TOP

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara ekitone akizudde mu ffirimu

Added 21st February 2020

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.

 Lugobe

Lugobe

 

AZANNYIRA mu kibiina kya Aromantic Entertainment ekikulirwa Ahmed Lubowa.

Obukugu bwayolesa ng'azannya ebitundu ebimuweereddwa, toyinza kukikkiriza nti yali aluubirira kuwa bantu masakalamentu.

Ali mu ffi rimu ya ‘Sherry' ekyase ennyo ensangi zino.

Eyigiriza abantu ebizibu ebiva mu bwenzi n'okukubiriza abafumbo okwesigaηηana baleme kufuna bizibu omuli endwadde n'entalo.

Mu Ffi rimu eno azannya nga Zed, omusajja omwenzi eyakyanga abakazi n'akamala nga mwotwalidde n'abakozi b'awaka.

Ku nkomerero yakizuula nti obufumbo ob- wannamaddala bubeera bwa mukazi omu omutima gwe gwagala era yafundikira yeetondedde mukazi we Mariam ne batandika okubeera mu ddembe.

Yazannya ne mu ffi rimu ya "Hope" eraga obubbi, obulyake, obwenzi, n'obulimba obufumbekedde mu bantu ensangi zino.

Muno alabikiramu ng'omulamuzi omufere eyakwatagana n'omukazi ne bafera bba ataasoma gwe baalimbalimba n'ateeka omukono ku biwandiiko ebiwaayo ettaka lye ng'alowooza nti asayininga ku satifi keeti z'abagole ezikakasa obufumbo.

Kati yaweereddwa n'obuvunaanyizibwa okubeera kitunzi mu kibiina kya Aromantic Entertainment.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...