TOP

By'olina okussaako essira ng'oyooyoota ekisenge ky'abaana bo

Added 31st October 2019

Bw'oba otegeka ebisenge by'abawummuze baleme kukutawaanya na kukulwalirira

 Kabada ng'eno nnungi okuteeka mu kisenge ky'abaana ne bakuumiramu ebintu byabwe mu kifo ky'okubisaasaanya

Kabada ng'eno nnungi okuteeka mu kisenge ky'abaana ne bakuumiramu ebintu byabwe mu kifo ky'okubisaasaanya

Bya Stella Naigino

Oluwummula lukubye kkoodi ate nga luno lwe lusinga obuwanvu mu mwaka era ffenna twesunga abaana okudda awaka. Wabula obategekedde otya nga kw'otadde n'abo abasigala awaka okubakuuma nga balamu bulungi era nga basanyufu.

Omwana yenna okukula obulungi, alina okulya obulungi ate era n'okusula obulungi mu kifo ekisanyusa ate nga kiyonjo.

Asaad Tamale, omukugu mu kuyooyoota amayumba agamba nti, omuzadde alina okutunuulira ebintu eby'enjawulo okukuuma ekisenge ky'abaana be mu mbeera ebeeyagaza ate nga balamu bulungi. Mu bino mulimu:

1. Langi gy'osiiga ekisenge ky'abaana.

Ekisenge ky'abaana kirina okuteekebwamu langi ennungi era ebasanyusa okutunulako.

Langi erina okubugumya ekisenge era osobola n'okukubako ebifaananyi eby'enjawulo omwana wo by'ayagala.

Langi eya pinka, kakobe oba kyenvu osobola okuziteeka ku kisenge ky'abaana abawala ate abalenzi n'obasiigira bbululu ow'amazzi, oba emmyuufu.

 bumu ku butanda bwabaana obuwundiddwa obulungi obusanyusa amaaso Obumu ku butanda bw'abaana obuwundiddwa obulungi obusanyusa amaaso

 

2. Entebe n'ebitanda.

Entebe z'oteeka mu kisenge ky'omwana wo zirina kubeera ezo ezitazitowa era nga nazo zirina langi ezisikiriza amaaso.

Ekitanda ky'omwana kiteekeko dizayini esanyusa era ng'ejja kumusikiriza okukyebakamu.

Kiteekemu ebintu ebisikiriza oba ebirabika obulungi nabyo bijja kusanyusa omwana wo era bimwagazise okwebaka.

3. Ekitangaala

Ekisenge ky'abaana kirina okubeeramu ekitangaala ekimala, olina okukissaako amadirisa ate n'okussaamu ettaala.

4. Obukuumi obumala

Omuzadde olina okufaayo okulaba ng'ekisenge ky'abaana tekiriimu bintu biteeka bulamu bwabwe mu buzibu.

Ebintu ebisala, ebifumita n'enirala eby'obulabe tobireka mu kisenge kyabwe. Lydia Nyesigomwe, omukugu mu by'abaana agamaba nti, ekisenge ky'abaana kiteekemu kkabada  mwe batereka ebyokuzannyisa byabwe n'ebintu ebirala bye bakozesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu