TOP

Bebe Cool akoze kolabo n'Omumerika Jason

Added 30th June 2017

OMUYIMBI Bebe Cool omuziki agututte ku ddaala eddala.

Akoze kolabo n’omuyimbi Omumerika Jason Derulo lwe batuumye ‘‘Push Up’’ nga baalukwatidde mu Coke Studio e Kenya.

Vidiyo bagenda kugikwatira mu Amerika. Twayogeddeko ne Bebe Cool n’atubuulira engeri gye yakwataganyemu n’omuyimbi ono.         

  ‘‘Jason Derulo namusanze mu Coke Studio gye nayitibwa okwetaba mu bivvulu, abayimbi ab’enjawulo mu Afrika mwe basisinkanira okukola ennyimba.

Bano balina enkola y’okuleeta omuyimbi omunene ali ku ntikko mu nsi yonna n’abalala okuva mu  Afrika ne pulodyusa asinga.

Mu Uganda baatutte nze Bebe  Cool, e Kenya baggyeyo Dela, e Tanzania Renivani ye yabakiiridde olwo pulodyusa ne bakozesa Master Craft okuva e Nigeria.

Ani yawandiise oluyimba luno?

Twaluyiiyizza ffembi ne tutendekebwa n’okuwawula amaloboozi oluvannyuma ne tulukwatira mu Coke Studio e Kenya n’oluvannyuma ne tuluyimbiramu abantu nga kati tulinze kukola vidiyo mu September. 

Kati kiki ekiddako?

Aba Coke Studio twabasabye oluyimba tulisigaze nga tuluyimba era baatuwadde ssente eziri mu bukadde 288 z’okukwata vidiyo ey’omulembe mu Amerika.

Weereba wa oluvannyuma lw’okukola kolabo n’omuyimbi ono?

Ebirooto byange bitandise okutuukirira kubanga bulijjo bayimbi bannange banvuma  okuteeka ssente ennyingi mu kuyimba wabula ndowooza kino kye kintuusizza ku kino.

Ate mu myaka etaano okuva kati ng’enda kubeera mmaze okutuuka ku ddaala ly’omuyimbi omunenne mu  nsi yonna.

Bo Bannayuganda abatategeera Lungereza bagenda kufuniramu wa?

Oluyimba luno lwa mudigido era nga Bannayuganda bwe batera okunyumirwa ennyimba z’aba Jamaica n’olwaffe atategeera bigambo waakiri anaanyumirwa ekidongo.

Nnyimba ki endala ezikutte abantu omubabiro.  “Katonokatono ne Tteeka ssente w’olaba, Oneepikira ne Mboozi z’amalwa’’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...