TOP

Laba byana biwala ebyanywa amata bwe byegiriisiza mu bbinu ly'emmotoka z'empaka

Added 21st February 2020

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’ ebitukula obirengera nga teweetaaga kubuuza

ONOONYA ssanyu lya ku nsi, olina situleesi oba onoonya wa kuliira bulamu. Alina mmotoka ekisumuluzo, owa pikipiki gisambe naawe ow'ebigere nnoonya banno tugende mu mmotoka z'empaka.

Ng'oggyeeko okuba omuzannyo abawagizi gye bagenda okulaba n'okuwagira mmotoka z'empaka n'abavuzi baabwe, abavubuka baalifuula bbinu lyennyini gye bafuuyira ebbidde ng'eno ebidongo bwe bisindogoma wamu n'ebyana ebyakula ne biwola nga byesaze obuwero okwetala gy'obeera nti bali mu lumbe.

Waliwo n'abagendayo kyokka bw'obabuuza ku by'emmotoka nga tabimanyi bali mu kutiguka. Ate bwe buwungeera ne nkulabira. Ebyana biwala ebyanywa amata byegiriisiza mu mmotoka z'empaka era mu zisembyeyo ezaabadde mu bitundu by'e Mbarara byaleese abasajja beenuguuna.

Abawagizi aba buli kika omuli: abaana, abavubuka, abakadde, bataata ne bamaama, abagagga abavuga mmotoka ez'ebbeeyi n'abaavu aba ssapatu eno gy'obasanga.

Kyokka n'abawuulu babeerayo mu bungi nga banoonya zi ‘sure' soma ‘ssuwa' oba ‘win' soma wiini ekitegeeza nti emikisa gyabwe giri 90 ku 100 okufuna ababawa essanyu.

Bw'oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka' nga ‘n'ebithambi' ebitukula obirengera nga teweetaaga kubuuza.

Omanya bumanya nti ye ssaawa okuliisa ku maaso nga bw'onyumirwa abavulumula mmotoka n'obukolomooni bwe bakola omuli okuweta amakoona ku sipiidi, sawuti, n'akafubutuko olwo abasajja abalina ebigambo byabwe nga n'ensawo zaabwe nsanyufu ne beeyogerako.

Ebbinu bwe lyeyongedde mu muzannyo guno, abategesi nabo ne bakyusaamu. Kati bagikolera ddala nga bizinensi mwe bayoola omusimbi. Waliwo n'empaka ezimu ze baguza bapulomoota abaziranga n'okuzitegeka ng'ebivvulu olw'ebirungo bye bateekamu.

 

 

 

 

 

 

 

 

 Ebifananyi bya Ali Waswa ne Nicholas Kalyango 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...