
Omuyimbi omuto Nalwanga
BYA RONALD MUGENYI
ANITAH Shanah Nalwanga, 9, ayimbye ng’alombojja engeri abakazi ababeera mu maka gye bakijjanyamu abaana ba baggya baabwe.
Nalwanga asoma mu ssomero lya Sunrise e Mpererwe nga muwala wa Ronald Lule ne Sarah Baluka abatuuze b’e Nansana Kyebando oluyimba alutuumye “Step mother” mw’alombojjera ennaku muka kitaawe gy’amuyisaamu awaka.
Agamba nti by’ayimbako byamubuulirwa munne bwe basoma n’amulaga okubonaabona kw’ayitamu ne muka kitaawe.
“Nnina mukwano gwange gwe nsoma naye eyaηηambanga nti tebaamuwanga byakulya ne ssente z’okuwuga n’ez’okulambula.
Awaka baamukozesanga emirimu mingi emizibu omuli okwoza engoye za muka kitaawe ne baganda be ate bwe zitaatukulanga ng’alina okuziddamu nga bamuwereekerezaako empi n’ebivumo.
Ebiseera ebisinga abeera munakuwavu ku ssomero ng’oluusi amanyi n’okukaaba yekka nga tewali amukubye. Nagezangako okumubuuza ky’abadde ng’agamba nti abeera yeeraliikirira muka kitaawe.
Lumu yajja ku ssomero nga twakava mu luwummula n’ekifaananyi kya maama we omutuufu ne mmubuuza nnannyini kifaananyi.
Yaηηamba nti yabadde agenze ewa jjajjaawe mu luwummula, n’akimuwa n’amugamba nti oyo ye yali maama wo omutuufu naye yafa ng’akuzaala.
Bambi bino byonna yabyogera bw’akaaba,’’ Nalwanga bwe yagambye. Nalwanga y’omu ku baayimba mu kivvulu kya Toto ekyali e Lugogo omwaka oguwedde ekyategekebwa Vision Group nga kumpi buli muntu omukulu eyaliwo yasigala yeesooza ku ky’abakazi ababonyaabonya abaana b’abaggya baabwe.
Nalwanga agamba nti bwe yabitegeeza bazadde be ng’ayagala bayambe ku mukwano gwe okukwata omukazi amukijjanya bamutwale ku poliisi kwe kumutegeeza nti omwana abeera ne ‘Step Mother’ ne bawunzika nga bagamba nti bafukamire bamusabire Katonda ajja kumuyamba.
Agamba nti wano we waava ekirowoozo ky’okuwandiika oluyimba nga kitaawe bw’amuyamba era baalutuuma Step Mother. Nalwanga agamba nti ayagala kusoma mateeka ng’akuze afuuke omulamuzi ate asigale ng’ayimba.
Kitaawe, Ronald Lule agamba nti naye yeewuunya muwala we okuyimba n’okubeera n’ebirowoozo by’ekintu ekikulu okuva nga wa myaka etaano.
Agamba nti awandiise ne yeeyimbira ennyimba endala okuli Happy era bamuyambako okutumbula ekitone kye ate nga bafuba okumwagazisa okusoma ku ssomero.
Ebimu ku bitundu mu luyimba lwa Nalwanga