
Gravity Omutujju ng'asonze olugalo oluvuma abaabadde mu byuma bya Live Band. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA
Gravity omutujju y'omu ku bayimbi abaayitiddwa okusanyusa abadigize , kyokka musajja mukulu ono yayolesezza empisa ensiiwuufu bwe yakutudde waya mu byuma ebyabadde bikuba 'live band' ssaako n’okuwemula abaabadde bakuba bandi ebigambo ebizito ebitayisika mu kamwa lwa kusooka kuwa Rebecca Jjingo kazindaalo ne bamukandaaliza.
Wabula bakanyama baamukkakkanyizza n'ebyuma ebikuba 'Live band ne bitereezebwa embeera n'edda mu nteeko.
Gravity Omutujju oluvannyuma yalinnye ku siteegi n'akuba abadigize omuziki ogwabafuukudde ne gubeerabiza embeera y'akavuyo gye yasoose okuleetawo.
Abayimbi abalala abaasanyusizza abadigize mwabaddemu; Rebeca Jingo, Kazibwe kapo, Stabua Natooro ne Jackie Kizito.