TOP

Lil Pazo eyayimba 'Genda ogule emmotoka' atobye n'ensi

Added 5th February 2017

Yasooka kuweereza mmere, n’avuga bodaboda, n'akola ku bw'asakikaali oluvannyuma n'adda mu butembeeyi obwamusibya emyezi esatu e Luzira

 Lil Pazo ng’ali ku mmotoka gye yaguze. Wansi ng’avuga bodaboda gye yatandikirako.

Lil Pazo ng’ali ku mmotoka gye yaguze. Wansi ng’avuga bodaboda gye yatandikirako.

“Genda ogule emmotoka, oleme kufa nga toguze ku mmotoka. Genda weewole emmotoka, oleme kufa nga tovuze ku mmotoka…….” Bino bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba lw’omuyimbi Lil Pazo olutakyava ku mimwa gy’abantu.

Ye olutalo alulinnyeeko era w’osomera bino nga yeeyiyemu mmotoka ekika kya Noah mwatambulira kati. Lil Pazo y’omu ku bavubuka abaleese amaanyi mu nsiike y’okuyimba.

Agamba nti bwe kuba kutambula kati ali yadde yaddeko kubanga gyenvudde we tanyuma era akoze emirimu egiwerako ne bigaana nga kati essuubi lisigadde mu kuyimba.

Okukola oluyimba ne lukwatayo, Pazo agamba nti kubadde kutoba ng’ayita mu bulamu obw’okweyiiya bwawangaaliddemu nga n’ekimu kw’ebyo byatagenda kwerabira, lwe lunaku basajja ba Jennifer Musisi lwe baamuyoola ng’atembeeya ne bamukuba mu kkomera e Luzira n’amalayo emyezi esatu.

Wabula oluvannyuma lw’okukwatagana ne Godfrey Bulesa gw’ayogerako ng’amufudde ky’ali era akolanga maneja we, Pazo asobodde okugezaako okutuuka ku ntikko.

Lil Pazo ng’azannya Ludo ku kyalo gye bamuzaala.

Lil Pazo y’ani?

Amannya ge amatuufu ye Yasin Mukasa. Alina emyaka 25 ng’era mutabani wa Muky. Sabirina Nakacwa n’omugenzi Sulaiman Ssezibwa ab’e Jongoza mu Kaliisiizo - Masaka.

Nasomako ne mbita

Bw’omubuuza ku by’okusoma, asooka kugamba nti lwaki ebyo tetubireka.

Agamba pulayimale yagisomera Kabingo Primary School ate siniya n’agenda ku Beteremu Secondary e Rakai gye yakoma mu S3.

Nnyingira Kampala

Ng’eby’okusoma bigaanye mu 2007, Pazo agamba mukulu we Muzamiru Kakeeto yamukwata ku mukono n’amuleeta e Kampala aweereze emmere mu kawooteeri ka mukyala we e Luzira.

Wabula olw’obusente obutono bwe yali afuna nga tebumumazaako, ‘eby’okuvuga’ emmere yabivaamu. Wano yasibira Kawempe ku Keti - Falawo gye yafuna omulimu gw’okukola mu bajjiro.

Eby’embi waayita akaseera katono eyali mukama we n’agenda e Juba n’ekibanda n’akitunda.

Pazo ng'ali ku bodaboda

Ayingira bodaboda

Mu 2009, Pazo eyali atandise okutereera, ensi yaddamu okumunyiga olw’omulimu okuggwaawo era wano mu kutetenkanya okw’amaanyi yasalwo okunoonya omugagga amuwa pikipiki atandike okuvuga bodaboda.

Olw’okuba mu kiseera kino yali atandise okulowooza ku ky’okutumbula ekitone kye eky’okuyimba, Pazo eyali akolera ku Lumumba Avenue okuliraana situdiyo ya D - Records n’olumu ng’agobera Lugogo kumpi n’ekitebe kya New Vision ng’atambuza bannamawulire n’abayimbi era bano bamuyambye okutumbula ekitone kye.

Ng’ayambibwako Rinex eyamukwatira amaloboozi ku bwereere, yaddamu oluyimba lwa ‘Munnaffe otulabyeko’ olwa Basudde kwe yatandikira.

Olw’obudde obungi bwe yamalanga mu bayimbi ne ku situdiyo byamulemesa okuvuga boda n’atuuka ekiseera nga ssente zaatekeddwa okuwa omugagga teziwera ne bamugoba.

Yafuna omulala kyokka naye embeera yali y’emu.

Lil Pazo agamba nti emikisa egimutuusizza ku ntikko agiggya wa Msgr. Ngobya.

Atandika kaliyoki

Mu 2011, Pazo eby’okuvuga boda yabivaako n’atandika okuyimba kaliyoki era wano yasibira ku Eden Service Park e Bwaise gye yasanga bakazannyirizi nga Godi Godi, MC Kapale n’abalala kyokka yakolerayo akaseera katono n’avaayo.

Akola obwasikaali

Ng’akyayiiya ekiddako, Pazo yafuna omugagga eyamuwa omulimu gw’okukuuma amaka ge yali azimba e Buziga ng’amuwa 250,000/- buli mwezi. Olwawezaawo ssente n’akola vidiyo ya ‘‘Munnaffe otulabyeko’’.

Kyokka olw’okuba ssente zaali ntono n’omutindo gwa vidiyo gwali mubi. Wabula kino teyakitwala nga nsonga olw’essanyu lye yalina okukola vidiyo ye esooka mu bulamu.

Wadde ng’oluyimba terwamanyika, kino akitwalanga kya magero kubanga lwamuggulirawo ekkubo okukolagana ne bassereebu.

Oluvannyuma yayingira ekibiina kya ‘Back to Life’ ne yeegatta ku Ziza Bafana era lumu yali ayimba mu kifo ekimu ku lw’e Salaama, Bebe Cool eyaliwo n’aluwulira n’amuyita ng’avudde ku siteegi n’amwebaza okuyimba obulungi n’ampa n’omulimu mu Gagamel okubeegattangako buli Lwakubiri ku bbaala ya Amnesia we baali bakolera kyokka eby’omusaala byali bizibuzibu.

Mu kiseera kino Rinex eyali amaze okufuuka mukwano gwange yava mu D-Records n’akola Power Records e Luwafu.

Kino kyanyanguyiza obulamu nga bamponyezza olugendo okuva e Buziga okudda mu kibuga okukendera.

Lil Pazo ng’ali n’abavubuka be abamuyambako okutambuza ekintu.

Eno gye nasanga ne Barbie J ne musaba annyingize mu kibiina kye. Yasooka n’anzalawa kyokka ne bamumatiza nti omuziki ngusobola n’ampa omukisa era eno gye nnasanga abayimbi nga Dr. Bitone, Natty Nethan, New York ne Pulodyusa Zion k.

Nakola omukwano ku Zion K era bwe yali agenda mu Sipapa Entertainment nange n’antwala ewa Sipapa.

Eno nnatuukira mu situdiyo era Sipapa olwawulira bye nnyimba n’ampa omulimu. Kino kw’ali kulinnyisa myuziki wange n’okukyusa obulamu bwange okuva mu kubonaabona.

Yanfunira ba pulodyusa ab’amannya okukola nabo okwali: Washington (gwe nakola naye oluyimba lwa ‘Muwala wa caayimaani’, Isma Pulo ne nkola naye ‘Biva mu ntuuyo’ wamu n’okumpangisiriza ennyumba. Kyokka wadde Sipapa yali antadde mu bulamu obweyagaza, navaayo olw’embeera eyakasoobo gye yali atambuzaamu myuziki wange ng’ate ndaba nali nkoledde.

Zion K eyandeeta ewa Sipapa bwe yavaayo nange ne mugoberera kyokka ebintu ne binneefuulira olw’obutaba na ssente era myuziki wange yeesiba eby’okuyimba ne nsooka mbivaako ne nnoonya ssente.

Nasibira mu Owino ne ntandika okusuubula obusawo bw’abakazi nga mbutembeeya mu Kikoni ne Makerere.

Lil Pazo ng’alaga omuzigo waasula ku Salaama Road.

Bamusiba e Luzira

Ku ntandikwa ya 2016, Pazo yali atembeeya obusawo okumpi ne Garden City, abaserikale ba KCCA ne bamukwata.

Baamutwala mu kkooti ya KCCA eyamusindika mu kkomera e Luzira ne yeebakayo emyezi esatu.

Akola oluyimba olwamutunda Ng’avudde e Luzira, yeenenya omulimu gw’obutembeeyi n’addamu okuyimba. Yaleeta ‘Mundu zivuge’ olwamutunda mu bantu.

Kuno kwe yazizza ‘Genda ogule mmotoka’ olumuwanise mu bire. Oluyimba luno lumukwatako ne mikwano gye “Omuzungu agamba emmotoka y’embalaasi y’omwavu.

Mukwano gwange Cool Bantu omugagga w’e Masaka yamubbako omukazi lwa mmotoka anti nga tagirina ate ng’omukazi agyagala nnyo.

Lumu Babie Jay nnamusaba anjazike ku mmotoka ηηenderemu e Nakiwogo okuyimba n’agaana ekintu ekyannuma ne nkolima nga hhamba lumu nange nja kugula eyange.

Bwe natunuulira embeera eno kwe kuwandiika oluyimba luno.

Lil Pazo (ku kkono), maama we ne baganda be nga bakyali bato.

Ennyimba empya z’aleese;

Birevu lwe yakubye ne Gravity omutujju.

Muliro ne Tipswizy

Make up ne Mikie Wine

Abasajja twagala ebitiibwa Ssenyiga, Maama, Omukazi omunyankole,

Embwa eyerabira eyagiyola,

Tonkooya ne Serena Bata. Kampala ne Cool Banti.

OLUYIMBA NGA BWE LUGENDA

Moskhan eno nkadde nnyo eneeyaka? Hee… eyase Lil Pazo etandike Pro clock records Moskhan tutuuse wano.

CHORUS

Genda ogule emmotoka, oleme kufa nga toguze mmotoka. Genda weewole emmotoka, oleme kufa nga tovuze mmotoka.

Lil Pazo ng’ayimiridde ku mmotoka ye ey’ekika kya Noah gye yaguze.

EKITUNDU EKISOOKA

Gisasule ku kibanja mpola basigaze kaadi ojimaleyo mpola. Newankubadde lubalusewa kasita ntuuka e Namasuba ku mwala. Obulamu bw’okunyoola enkata nga bunyuma obulamu bw’okunyoola enziga.

Abakazi baagala nzirusi ng’ogivuga n’omutuzaako ne ku boneti, bakukubeyo ne ka ‘selefi’ e Ntinda bateekemu ka dikini sifuddeeyo ku banjogerera mbu tannazimba kyokka kati agula mmotoka, gwe ssente zo waazigulamu ttaka, ezange naziguzeemu mmotoka … haha….

EKITUNDU EKYOKUBIRI

Emikisa gya faaza Ngobya voom voom giwulire bwetokota Hihi…. Nsabira Bukalango ku wiikendi kigweera Mulungo.

Abakazi bankuba kuba obulipo nga bansaba mbatwaleko eyo mu kidongo, engoye tugolola buno obukindo bo ne bateekamu engatto za kakondo hee… ate sigaba bisumuluzo okugikuwa afazaali nkuvugako hee….

Atamanyi bulumi bwa mmotoka yanyiga nga tomwazise mmotoka… aha…n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...