TOP

Abayimbi ne bannakatemba abalabye omusana ewa Yesu

Added 24th February 2017

Bukya mwaka guno gutandika, omuwendo gw’abayimbi ne bannakatemba abeeyiwa mu makanisa okudda eri Yesu gweyongedde era bangi balangiridde nga bwe balabye omusana.

 Omusumba Kayanja ne Papa Cidy ku Lubaga Miracle Centre

Omusumba Kayanja ne Papa Cidy ku Lubaga Miracle Centre

Bya MARTIN NDIJJO NE RACHEL TEBANDEKE

OLUYIMBA lwa Hassani Ndugga ‘Ntikkula omugugu’ mw’alaajanira Katonda okukola ku bizibu ebimuzimbyeko akayumba afune ku ssanyu kutuukira ku mbeera abayimbi ne bannakatemba gye balimu mu ggwanga nga bangi mu kiseera kino basazewo okuddukira mu masinzizo nga baagala Katonda abasumulule mu bizibu ebingi bye batubiddemu abamu ebibasiraanyizza bafune ku mirembe n’essanyu.

Bukya mwaka guno gutandika, omuwendo gw’abayimbi ne bannakatemba abeeyiwa mu makanisa okudda eri Yesu gweyongedde era bangi balangiridde nga bwe balabye omusana.

Omusumba Kayanja ne Kapere mu kkanisa

 

Abasinga ku bano baddukidde ku Miracle Centre Cathederal e Lubaga ewa Pasita Robert Kayanja mu lukung’aana lw’enjiri olwa 77 Days of Glory olugenda mu maaso.

Wadde ng’abantu beebuuza ekigenda mu maaso mu basereebu olwa sipiidi kwe balokokera, bangi kino bakisanyukidde nga bagamba nti kirungi bassereebu okulokoka kubanga balina abantu bangi ababagobera n’okubenyumirizamu era kijja kubayamba okukyusa mu nneeyisa yaabwe kubanga bangi babalabira mu kifaananyi ky’abantu abayaaye ate abalala balina emize gye beenyigiramu.

Kyokka waliwo abagamba nti bano bandiba nga basiba "kiwaani" kya Bobi Wine, okugenda mu kkanisa ng’ekkubo lye baagala okukozesa okudda engulu kubanga bangi ku bagenzeyo mu kiwendo kino ne balangirira bwe balokose babadde baagwa ate abalala kigambibwa babala musimbi oguli mu makanisa.

Waliwo n’ekigambibwa nti kano kandiba akakodyo k’abasumba okusobola okuvuganya ne basumba bannaabwe mu kiseera kino ng’okuvuganya mu bbo kweyongedde buli omu kati akola ky’asobola okusika abagoberezi era batandise emiramwa, okusaba okw’enjawulo n’ebintu ebirala okuvuganya ate nga kimanyiddwa bassereebu be bamu ku bantu abalina abagoberezi.

Twayogedde n’abamu ku bayimbi bano abalangiridde bwe balokose ne batubuulira ensonga ezibattutteyo n’enkyukakyuka gye basuubira mu bulamu.

Abayimbi ne bannakatemba abakimye amafuta

 

Captain Dolla akyuse

Captain Dolla: Amannya ge amatuufu ye Emmanuel Lawrence Aryenka.

Oluyimba ‘kuba emmese’ lwe lwamumanyisa mu bantu kyokka okumala ebbanga lya myaka esatu abadde takyawulikika wadde okulabika mu bivvulu ekivuddeko abantu abamu okulowooza nti eby’okuyimba yabivaako ate abalala nti kirabika mu ggwanga taliimu.

Ono abawagizi be bazzemu okumulaba ng’ali ku katuuti ayatula n’okwenenya ebibi by’agamba nti bibadde bimuyinze n’okumusiraanya.

Mu bimu ku bye yanokoddeyo agamba omuzimu gw’obwenzi gubadde gwamwetimba nga takyayisa sikaati, abavubuka abamu bamuyita illuminati ate nga ne myuziki gw’ayimba takyammuka.

Oluvannyuma lw’okumusabira n’okubudaabudibwa, Captain Dolla asobodde okukyusa mu mbeera ze era kati y’omu ku bayimbi mu kkanisa ya Miracle Centre.

Bwe yabuuziddwa oba ddala eky’okulokoka akitegeeza, yazzeemu nti yalwawo dda kubanga ava mu famile ya balokole.

“Okulokoka si kipya gyendi era bw’otunuulira famire gye nvaamu oyinza okugamba nnali neewaggula nzizzemu buto okulaba omusana."

Okuyimba sigenda kukuvaako, eky’enjawulo ennyimba z’ensi nzivuddeko ng’enda kwemalira mu za Yesu.

Wabula ono yawakanyizza ebyogerwa abantu nti kati ekkanisa y’emulabirira mu buli kimu omuli okumuliisa n’okumwambaza n’agamba nti ekkanisa ekola kimu kya kumusumba.

Titie Table (nga bw’afaanana mu katono) ne Qute Kaye (ku ddyo) nga bakuba ettendo mu kkanisa ya Pasita Kayanja (ku kkono).

 

Kapere yavuddeyo waleti nsanyufu

Kapere agamba kazannyirizi munne, Eddy Kigere gwe yakubidde essimu bagende beeweemu mu bbaala, ye yamututte ku Miracle Centre era olw’enjiri gye baamubuulidde ku Mmande yamumaze okuwaayo omutima gwe alokoke.

“Ennaku zino ensimbi zineekubya empi era ku Mmande ekiro ku ssaawa nga 3:00 nga nsimbula ku bbaala ya AY okugenda ku Plan B nakubidde Eddy Kigere essimu ajje tugende kyokka yanzizeemu kimu nti mulokole kwe kuntwala ewa Pasita Kayanja naye eyanyanirizza mu ssanyu.

Namubuulidde ebizibu byange era ng’oggyeko okunsabira, ekya ssente we nnaviiridde ku kkanisa ku makya nga waakiri ensawo nsanyufu.

Mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu, Kapere yatutte mukyala we ne bbebi waabwe ne bamusa bokisi z’amata.

Pasita Kayanja yamusuubizza n’okumukolera embaga Qute Kaye yakaabye ng’attottola ebyamutwala ew’omusamize.

Amaziga, endabika n’ebigambo omuyimbi Qute Kaye (Brian Kaye) bye yayogedde ng’agenze ku kkanisa ya Miracle Centre Cathederal e Lubaga byalese abagoberezi mu kkanisa eno bangi nga banyeenya mitwe n’okuwulira ennaku.

Olw’ebbanga ly’amaze nga talabika mu lujjudde bangi ono bamulabidde mu kifaananyi kya muntu azuukidde era olw’essanyu waliwo abaayozezza ne kumunye ate abalala nga bwe beebuuza sereebu waabwe gy’abadde abulidde.

Qute Kaye eyaliko omuyimbi ow’erinnya eyakuyimbira ennyimba okuli; Ginkeese, Gwendota, Ku mutima n’endala ayise mu kusoomozebwa okw’amaanyi mu bulamu bwe ng’omuntu n’obw’okuyimba olw’ebizibu ebitali bimu ebimutuusizza okusiraana.

Nga tannaba kwewaayo eri Katonda, Qute Kaye eyabadde tafaananika yasoose kusindira pasita nnaku gy’ayitamu ng’eno amaziga bwe gamuyitamu, embeera emutuusiza okuba nga takyagya mu bantu.

Kaye yatuuse n’okuwa obujulizi nga bwe yatwalibwa ew’omusawo w’ekinnansi okumukolako emikolo ekyamuleetera ebisiraani n’okudda mu kyalo.

Mu bye yanokoddeyo okumusabira mwe mwabadde omuzimu gw’obwenzi, eddogo, okukozesa ebiragalagala, endwadde, obwavu n’ebirala.

Aliko n’abantu ab’enjawulo omuli ne bayimbi banne b’alumiriza okumusiraanya kyokka abantu abamumanyi bamutenda kwesanyusa na bawala ekiseera we yabeerera ku maapu.

Wadde ekikolwa kya Qute Kaye okulokoka bangi baakisanyukidde nga bagamba alabye omusana abalala nti Katonda yekka kati y’asobola okukola ku bizibu bye.

Waliwo abaamulubye nga bagamba nti alina bigendererwa birala sinakindi anoonya kubbo limuzza waggulu olw’ebbanga ly’amazze nga tawulikika.

Abasinga ku bano bakitadde ku kya kwabuulira ddini ya Busiraamu gy’abadde yaddukira mu mbeera y’emu bwe yagenda ku muzigiti gwa Old-Kampala mu June w’omwaka oguwedde gye yatoolera shahadu mu maaso ga Mufti Shabani Mubanje ate mu bbanga ttono n’aba ng’abuvuddemu.  

Nandujja ye yaddukira wa Kakande

 

EMBEERA YA QUTE KAYE EKYUKIDDEWO

Oluvannyuma lw’okuttottola ebizibu bye n’okwatula, mu mbeera ey’okumubudaabuda ono batandikiddewo okumulabirira era baasoose kukyusa ndabika ye.

Bamuwadde ssente okumuyooyoota omwabadde okusalako ebirevu n’enviiri, okumugulira engoye empya ez’omulembe era kigambibwa nti ono bamusuubizza okumuwa mmotoka, amaka n’omulimu mu kkanisa.

Qute Kaye yaagenze okudda mu kkanisa omulundi ogwokubiri nga yenna ‘ayaka’ era nga kizibu okumanya nti ye yabadde mu kkanisa eggulo limu.

Ono yatandikiddewo n’okwolesa ekitone kye eky’okuyimba mu kkanisa era buli lw’alinnya ku siteegi abasinga bakola kimu kya kuwaana ddoboozi lye esseeneekerevu.  

Eddy Kigere ng’amannya amatuufu ye Eddy Ssesanga kazannyirizi mu kibiina kya Amarula.

Ono ebbaala abadde yazifuula maka ge nga gy’asiiba n’okusula ng’anywa.

Wabula Kigere agamba oluvannyuma lw’okulokoka afunyewo enjawulo ya maanyi era yejjusa obudde bw’ayonoonye.

“Ebadde nkola yange okukeera okutamiira era nga kizibu okunsanga nga sirina ‘airtime’ ku mutwe naye neebaza Mukama Katonda eyanyambudde omuzimu gw’ettamiro.

Kati mpulira bulungi ndi musajja Mulokole awedde emirimu osobola n’okumpita pasita Kigere.” Kigere agamba okusalawo okulokoka kivudde ku bantu ab’enjawulo abazze bamubuulira enjiri y’okwenenya.

Bwe yabadde ayogera ku bantu ababoogerera n’okukibasibako nti okulokola babala ssente na bintu ebikalu okuva mu kkanisa wamu n’okufuna ‘obutaala’ kubanga abadde yazikira n’agamba nti okulokoka kuba kusalawo eri omuntu ssekinnoomu.

Captain Dolla, Jackie Chandiru ne Leila Kayondo

 

Leila Kayondo

Wadde ono tannaba kulinnya ku katuuti kwatula ng’abalala, ennaku zino agoberayo nnyo naddala ku nnaku z’okusaba.

Kayondo naye alina ebizibu ebiwerako naddala ensonga z’omukwano.

Omwaka oguwedde yatabuka n’eyali muganzi we SK Mbuga n’amusibisa ne ku poliisi n’okumutwala mu kkooti era Mbuga olwali okuvaayo ne baawukana era nakuba omuwala omulala embaga.

Jackie Chandiru.

N’okutuusa kati alwana kudda ngulu mu bulamu bwe ng’omuntu n’obwokuyimba. Oluvannyuma lw’okufuna obuzibu obugambibwa okuba nga bwava ku kukozesa biragalagala omwaka oguwedde, Chandiru taddangamu kubeera mu bulamu bweyagaza ekimututte mu kkanisa.

Kyebandura (Irsh Patrick Kanyerezi)

Ono yakolako obwakazannyirizi wabula ennaku zino bamumanyi ng’omukozi w’oku leediyo.

Wadde nga gye buvuddeko yafunye omulimu ku leediyo emu eweereza mu Lungereza, emabegako abadde mu bulamu bwa kutoba na kweyiiya era kati anoonya ssanyu na mikisa mu kkanisa asobole okuddamu okuba ow’amaanyi.

TendoTabel (Titie)

Ono y’omu ku bayimbi abaalabikidde ku kkanisa ya Miracle Centre mu kiwendo ky’abayimbi ekigenda mu maaso nga balokoka era ennaku zino alabibwa nnyo ku siteegi ng’ayimba ettendo n’abayimbi abalala abapya.

Bwe yabuuziddwa ensonga eyamuviiriddeko okulokoka, Titie yategeezezza nti ye bulijjo mulokole, ewa Pasita Kayanja agendayo lwa kusaba okw’enjawulo okugenda mu maaso.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...