TOP
  • Home
  • Sanyuka ne wikendi
  • Kazibwe Kapo 'Ow'emmundu ku ggombolola' by'ayimba tabissa mu nkola? : Yasuubizza abakazi 2 embaga omuli ne nkubakyeyo eyeekyaye n'amulangira obwenzi

Kazibwe Kapo 'Ow'emmundu ku ggombolola' by'ayimba tabissa mu nkola? : Yasuubizza abakazi 2 embaga omuli ne nkubakyeyo eyeekyaye n'amulangira obwenzi

Added 23rd April 2017

Kazibwe Kapo ‘Ow’emmundu ku ggombolola’ by’ayimba tabissa mu nkola? : Yasuubizza abakazi 2 embaga omuli ne nkubakyeyo eyeekyaye n'amulangira obwenzi

  Nabuliba ng’ali e Denmark gy’akubira ekyeyo. Ku ddyo, Kazibwe Kapo ne Sharuwa nga beeraga amapenzi.

Nabuliba ng’ali e Denmark gy’akubira ekyeyo. Ku ddyo, Kazibwe Kapo ne Sharuwa nga beeraga amapenzi.

BWE yayimba ‘Emmundu ku ggomboloola’ oluyimba omuli obubaka obubuulirira abasajja okuva ku bikolwa by’obwenzi, abantu ne balowooza nti Kazibwe Kapo eyaluyimba, emmundu eyiye yagitereka nga takyatabaala mu bakazi.

Kyokka okusinziira ku biriwo kati, kirabika loodi ono ebigambo bye tabiteekanga mu nkola, agenda bugenzi mu maaso na kukekeza nnyago.

Omuwala nkubakyeyo agamba nti ye mukyala wa Kazibwe Kapo, amutabukidde lwa kwagala muwala omulala n’amuzaalamu n’omwana kyokka nga bulijjo amukakasa nga bw’atalinaayo mukazi mulala okuggyako ye.

Joweliya Maria Nabuliba akolera mu Aalborg mu Denmark bw’akomawo mu Uganda abeera Buziga.

Agamba nti amaze emyaka kati mwenda (okuva mu 2008) nga baagalana ne Kazibwe Kapo era mu December lwe yasemba okujja mu ggwanga bakkiriziganya laavu yaabwe bagitwale ku ddaala eddala bakole embaga.

Nabuliba agamba nti okuva lwe yaddayo e Denmark abadde akola na maanyi ng’asonda ssente za mbaga kyokka kyamubuuseeko okuwulira nti Kazibwe Kapo ate alinayo omuwala omulala Sharuwa Namakula eyaakamuzaalira bbebi era n’ono ateekateeka kumukuba mbaga.

Omu ku mikwano gya Nabuliba ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti omuwala ono (Nabuliba) abadde ateeka omusimbi mu Kapo ng’amulinamu essuubi ddene era azze amulaga eri abamu ku booluganda ne bazadde be bamumanye n’enkolagana gye balina.

NABULIBA ALwAWO OKUDDA

Wakati mu busungu n’okusoberwa, Nabuliba aliko abamu ku booluganda lwe be yasindise ewa Kapo boogerezeganye ku nsonga zino okulaba nga bagonjoola ensonga kyokka eno tewali kyamaanyi kyatuukiddwako.

 

Kapo yagambye nti Nabuliba amwagala wabula yeekokkodde ebbuba ly’alina n’awera nti si mwetegefu kulekawo Sharuwa ekyayongedde okunyiiza Nabuliba.

Kazibwe Kapo bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku bya Nabuliba, yasoose kwekanga n’abuuza bwe twabitegedde kyokka oluvannyuma n’ategeeza nga bw’atayagala kuzoogerako kyokka oluvannyuma yakkirizza okubaako ky’atangaaza.

Kapo yategeezezza nga Nabuliba bw’amumanyi era yaliko muganzi we naye enkolagana eyo yaggwaawo era tayagala kumwogerako kiwanvu.

Yayongeddeko nti Nabuliba alwawo okudda mu Uganda nga n’olumu amala emyaka etaano nga tamulabyeko kale tasobola kumutwala nga mukyala we nga tatuukiriza ebyo omusajja bye yeetaaga ku mukazi kyokka nga ne Denmark gy’abeera takakasa nti ddala talinayo muntu.

Wano we yasinzidde okumusaba obutamutabulira maka ge buli omu yeesonyiwe munne. Kapo n’ebizibu by ’abaka zi Nabuliba si ye mukyala asoose okufuna obutakkaanya ne Kapo, mu February wa 2016 Sharuwa naye yeecangira ku Kapo ng’amulanga okuzaala ebbali n’amuleetera abaana wabula ensonga baazigonjoola ne baddamu okukwatagana era ku nkomerero y’omwaka oguwedde yamuwadde n’ekirabo k’okumuzaalira bbebi.

Kigambibwa nti Kapo yalinako enkolagana ey’enjawulo n’omuyimbi Hajati Madinah Bibuuza kyokka ne balemagana. Kapo alina abaana abakulu nga kigambibwa nti yayawukana ne maama waabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...