
Amaka g’omuyimbi Stabua Natooro (ku kkono) ge yazimbye e Ndejje ku lw’e Ntebe. Yagayingidde gye buvuddeko era agamba nti yawonye okusula mu kifulukwa.
Ssente ze bayoola mu kuyimba abasinga bazimalira mu kulya bulamu na bintu bya swagga ng’okuvuga mmotoka n’okupangisa amaka ag’ebbeeyi ne batuuka okuva mu nsiike y’okuyimba oba okuggwaamu nga tebalina kya maanyi kye balaga n’abamu okulaajanira abalala okubayamba.
Okwewala embeera eno, bangi bakyusizza mu ndowooza ne batandika okugula poloti n’ettaka wamu n’okuzimba ng’ekimu ku by’obugagga.
Ng’oggyeeko abayimbi abanene abalina amaka agamanyiddwa, tukuleetedde omugigi gw’abayimbi abaggudde olutalo ku bupangisa n’abamu kw’abo abakyalemedde mu bupangisa ne batubuulira pulaani zaabwe.
Stabua Natooro
Ono yaakayingira amaka ge ag’omulembe e Ndejje Zanta okumpi n’ekitebe kya munisipaali ya Makindye Ssaabagabo. Agamba nti kibadde kirooto kye okuzimba amaka agaweesa ekitiibwa.
Yategeezezza nti okutuuka ku buwanguzi buno kubadde kwerekereza ebirungi bingi ng’okusula mu kifulukwa n’efi ssa ez’okuzimba.
‘‘Kintwalidde emyaka esatu okugimaliriza ate ndi musanyufu nti mbadde nzimba ennyumba biri omulundi gumu kubanga n’eya taata mu kyalo nayo nagimalirizza.
Moze Radio ne Weasle
Olw’enkaayana zaabwe n’eyali maneja waabwe Jeff Kiwa ku maka gaabwe aga Neverland e Makindye mu Kizungu, ababiri bano bali mu kaweefube wakuzimba amaka amalala.
Baagula poloti mu bitundu eby’enjawulo era w’osomera bino nga Moze Radio asitudde ennyumba e Kitubulu e Ntebe.
Nnene ekisusse era batugambye nti kirabika emutuddemu kubanga tekyatambula.
Abayimbi abalala ebibakwatako biteereddwa ku nnyumba zaabwe.
ABAKYAPANGISA BEEWOLEREZZA
Olw’okwagala okwekuumira ku mutindo, abayimbi basalawo okupangisa ennyumba ez’ebbeeyi era embeera eno abamu ebawalirizza okusenguka kumpi buli mwezi.
Kyokka waliwo n’abo abeegatta ne bapangisa ennyumba emu ennene ate abalala basula mu situdiyo zaabwe.
Princess Amirah
Ono asula Lungujja ng’apangisa amaka malamba ku 1,000.000/-.
Agamba nti wadde ennyumba eza ssente entono gyeziri, ayagala kusula mu nju emuweesa ekitiibwa.
Spice Diana (Namukwaya Diana)
Apangisa nnyumba nnamba e Makindye mu Dubai Zooni.
Agamba nti asasula 1,500, 000/- buli mwezi. Maneja we Roger yategeezezza nti omuyimbi we okusula mu nnyumba ey’ebbeeyi si kweraga wabula kimwongera amaanyi okukola ennyo era kati alina poloti ssatu e Matugga ng’ateekateeka kutandika kuzimba.
Hajjati Madinah
Wadde ennaku zino ebintu tebimutambulira bulungi nga n’ennyumba asula ku za Paasita Yiga e Wakaliga ku bwereere, Madinah agamba alinayo poloti gye yagula e Bujuuko nga kati anoonya ssente ezizimba.
Phiona Nsubuga
Asula ku Salaama Road era apangisa nnyumba nnamba akakadde kamu buli mwezi. Kuno kwe kuli ne situdiyo yaabwe eya Fyima World.
Aba B2C
Bapangisa Makindye mu Amazooni zooni ku 1,500,000/- buli mwezi. Maneja waabwe Andrew Mugerwa agamba ke batandise okukola bagenda kufuna ssente ezibamala n’okufi issaawo ezigulira buli omu poloti n’okuzimba.
Kalifah Aga Naga
Apangisa Masanafu okumpi n’ewa Andy Mwesigwa eyali kapiteni wa Cranes.
Asasula emitwalo 350,000/- kyokka gye buvuddeko yatandika okuzimba e Kawempe Jinja - Kalooli.
Dr. Bitone:
Ono ayimba nga Chameleone. Apangisa ku kkalina emu ku madirisa Zooni e Makindye era buli mwezi asasula 450,000/-. Omwaka guno asuubira okutandika okuzimba ennyumba.
Ziwa de Lion
Ono ye yayimba oluyimba lwa ‘Ssekesseke’ kyokka tannaba kumanyika nnyo era agamba nti yasalawo asooke azimbe ennyumba mwasula ne maama w’abaana be e Makindye nga tannaba kukulaakulanya kitone.
Abatuuze babeenyumirizaamu
Kumpi buli muyimbi gy’azimbye abatuuze bamwenyumirizaamu era abasinga bagamba nti basanyufu okusuula ne bassereebu.
- Sula Mubiru ow’e Ndejje Zanta awaanye Natooro okuba omuntu w’abantu. Agamba nti newankubadde ssereebu, muntu mukakkamu, alina empisa era bwe yafuna akabenje y’omu ku baamulambula mu ddwaaliro.
- John Mulindwa omuvuzi wa bodaboda ku siteegi y’e Nsasi yagambye nti nabo basanyufu okufuna ssereebu ku kaalo. Abayimbi tubadde tubawulira Namugongo n’e Naalya gye basula ate Mesach Ssemakula atuyitako buyisi ng’agenda e Buwaate.