TOP

Laba ebbinu eribeera mu mmotoka z'empaka

Added 21st February 2020

ONOONYA ssanyu lya ku nsi, olina situleesi oba onoonya wa kuliira bulamu.Alina mmotoka gikube ekisumuluzo, owa pikipiki gisambe naawe ow’ebigere nnoonya banno tugende mu mmotoka z’empaka

 Bano baafunye akafo we batuula okunyumirwa mmotoka z’empaka.

Bano baafunye akafo we batuula okunyumirwa mmotoka z’empaka.

 

Ng'oggyeeko okuba omuzannyo abawagizi gye bagenda okulaba n'okuwagira mmotoka z'empaka n'abavuzi baabwe, abavubuka baalifuula bbinu lyennyini gye bafuuyira ebbidde ng'eno ebidongo bwe bisindogoma wamu n'ebyana ebyakula ne biwola nga byesaze obuwero okwetala gy'obeera nti bali mu lumbe.

Waliwo n'abagendayo kyokka bw'obabuuza ku by'emmotoka nga tabimanyi bali mu kutiguka. Ate bwe buwungeera ne nkulabira.

Ebyana biwala ebyanywa amata byegiriisiza mu mmotoka z'empaka era mu zisembyeyo ezaabadde mu bitundu by'e Mbarara byaleese abasajja beenuguuna. Abawagizi aba buli kika omuli: abaana, abavubuka, abakadde, bataata ne bamaama, abagagga abavuga mmotoka ez'ebbeeyi n'abaavu aba ssapatu eno gy'obasanga.

Kyokka n'abawuulu babeerayo mu bungi nga banoonya zi ‘sure' soma ‘ssuwa' oba ‘win' soma wiini ekitegeeza nti emikisa gyabwe giri 90 ku 100 okufuna ababawa essanyu.

Bw'oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka' nga ‘n'ebithambi' ebitukula obirengera nga teweetaaga kubuuza. Omanya bumanya nti ye ssaawa okuliisa ku maaso nga bw'onyumirwa abavulumula mmotoka n'obukolomooni bwe bakola omuli okuweta amakoona ku sipiidi, sawuti, n'akafubutuko olwo abasajja abalina ebigambo byabwe nga n'ensawo zaabwe nsanyufu ne beeyogerako.

Ebbinu bwe lyeyongedde mu muzannyo guno, abategesi nabo ne bakyusaamu.

Kati bagikolera ddala nga bizinensi mwe bayoola omusimbi. Waliwo n'empaka ezimu ze baguza bapulomoota abaziranga n'okuzitegeka ng'ebivvulu olw'ebirungo bye bateekamu.

Abawagizi beekozeemu ebibiina Abawagizi bwe bagenze beeyongera kwe kusalawo ok- Laba ebbinu eribeera mu mmotoka z'empaka wekolamu ebibiina mwe bayita okuwagira abantu baabwe.

 

Bwe batuuka mu bifo awali empaka zino oyinza okulowooza bali mu mpaka zaabwe.

Waliwo abeeyita ttiimu Kikankane nga bano ba Duncan Mubiru Kikankane, ttiimu Piripiri ba Jas Mangat, ttiimu Omunyeto ba Ambrose Byona, Kawunyemu Rally Team ba Samuel Bwete.

Ttiimu mafumafu ba Posiano Lwakataka ssaako abavubuka ba ‘team drifters' abalina mmotoka ez'omutawana n'abalala. Bano tebakoma ku kya kuwagira bantu baabwe wabula bamanyi n'okuteekawo empaka nga buli omu asibira ssente ku muvuzi we nti y'agenda okuwangula.

Wabula bano bonna bali wansi w'ekibiina kya ‘Uganda Rally Funs' ekikulirwa Samson Gitta Pulezidenti w'abawagizi b'emmotoka z'empaka. Agamba nti omuzannyo guno gukyuse naddala ku ludda lw'abawagizi.

Tebakyakoma ku kuwagira bavuzi kubanga bangi bagendayo okulya obulamu era bateekamu ssente nnyingi.

Agamba nga Pulezidenti, yatandikawo n'enkola y'okutwala ebyana ebinyirira empaka gye zibeera nga n'abamu ku bano bayizi be bajja ku yunivasite ez'enjawulo okunyumirwa n'okusanyusa abantu abalala ababeerayo. "Bano tubateekamu ssente era bakoze omulimu munene okusikiriza abawagizi naddala abasajja Ono yeesaze olugoye oluliko siriiti ekoma mu kiwato.

Omukazi ng'asibye akaseppiki manya ebbina. Ono yazze asuddemu ka bayika akaggyayo ffiga.

Abasajja nga babeera bantu bakulu enkolagana yaabwe n'abasajja be basanzeeyo sigivunaanyizibwako era bangi mu mpaka nga zino bafuniddeyo ababeezi.

Ogenda okulaba ng'omuntu gwe watwalako ku mulundi ogwasooka mu kuddayo ajja nga mukyala wa muntu.

EFFUJJO Olw'embeera ebeera eno ng'abavubuka banywa omwenge, bangi bakola effujjo. Gitta agamba nti embeera eno ye yavaako okutandikawo ekibiina ky'abawagizi okulwanyisa effujjo era omulimu afubye okugukola.

Agamba nti olw'okuba abantu bangi abeeyiwa mu bitundu awabeera omuzannyo guno ate nga balina ebigendererwa bya njawulo abamu beenyigira mu bumenyi bw'amateeka omuli: okulwana, obubbi, abawagizi okuyingira mu mmotoka ekivaako obubenje n'ebirala.

ENNYAMBALA Peter Matovu agamba buli olukya ennyambala y'abawagizi eyongera okukyuka. Abantu abaayambalanga ebigoye ebiddugala nga bawoza bagenda mu nfuufu baabivaako kati beesala emisono gissonsomola ate nga baabuvunaanyizibwa.

Agamba ennyambala eno ebakoledde nnyo kubanga esikiriza bangi naddala abasajja abeetanira empaka zino nga n'abamu ekibatwalayo kulaba ku byana ebyambadde obugoye obusikiriza.

Bangi bwe baba bava awaka, babeera mu ngoye ezaabulijjo oba ezitatiisa, wabula olutuukayo nga baggyamu emivuliya nga basuulamu obuwero bo bwe bayita obulya ppate.

Abamu bambala obuwale obumpi bu ‘hot panties' obubakwata okuggyayo ffiga zaabwe nga n'obumu bukunjubuse (bwe bayita obwa damegi).

Abalala babeera mu busikaati obumpi ne bubbulawuzi obulaga omubiri obwakazibwako erya ‘kundi sho'. Ayambadde sikaati empavu waakiri ebeerako siriiti empanvu nga kumpi etuuka mu bisambi.

Buli omu abeera yeeyisa mu ngeri ey'okuvuganya kw'ani asinze okwambala!

ENGERI GYE BEETEGEKERA EBBINU: Pulaani y'okugenda awanaabeera empaka batandika okugikuba ng'ebula omwezi mulamba.

Batandika okunoonya be banaagenda nabo okunyumirwa, okutambula okutuukayo, bwe banaayambala, ebyokulya n'okunywa n'okunoonya ssente z'okusaasaanya mu bitundu gye bagenda.

Wooteeri ne loogi zibeera ku ttunzi. Ng'ebula wiiki ssatu ku bbiri, abawagizi batandika ‘okubuukinga' wooteeri ne loogi z'omu kitundu awagenda okubeera empaka.

Ebisulo bibeera bya kulwanira y'ensonga lwaki babyekwata mangu. Okugeza loogi ebadde 20,000/- empaka bwe zituuka oyinza okugifuna ku 80,000/- era abantu batandika okugendayo ng'ebula ennaku nga ssatu.

EKIBEERA MU BBINU Empaka bwe ziba za Lwamukaaga ne Ssande, abawagizi batandika na busiki ku Lwokutaano omuli ‘Drifting'. Mu nkola eno abavubvuka ekiro baleeta mmotoka ezeefanaannyirizaako ze bavuga mu mpaka okuli: Subaru, Alteza n'endala.

Basiba amakubo ne bazivuga nga bwe balaga obukodyo bw'okuvuga sipiidi n'okuweta amakoona.

Kino bateera kikola wakati wa ssaawa 4:00 ez'ekiro okutuuka ku 9:00 ogw'ekiro. Abamu bateekawo endongo ne basala ddansi okukeesa obudde nga bwe banywa n'okulya era bugenda okukya nga batamiiridde ddala.

ABEBYOKULYA N'OKUNYWA BABEERA KU MUGANO Abatuuze mu bitundu awanaabeera mmotoka zino babeera mu kuwagala bwongo nga balowooza ku bizinensi ze bayinza okukola okulya ssente z'abacakaze abajja okuwagira n'okunyumirwa empaka.

Ebimu ku bintu ebisinga okutundibwa bya kulya omuli emmere ey'abuli kika ssaako eby'okunywa omuli bbiiya n'amazzi.

Olw'okuba abantu babeera bangi, abafumbi b'emmere babeerawo mu bungi era buli kika kya mmere kibeerawo.

Ku lunaku lw'empaka balinnyisa bbeeyi y'ebintu okugeza essowaani y'emmeere eya 4,000/- bagitunda 10,000/-, ccupa y'amazzi ya 2,000/-.

Waliwo n'enkola y'abawagizi okugula ebintu ebibisi ne beefumbira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....