TOP

Ani taata w'omwana wa Juliana?

Added 25th May 2020

Okuva omuyimbi Juliana Kanyomozi lwe yazadde waliwo n’okusonga ku basajja abenjawulo abagambibwa nti bamuli nnyo ku lusegere.

 Juliana ne bbebi.

Juliana ne bbebi.

Bya MARTIN NDIJJO

 JULIANA Kanyomozi bwe yabadde tannazaala, omusajja akozesa erinnya lya Habi Moses n'assa obubaka ku mukutu gwe ogwa facebook nga March 20 obugamba: kye kiseera okufunayo omwana owookubiri. Ajja kuzaalibwa JK.

 abi oses Habi Moses

 

Kyateegerekese luvannyuma nti "JK" yabadde ategeeza Juliana Kanyomozi kubanga Juliana bwe yazadde Habi Moses yatadde ekifaananyi kya Juliana ng'asitudde bbebi we.

Moses ekifaananyi yakitaddeko obubaka: thanks God, silence is golden (nneebaza Katonda , okusirika kya muwendo nnyo).

Moses yatadde ku mukutu ekifaananyi kya Juliana ne bbebi nga May 13 ku ssaawa 5:43 ez'ekiro. Ne Juliana yakitaddeko ku lunaku lwe lumu kyokka ye yasoose ku ssawa 4:51 ez'ekiro.

 uliana ngali lubuto Juliana ng'ali lubuto.

 

Bino bijjidde mu kiseera ng'abantu beebuuza ani taata w'omwana wa Juliana?

Kino kyatandika mwaka guwedde Juliana bwe yajja mu bantu ng'alabika alina olubuto.

Moses yatandika okulaga enkolagana ye ne Juliana omwaka oguwedde.

Nga May 15, 2019 yassa ekifaananyi kya Juliana ku facebook n'asaako obubaka: yaaaaa first step made (eddaala erisooka ndituuseeko).

Nga September 6, 2019 yassa ekifaananyi kya Juliana ku mukutu n'obubaka: Crush wange omu bwati! 

Juliana yazadde May 12 nga kigambibwa nti yazaalidde bweru wa Uganda. Waliwo ebigambibwa nti mu Amerika.

Okuva lwe yazadde waliwo n'okusonga ku basajja abenjawulo abagambibwa nti bamuli nnyo ku lusegere.

Bano kuliko eyali omuvuzi w'emmotoka z'empaka omwatiikirivu era omusuubuzi w'omu Kampala.

 Waliwo abaludde nga balaba Juliana n'ofiisa wa UPDF era olumu baalabibwa nga beesanyusa ku wooteeri ya Mountain of the Moon e Fort Portal.

 Waliwo n'abasonga ku musuubuzi w'emmotoka alina ekibanda e Namasuba.

Kyokka kati kyongedde okweyoleka nti Moses alabika y'ali mu kintu.

Mu mawulire agayiting'ana ku bya taata w'omwana wa Juliana, Moses yatadde ku facebook ekifaaananyi ekirala nga May 20, nga Juliana ali lubuto lukulu n'agattako obubaka: Katonda agamba nja kukola ekintu ekipya mu bulamu bwo.

Ate nga February 25, yassa ku mukutu ekifaananyi kye ne Juliana nga kigatte. 

N'assaako obubaka: to all silent friends. Today is your day, just say hello. So we will know If you are still part of us. Haters stop your nnugu. Moses alaga nti Dokita e Rwanda. 

Talina mukyala kyokka alina omwana omu omuwala wa myaka 10. Ku mukutu gwe asinga kussaako bifaananyi bye, ebya Juliana n'ebya muwala we.

 bubaka nebifaananyi abi oses byazze aweereza Obubaka n'ebifaananyi Habi Moses by'azze aweereza.

 


 
Wabula mikwano gya Juliana abaategeezezza nti Juliana yennyini y'alina okukakasa kitaawe w'omwana kuba waliwo abantu abaggulawo emikutu ne baweereza obubaka ngas beefudde abalina enkolagana n'abantu nga Moses bwe yakoze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Male Mabirizi

Mabirizi attunse ne Ssaabaw...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi asabye kkooti ya East Africa ezzeewo ekkomo ku myaka gya pulezidenti kubanga palamenti...

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...