
Geosteady ng'ekyana kimusazeeko
Ebyana Ebinyarwanda kata biremese omuyimbi Geosteady okulya mu ndago bwe byamusazeeko ku siteegi ng'ayimba oluyimba lwe 'Owooma' olw'Ekinyarwanda lwe yakoze kolabo n'abayimbi Abanyarwanda babiri.
Bino byabadde mu bbaala ya Amnesia gye yabadde ng'atongoza oluyimba lwe luno olupya.
Geosteady yasoose kuyimba nnyimba eze ezenjawulo kyokka bwe yasuddemu akayimba k'Ekinyarwanda kano, ebyanabiwala ne bifuukuuka ne bizina amazina g'Ekinyarwanda n'okumusalako azine nabyo.