
Lukoma ng’ayimba asoomooza abadigize.
Abadigize baasoose kukanula maaso beetegereze ng’abawala bwe bakuba enduulu mwana muwala bwe yatandise okuyimba nga bw’abalaga ebisambi.
Abamu ku bavubuka abaabadde mu maaso balabiddwa ng’emikono gibazze ensawo nga kirabika embeera yabadde ebatabuseeko olw’engeri Lukoma gye yabadde yeenyigootolera ku siteegi nga bw’aggyamu akawale akampi ennyo akaakazibwako erya ‘hot pantie’ yadde ku mubiri yabadde asoosezzaako akagoye akawugirwamu.
Mulimu abaabadde okumpi abaasoobezza emikono okumukwatako ate nga bw’alaga nti naye anyumirwa.
Ekyabamazeeko ebyewungula kwe kuwenjula ku kagoye waggulu n’abalaga ne ku bbeere lye.
Zaabadde ssaawa 8:30 ez’ekiro mu bbaala ya Amnesia, mwana muwala ono n’alinnya ku siteegi n’obukete obwabadde bulaga ‘Ttatu’ gye yakuba waggulu ku kisambi.
Yeegattiddwako Alvin Kizza ne bayimba Ndaga muntu n’endala nga bwe beekola obusolo ku siteegi.
Ykee Benda gwe baakazaako erya Faama naye oluvannyuma yanyingiddewo n’ayimba ennyimba ze ezaalaludde ebyana obwedda ebimuyiikira omwabadde ne EVA lwe yabadde atongoza ng’awerekeddwaako DJ Roger ne Slick Stuart.