TOP

Lutalo ne Sheebah beeraga leero eryanyi

Added 14th March 2019

ABAYIMBI David Lutalo ne Sheebah Karungi bamazeeko 2018 n’okuyingira 2019 nga bookya mu kukuba omuziki. Kyokka waliwo okukubagana empawa mu bantu nga beebuuza ku Lutalo ne Sheebah ani asinga okukuba engoma.

ABAYIMBI David Lutalo ne Sheebah Karungi bamazeeko 2018 n'okuyingira 2019 nga bookya mu kukuba omuziki. Kyokka waliwo okukubagana empawa mu bantu nga beebuuza ku Lutalo ne Sheebah ani asinga okukuba engoma. 

Sheebah bwe yategeka ‘Mwoyo Concert' abadigize baamuwagira mu bungi kyokka ne Lutalo bwe yategese  ekivvulu kya ‘Nakusiima Concert' yalaze nti ye nnamba emu mu kukuba omuziki olw'engeri abantu gye bazze bamuwagira mu bifo byonna byayimbiddemu.   

 
W'osomera bino nga Lutalo ne Sheebah be bamu ku bayimbi abavuganya ku ngule ya HiPipo Awards ey'omuyimbi asinga okukuba omuziki mu ggwanga n'oluyimba olusinga ezigenda okubeerawo enkya ku Lwomukaaga.


Ng'abantu tebannaba kusalawo, Lutalo ne Sheebah basookera ku Theatre La Bonita mu Kampala gye bategese olutalo lw'endongo giyite ‘Battle' mwe bagenda okuttunkira mu kukuba omuziki, okuzina, okwambala n'ebirala olwo abadigize basalewo ani akira ku munne.


Teebereza nga Lutalo akuba Ujuwe ate Sheebah n'ayingizaawo Ice Cream. Bw'aleeta Eat Zote ono n'akuba Wankonakona.  Lutalo bwakuba Nkwagalira ddala, Sheebah n'akuba Nkwatako wamma ne nkulabira. Bino bigenda kubeera mu kivvulu ekituumiddwa ‘‘Nakusiima mu Wankonakoona Concert'' ku Theatre La Bonita leero ku Lwokutaano n'enkya ku Lwomukaaga. Okuyingira 40,000/- ne 50,000/-.


Lutalo amaze emyaka 10 mu kisaawe ky'okuyimba. Yatandikira ku nnyimba nga Kapaapaala, Ayi Mukama, Kwasa kwasa, Saabulula, Manya, Mubbi bubbi, Woloolo n'endala ate Sheebah alina: Omwoyo, Love, Beera nange, Mummy yo,  Embeera zo, Binkolera, Go down, Nze wuwo, Sitaan Tonkema n'endala nnyingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Okello Kalule.

Omulimi by'olina okukola ok...

MU Uganda mulimu ebika by'ebinyeebwa ebisukka mu 26 nga buli kimu kisobola okudda kumpi mu buli kitundu kya ggwanga...

Kigoonya.

Nze nnindiridde buwanguzi -...

Bya Vivien Nakitende Angella Kigoonya Namyalo eyeesimbyewo ku bwameeya bwa munisipaali y'e Lubaga ku kaadi ya...

Mberaze aleebya Ssebuggwaawo.

Ebya Mmeeya Ssebuggwaawo bi...

We buzibidde ng'okubala obululu mu bitundu bya Lubaga South eby'enjawulo kulaga nga Munna NUP, Zachy Mawula Mberaze...

Nga bateeka omulambo gwa Bisaka (ku ddyo) mu nnyonyi okugutwala e kapyemi. Eyeeyita Katonda alese ebyafaayo.

Eyeeyita Katonda alese ebya...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Owobushobozi Bisaka ziri mu ggiya. Omulambo gwe okuva e Nairobi gwaleeteddwa mu nnyonyi...

Ggaadi eziwedde okukola.

Okwokya ggaadi za bodaboda ...

BW'OZITUNUULIRA kungulu oyinza okulowooza nti ziggyibwa bweru wa ggwanga olw'endabika yaazo ennungi. Ggaadi zino...