
Kyagulanyi ne kkwaaya ya Chrisma nga bayimba.
Lutuumiddwa ‘Yogaayoga nnyo Kampala’ nga lukulisa essaza lino okuweza emyala 50.
Oluyimba luno lwayiiyiziddwa omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine nga lwatongozeddwa Vicar General owookubiri ow’essaza lino, Msgr. Lawrence Ssemusu eyakiikiridde Ssaabasumba ku Pope Paul Memorial Hotel mu Ndeeba.
Okutongoza oluyimba luno waasooseewo okusoma essaala y’ekijjukizo olwo kkwaaya ya Chrisma eya Fr. Raymond Kalanzi ne Bobi Wine ne basanyusa abantu.