
Ono yakoma okujja mu Uganda mwaka gwa 2014 era n'akola ekivvulu ku Cricket Oval e Lugogo ekyatunda ennyo.
Omulundi guno yabadde ku bbaala ya Autospa e Munyonyo gye yazinirisizza abadigize Lingala n'abakamula akatuuyo.
Waasoosewo ba Afrigo Band oluvannyuma ku ssaawa nga 8 ez'ekiro, Koffi n'ayingirawo wakati mu nduulu ewo munduulu eyamannyi.
Yayimbye oluyimba lwe olucaase ennyo ensangi zino olwa 'Selfie'bangi lwebayitta 'Ekotidde' era abadigize nebacamuka nga munno mwemwabadde n'omugaga Jack Pemba.
Ekivvulu kyawedde ku ssaawa 10 ez'okumakya kyokka ga buli omu akyayooya Omucongo ono okubongera 'anko'.