TOP

Omukazi alina kunjagala omu awatali bukwakkulizo - Chris Evans

Added 10th February 2017

CHRIS Evans y’omu ku bayimbi abeegulidde erinnya mu kukuba omuziki gw’omukwano ng’era bw’alinnya ku siteegi akujjukiza omugenzi Elly Wamala olwa sitayiro ye.

 Chris Evans n’ekyana.

Chris Evans n’ekyana.

Ennaku zino asiriikiridde olw’obutaba na luyimba lwokya. Ronald Mubiru yamutuukiridde n’amubuulira kyaliko kati.

Chris Evans ng’osirise nnyo, eby’okuyimba wabivaako?

Kituufu nsirise naye ndi mu situdiyo nnina oluyimba lwe nkolako. Baluyita ‘‘Siritagala’’ nga naluyimbidde abantu abali mu mukwano. Kiki ky’oyogera ku nsiike y’okuyimba.

Abayimbi abanene nga bavumbeera?

Owange omuziki gwatabuse ate n’okuvuganya kwayitiridde. Okusigala ku ntikko olina okuyiiya ebinyuma.

Chris Evans amaanyi tolina weesiba ku bintu. Omusajja akubbako atya omukazi?

Ssebo nange ndi muntu ate tewali muntu gwe babba. Omukazi yagenda bibye nga tulemeddwa okukwatagana.

Naye maneja wo Kayemba kirabika yakulyamu olukwe. Okimanyi nti ku mbaga yaliyo nga yeetala ng’omuko?

Oyo musajja w’abantu buli omu mukwano gwe.

Mpulira bagamba nti waddayo okusoma, emisomo wagimala?

Kituufu nsoma bya kubala bitabo kyokka okumaliriza kijja kusinziira ku maanyi ge ntaddemu.

Baatugambye nti ogenda ozaalazaala abaana? Lwaki towasa oba emmundu okuzizza ku ggombolola?

Waa... nze nnina omukazi omu gwe ng’enda okuwasa.

Wamma Kayemba yakuta?

Ebiseera ebisinga abeera mu ddiiru za mupiira? Obudde abuteekamu ate tosobola kumanya luyimba lulungi we lunajjira ng’ate n’omupiira Kayemba tagutandise kati.

Ssinga Kayemba akwecangirako okola otya?

Nsigala ηηenda mu maaso kubanga nali simanyi nti ndi musanga.

Ku bandi ya Lutaaya ne Golden oyinza kwegatta ku y’ani?

Bonna sisobola kubanga ebigendererwa bya bandi birala ku byange.

Bwe wakola oluyimba ne Rema Namakula yakutunda nnyo. Muyimbi ki omulala gwe weegomba okukola naye oluyimba?

Ebya kolabo si byendiko kati njagala kuyimba nzekka

Bagamba nti wali oyagala Rema nti era Kenzo akulaba bubi nnyo?

Si kituufu ebyo biboozi by’abantu.

Kiki omukazi ky’ayinza okukuwa n’osanyuka?

Kunjagala omu ate nga tantaddeko bukwakkulizo.

Biki abantu bye batakumanyiiko?

Simanyi kuyomba era saagala wadde okuliraana omuntu omuyombi kuba bimmalako emirembe. Njagala kwesanyukira buli kiseera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Biden ne Putin (ku kkono) lwe baasisinkana.

Biden akubidde Putin owa Ru...

JOE Biden Pulezidenti wa Amerika eyaakalayizibwa akubidde Putin owa Russia essimu enkambwe. Amulabudde okukomya...

Omuliro gukutte ekkolero ly...

OMULIRO ogutannategeerekeka kwe guvudde, gukutte kampuni ya Megha Industries e Kyambogo ekola emifaliso gya Royal...

Pulezidenti Museveni ng’alaga eddagala lye yatongozza.

Museveni atongozza okugezes...

PULEZIDENTI Museveni atongozza okugezesa eddagala erijjanjaba obulwadde bwa corona n'asoomooza Bannayuganda okukomya...

Hajji Kazibwe Bashir.

HAJJI BASHIR KAZIBWE: Ffiiz...

OMUBAKA omulonde owa Kawempe South, Hajji Kazibwe Bashir Mbaziira 33, munnamawulire, musomesa ate munnabyabufuzi...

Minisita Kyewalabye Male (ku kkono) ng’ayogera n’akulira okuzimba omwala oguyiwa amazzi ne kasasiro mu nnyanja ya Kabaka e Ndeeba.

Mmengo eyimirizza ababadde ...

OBUTA KKAANYA bubaluseewo wakati wa Mmengo ne St. Lawrence Yunivasite ng'entabwe eva ku mwala oguva ku yunivasite...