
Abawagizi ba Chris Evans nga bamukebera mu mutwe okwekebejja enkovu z'ennyondo ezaamukubwa
Yabadde mu kivvulu kya Iddi e Nateete ku kizimbe kya Samona Shopping Center era olwalinnye ku sitegi, abawagizi ne bamuyiikira kyokka bangi nga bwe baalookeera okulaba oba ddala ebiwundu bye yayogerako nti baamukuba ennyondo mwenda ku mutwe kwebiri.
Bazze ku sitegi ne berabirako kyokka abamu baavuddeyo batankana ate abalala nga bamusaasira olw’enkovu ze baalabyeko.
Omuyimbi oyo yakubwa mu May w’omwaka guno bwe yali e Lungujja ng’anoonya mmere ku ssaawa musanvu za kiro.
Abayimbi abalala abaasanyusizza abantu kuliko Fred Ssebatta eyayise gwe yayise mutabaniwe, David Lutalo eyasaanudde abantu bonna ne batandika okuyimba naye ekintu ne kikwata akati.
Olwo Willy Mukaabye ne Daxx Kartel baabadde baakava ku sitegi mu kivvulu kino ekyamenye likodi y’okuggwa ng’obudde buyise mu Kampala anti kyawedde zigenda mu munaana ez’ekiro wa bula ng’abantu bagenda mu maaso na kulya ssente.
Absairaamu n’abatali obwedda basanyuka kyenkanyi naye ng’abatali basiraamu babakuba olwali nga bwe bababuuza wa gye baasiibidde okutuuka okwekulisa ekisiibo bwe batyo.