
Ssekamatte ne mukyala we mu kwanjula. Ku ddyo, Omuyimbi Big Eye n’omukazi nkubakyeyo omupya gwe yafunye
Embeera eno esinze kweyolekera mu bayimbi abasajja anti kumpi buli muyimbi ow’erinnya olugenda ebweru w’eggwanga okuyimba agenda okudda nga yeefuniddeyo ekyana oba sugammami amuteekamu kkaasi.
Ate bwe kituuse ku bayimbi abato ne kisukka. Olukubayo oluyimba lumu ne lukwatayo ekiddako kuba kufuna nkubakyeyo Omuzungu oba sugammami ng’amuteekamu ssente nga naye bw’amuwa essanyu ly’omu kisenge.
Ekyama abayimbi kye bazudde mu bankubakyeyo
Kino bakikola olw’okwagala okwanguyirwa obulamu obwa bulijjo n’obw’okuyimba engeri gye kwetaaga ssente ennyingi era abasinga bafuna bankubakyeyo ababateekamu ssente.
Abamu babasanga ku byeyo gye baba bagenze okuyimba ne babalaga ssente ezibatengula emitima ate abalala okubakolera ku bizibu byabwe eby’amangu.
Waliwo n’abakazi ababaganza olw’okuba bassereebu nga basuubira nti kino kiggya kubafuula ab’enjawulo bannaabwe babeegombe.
Polomoota omu e Dubai yatugambye nti abayimbi bano bagenda okutuuka gye bagenda okuyimbira, ng’abasajja oba abakazi babeepikira. Bano bamanyi n’okuvuganya nga basasula pulomoota asobole okubawa obudde n’omuyimbi, okusasulira omuyimbi wooteeri mwanaasula oba okumusuza mu maka ge n’oluusi okumutwala okumugulira ebintu. Muno mwe muva laavu ng’ate abalala baba baagala kwesanyusaamu nabo.
Olw’okuba abayimbi baganza abakazi bano nga balina abakyala baabwe kuno, basalawo okubeera nabo mu mukwano ogw’ekyama. Babasisinkana bagenze okuyimba mu mawanga gye bakubira ebyeyo oba nga bazze kuno mu luwummula wabula abalala laavu yaabwe basalawo okugitwala ku ddaala eddala ne babatongoza nga bakyala baabwe.
Ababaganza olwa ssente olumala okufuna kye beetaaga nga babakyawa oba okukola ebintu ebibanyiiza okubeegobako. Kyokka mulimu ababambalidde ne babatabukira olw’okubafera laavu n’okubalyako ssente zaabwe.
Abalala beegomba ndabika yaabwe omuli ffeesi, omubiri, ennyambala n’ebirala. Kituufu bankubakyeo abamu balabika bulungi era beefaako ekireetera abasajja okusikirizibwa okubakwana.
Abamu baganza bankubakyeyo nga kye baagala kufuna kakisa beegatteko nabo n’olwo balubale. Waliwo abakazi abaagufuula omusono okwegatta na buli ssereebu era oluusi bakissaamu ne ssente okulaba nga babafuna.
Dr. Propa ku kyuma ky’avuga. Waggulu y’ennyumba mwe basula.
Abayimbi abafunye mu bankubakyeyo n’Abazungu
Dr. Propa
Ono ye yayimba ‘Omwana w’omwavu’. Ayogerwako ng’omu ku bayimbi abafunye n’okuyimirirawo ku ssente z’abakazi bankubakyeyo.
Okumanya ekintu kino akifunyeemu, kati avuga mmotoka za bbeeyi okuli: BMW, Range Rover, Land Cruiser n’okusula mu maka ag’omulembe e Kajjansi era bw’omusanga nga tomumanyi toyinza butamwesiimisa ssente okumukeera.
Mukazi we ye Patricia nkubakyeyo mu ggwanga lya Austria. Wadde Propa agamba nti eby’obugagga bino babikoze bombi, abamuli okumpi bagamba nti ebbanga lye balabidde Propa ng’ali mu mbeera y’okweyiiya, addiridde mu by’okuyimba nga talina bivvulu bivaamu ssente n’amateeka Patricia ge yamuteekako n’atuuka n’okumugobako mikwano gye. Olumu akola nga maneja we.
Big Eye
Amannya ge amatuufu ye Ibrahim Mayanja. Ono oyinza okugamba nti alina ekyama kyazudde mu bankubakyeyo.
Olwatadde Sheilla Patience amanyiddwa nga Nnaalongo Don Zella maama wa mutabani we n’ayingizzaawo nkusibidde awo.
Abdul Mulaasi
Ono naye bankubakyeyo abafunyemu. Mu 2012 yayanjulwa Fatuma Mugenyi ow’e Bungereza agambibwa okumuteekamu ssente.
Wadde bali mu laavu ey’ewala, batugambye nti Fatuma y’ayimirizaawo Abdul Mulaasi ng’amuweereza ssente n’okumusasulira ennyumba ey’ebbeeyi gy’asulamu e Nyanama.
Fatuma atera okujja n’alaba Abdul ate olumu y’agenda e Bungereza.
Bobi Wine
Ono yazaala mu Safi na Mubiru ow’e London muto wa Jalia Namazzi, mukazi w’omuyimbi Silver Kyagulanyi omwana.
Amawulire gano katono gatabule amaka ga Bobi Wine ne mukyala we Barbie kyokka oluvannyuma ensonga yazigonjoola obufumbo bwabwe ne buddamu okutinta.
Rabadaba
Ono alina abaana babiri mu Sheila Ferguson nkubakyeyo e Bungereza. Mu 2013 baagattibwa ewa DC nga kigambibwa Rabadaba yali ayagala kufuna mpapula ezimukirizisa okufuluma eggwanga n’okufuna obutuuze e Bungereza Sheila gy’alina obutuuze.
Wabula laavu yaabwe yagenda esebengerera mpolampola okutuusa lwe baayawukana ekintu ekyakosa n’okuzza emabega omuyimbi ono.
Coco Finger
Mu 2015 katono amaka g’omuyimbi Moses Okori ‘Coco Finger’ gasasike.
Kyaddiridde okufuna omuwala Sagal Muhamed nkubakyeyo e Girimani ne babeera mu laavu ey’ekyama.
Wabula omuwala ono bwe yategeera nti Coco Finger alina omukazi n’omwana n’atabuka n’ateeka ebifaananyi byabwe nga bali mu mukwano ku ‘Facebook’ ekyamutabula ne mukyala we ow’awaka era kigambibwa nti yanobera ddala ate ne Sagal n’amusuulawo.
Ono yali amuteekamu ssente nga y’amuyamba n’okuzimba ennyumba.
Grace Ssekamatte
Yafuna omukyala Omusiraamu Sophie Keems nkubakyeyo e Bungereza n’amwanjula n’okumusiramula n’afuna n’erinnya lya Sulaiman. Kigambibwa Ssekamatte yali abazizza ssente za Sophie ne famire engagga gy’avaamu. Bano babeerako bombi katono omuwala naddayo ku kyeyo era kigambibwa baayawukana wadde Ssekamatte agamba nti yagenda kusoma. Kati yafunayo omulala Idah Namara.
Ziza Bafana
Ono ali mu nteekateeka za kuwasa muganzi we Irene nkuba kyeyo. Bano baludde nga baagalana wadde nga mu kusooka laavu baali bagitambuliza mu kyama okutuusa lwe basalawo okugiteeka mu lujjudde abantu bagimanye era omuwala ono Bafana amuyimbako mu nnyimba ze ezimu.
Lyto Boss
Ono yagenda okutandika okwagalana ne Cissy Nanyonga nga akyakuba kyeyo e Dubai. Omukyala ono abamu gwe bayita sugammami olw’endabika ye, kigambibwa yamuyimirizzaawo mu buli kimu nga ne myuziki we amuteekamu ssente. Ono yasooka kweyita maneja we okutuusa lwe bazaala bbebi.
Sizzaman
Ono y’omu ku bayimbi ababadde boogerwako nga abaggwaamu nga talina na bivvulu by’amaanyi gye bamupangisa kuyimba. Gye buvuddeko yeewuunyisiza abantu bwe yatandise okulaga ssente n’akola ne situdiyo ku lw’e Salaama nga n’emmotoka avuga ya bbeeyi. Era ennaku zino ennyimba azifulumiza kumu kumu. Omu ku mikwano gye yatugambye nti yafunayo omukazi Omuzungu amuteekamu ssente kyokka ye Sizzaman agamba nti ebintu bino abifunye mu ntuuyo ze.
Moze ne Weasel
Ng’oggyeeko bakyala baabwe abamanyiddwa Lilian Mbabazi owa Moze ne Samira Tumi owa Weasel, bano buli omu abaddeko mu laavu ne nkubakyeyo era kigambibwa bamanyiddwa okucakala n’ebyana mu mawanga gye balaze okuyimba omuli n’abo ababegwanyiza kubanga bassereebu.
Captain Scooter
Ono kigambibwa alina omukazi nkubakyeyo e Dubai amuteekamu ssente era eyamugulira mmotoka mwatambulira n’okumukolera bizinensi endala. Kigambibwa nti gye buvuddeko Captain Scooter yali agugulana n’omuyimbi Layita Laita olw’omukazi Shaki Shaki abeera mu Amerika.
Kazibwe Kapo
Wiiki ewedde omukazi Joweliya Nabuliba nkubakyeyo e Denmark yamutabukidde lwa kumufera laavu n’atuuka n’okumulimba embaga ng’ate kuno alinako omukazi omulala Sharuwa Namakula eyaakamuzaalira.
Guvnor Ace
Ye Ronald Ssemawere ng’ali mu kibiina kya Leone Island ekya Chameleone. Mu August 2015, yeewuunyisa abantu bwe yagattibwa ne nnamukadde, Jonnson Ann Lisa 75, enzaalwa y’e Sweden. Wadde yategeeza nti omukazi ono amwagala, bangi baakiwakanya nga bagamba nti amunoonyako ssente na butuuze bw’e Sweden. Baayawukana ng’afunye omuwala omuto.
Haruna Mubiru
Wadde kati alina ssente n’ebyobugagga ebiwerako, y’omu ku baganza abakazi olwa ssente. Yamala emyaka 4 mu mukwano ne Faridah Nantongo eyali amuteekamu ssente. Faridah yagenda ku kyeyo n’afunirayo omusajja Omuzungu. Naye yagenda okudda nga Kitooke ayingizzaawo Raudah Ssonko mu 2009. Ate mu August 2014, Faridah yaddamu okulabikako ng’apepeya n’omuyimbi King Micheal.
GNL Zamba
Ono abaddeko mu mukwano n’abakyala abawera nga kigambibwa be bamuteekamu ssente. Okuviira ddala mu 2010, nkubakyeyo, Becky Emons Mirembe ow’e Sweden bwe yamusibisa, ensonga baaziyingizaamu laavu nti ssente GNL ze yalya ku Becky ze zaali zibatabudde.
Yafuna omulala, Ruth Gilian naye ne batabuka nga kati alina Omumerika Tamar Michal eyamutwala mu Amerika gye babeera.
Ronny Sitamina
Ono yali muzinyi wa Eddy Kenzo. Y’omu ku batambulira mu bulamu bw’okwagala abakazi bankubakyeyo abalina ssente. Emabegako yali abeera Dubai ne Rhona kyokka agavaayo galaga nti ono yayawukana naye ng’alina mulala.
Abayimbi abalala aboogerwako okutambulira mu bulamu buno kuliko: Eddy Kenzo, Dr Jose Chameleone ne King Saha.
Axess Kayemba
Ono ye Shafiki Kayemba nga naye yali muyimbi mu Leone Island nga kati abeera Thailand gye yafuna omukazi amuteekamu ssente. Agamba nti omukazi ono yamuwonya ennaku y’e Kampala era tajjula newankubadde banne bamukuba olwali nti baamukuba empeta.