ofuna ssente eziwerako wandyagadde kuzikolamu ki? Okuzimba essomero naddala erya pulayimale kubanga likola ssente ate njagala nnyo abaana abato.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...