TOP

Omuziki gwe tugenda okubakubira gwa kyasa

Added 7th September 2018

LEERO bbinu ku Freedom City e Najjanankumbi. Abayimbi b’ekibiina kya B2C okuli: Peterson Ssali (Bobby Lash), Julius Kasagga eyeeyita Delivad Julio ne Richard Mugisha amanyiddwa nga Mr. Lee be baliyo leero nga September 7, 2018.

 Abayimbi ba B2C

Abayimbi ba B2C

LEERO bbinu ku Freedom City e Najjanankumbi. Abayimbi b’ekibiina kya B2C okuli: Peterson Ssali (Bobby Lash), Julius Kasagga eyeeyita Delivad Julio ne Richard Mugisha amanyiddwa nga Mr. Lee be baliyo leero nga September 7, 2018.

W’osomera bino nga baamaze dda enteekateeka z’ekivvulu nga balinze badigize babakube omuziki. Ku Lwokusatu aba B2C baasibye bakola ddulayivu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga bayita abawagizi baabwe okujja mu kivvulu kyabwe okubawagira ne balayira okubawa essanyu kubanga kati bakugu mu kukuba omuziki.

Ennyimba ezibatunze mu bantu kuliko: Njabala, Tokigeza, Wansensera, Kapande, Nkwagala, Gutamiiza, Wanyonoona, Songea, Sure Deal, African Beauty, Mateeka ne So Fly. Andy Mugerwa maneja wa B2C yategeezezza nti abaana bano babadde mu kutendekebwa nga kati amaloboozi temuli wadde akafuufu ate nga balina n’amazina amapya abantu ge batasaanye kusubwa era kye bagenda okubawa kiggyayo erinnya lyabwe ‘B2C’ ekitegeeza ‘‘Born to Conquor’’ ekivvuunulwa nti ‘Twazaalibwa kuwamba’.

Andy yategeezezza nti ekibiina kino kyatandikibwa emyaka ebiri emabega ng’era kino kye kivvulu kyabwe ekisoose. Bakituumye ‘‘B2C Live in Concert’’.

Bayimba Ragga, RnB, Zouk ne Reggae ng’omuziki baagutandikira mu kkanisa. Ku Lwomukaaga nga September 8, bali ku Satellite Beach e Mukono ate nga September 9, babeere ku Big Zone e Nansana.

Okuyingira 10,000/- ne 30,000/- ate emmeeza ya 1,000,000/-. Wiikendi eddako bali ku Hilltop Gardens e Ssemutto, Trans Africa e Jinja ne Sikezy Hotel e Iganga. Vision Group efulumya ne Bukedde ebataddemu ssente.

Bawerekeddwako abayimbi ab’enjawulo okuli: Jose Chameleone, Rema Namakula, Geosteady, Stecia Mayanja, Irene Ntale, Madrat ne Chiko n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...