TOP

Ebyayambye Abenakyo okussaawo likodi mu mpaka za Miss World

Added 10th December 2018

NNALULUNGI wa Uganda Quiin Abenakyo atikkiddwa engule ya Nnalulungi wa Ssemazinga wa Afrika mu mpaka za Nnalulungi w’ensi yonna (Miss World) mwe yakoledde likodi bwe yakutte ekyokusatu.

Abenakyo 22, afuuse Munnayuganda asoose mu byafaayo by'empaka za Miss World okumalira mu bawala abasatu abasinga obulungi nga yabuzeeko katono okutikkirwa engule ya ‘Miss World 2018'.

Mwanamuwala Abenakyo, enzaalwa y'e Mayuge mu Busoga, ataddewo ekyafaayo nga Munnayuganda asoose okuwangula engule eya ‘Miss World - Africa'.

Abamu baalaze nti akutte Kyakusatu kyokka abategeka Miss Uganda aba Kezzi Enterteinment ne balaga nti yakutte Kyakuna, wabula emikutu emirala ne giraga nti yakutte Kyakutaano.

Kino kyavudde ku bategesi ba Miss World okulangirirako abantu babiri bokka kw'abo abataano abaabadde bayiseemu.

Kino tekikomye ku kutunda kifaananyi kya Uganda mu nsi yonna wabula n'okutangaaza emikisa gya Abenakyo okufuna ensimbi n'ettuttumu ery'enjawulo mu Afrika n'ensi yonna.

Empaka za Miss World 2018', nga ze z'omulundi ogwa 68 zaakomekkerezeddwa ku Lwomukaaga abawala bataano abasingayo obubalagavu mu nsi yonna bwe babbinkanye mu kwolesa obulungi, emisono, n'amagezi okulondako Nnalulungi w'ensi yonna ow'omwaka 2018.

Abenakyo, yalese Abazungu bamunyezeza mitwe olw'engeri bakira gy'addamu ebibuuzo n'amagezi amayitirivu nga kuno kwe yagasse obuwagizi obungi bwe yafunye mu balonzi abaamuyiiridde obululu ku yintaneeti.

Vanessa Ponce De Leon enzaalwa ya Mexico ye yakutte ekisooka, Limsnukan Nicolene enzaalwa ya Thailand n'ekwata ekyokubiri ate Abenakyo owa Uganda n'akwata ekyokusatu.

Empaka zino zaayindidde mu kibuga Sanya ekya China nga zaakulungudde wiiki nnamba ng'abategese basunsula mu bawala 188 abalungi kaalaala okulonda ‘Miss Word 2018'.

EBYAWANGUZZA QUIIN

Abenakyo okuyitamu, azze awangula abawala okuva mu mawanga amalala nga yasooka kumegga Nnalulungi wa Argentine ne yeesogga olw'olwokaano lw'abawala 30 era awo wonna n'ayitamu okutuuka mu bawala abataano abasingayo obulungi mu nsi yonna.

Azze awangula olw'engeri ey'amagezi n'obwongo gy'abadde ayanukula ebibuuzo n'okwennyonnyolako ebintu by'akola mu Uganda.

Pulojekiti ye ey'okuyamba abaana abawala abafuna embuto nga bakyali mu myaka emito yakutte omubabiro abategesi be yannyonnyodde nti mu Uganda kizibu kinene aky'abaana abato abafuna embuto nga tebannatuuka myaka 18 nga ku buli baana abawala 5 abatannaweza myaka wakati w'emyaka 14- 19, omu alina olubuto oba yazaalako.

Mu kuwangula engule ya Nnalungi wa Afrika, Abenakyo yawangudde Nnalulungi wa Mauritius, Murielle Ravina n'akola likodi. banna lulungi mu bitundu Afrika: Quiin Abenakyo (Uganda) Amerika: Solaris Barba (Panama) Asia: Nicolene Limsnukan (Thailand ) Caribbean: Kadijah Robinson (Jamaica) Bulaaya: Maria Vasilevich (Belarus) Oceania: Jessica Tyson (New Zealand).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...