TOP

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize mu Kyepukulu

Added 15th July 2019

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne Bukedde

 Chosen Becky naye ajja kubaayo era yeesunze

Chosen Becky naye ajja kubaayo era yeesunze

TEWAKYALI kulanga kulala ‘‘Ekyepukulu Ani Asinga 2019'' kigenda kubeera mu kisaawe e Wankulukuku nga August 4, 2019. Abbey Musinguzi owa Abtex Productions yagambye nti, abayimbi bonna abategeera omuziki mu Uganda ne bakazannyirizi ab'amannya bagenda kubeerayo okubakubira omuziki. 

Abasajja bakulembeddwamu David Lutalo. Abalala kuliko: Geoffrey Lutaaya,  Haruna Mubiru Kitooke, Chris Evans, Ronald Mayinja, Gravity Omutujju, Mathias Walukagga, Kazibwe Kapo ne Eddy Yawe ate bakazannyirizi bakulembeddwamu MC Mariach. Bbo abakyala bakulembeddwamu Sheebah Karungi, Rema Namakula, Chozen Becky (mu katono), Iryn Namubiru, Maureen Nantume, Stabua Natooro, Carol Nantongo, Spice Diana n'abalala. Okuyingira 10,000/- buli muntu. Wajja kubeerayo n'empaka z'ani asinga obuwanvu, asinga obubi n'omwana asinga okwavula. Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...