TOP

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Kakande' atabulira abayimbi omuziki

Added 29th October 2020

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe, ye yasigala akola anti abayimbi basiiba mu situdiyo ye nga bakola nnyimba okwetegekera ekiddako.

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

JOB Kayanja y'omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw'omuggalo gwa ssennyiga omukambwe, ye yasigala akola anti abayimbi basiiba mu situdiyo ye nga bakola nnyimba okwetegekera ekiddako. 

Kayanja abamu gwe bayita mutabani wa Nabbi Kakande.

Ono okuyimba n'okukuba ebivuga yabiyigira mu kkanisa ya Nabbi Kakande e Wandegeya ku Bbiri gye yasooka okukolera wadde ne mu kiseera kino akyakolerayo. Bino bimuyambye okufuna omulimu mwaggya ssente, okuwa abantu emirimu n'okukolera abayimbi ennyimba ezibakoledde ssente, okusomesa n'okulyowa abantu emyoyo. 

Kayanja abamu gwe bayita ‘'mutabani wa Nabbi Kakande'' ye nnannyini situdiyo ya J.O.B Records Music Studio e Makerere Kavule ku Bombo Road  mu maaso g'essundiro ly'amafuta erya Total.  Yategeezezza nti omulimu gw'okutabula omuziki n'okukwata ennyimba yagutandika mu 2007.

Abazungu abaali bakolera Nabbi Kakande be baamukwata ku mukono oluvannyuma lw'okumulabamu ekitone.  Bwe yakung'anyawo ssente n'akola situdiyo eyiye. Yasooka kukolera Queen Bella ennyimba nga: Kikiri, Wakooli, Negiriisa, Endigi, Walai n'endala ezaamutunda ebiseera ebyo. Kuno yazzaako abayimbi abalala nga Kidfox gwe yakolera ennyimba: Veteran ne Busu ate Jamal n'amukolera ‘Omwana ono'. 

Ye Navio yamukolera: Competition, Ye ggwe ne Embukuuli, Cindy Ssanyu ne bakola Party, Mateeka, Ndi mukodo, Bintabula, Zalawo n'endala. Atera n'okukola n'aba Swangz Avenue ng'abayambako mu bintu eby'enjawulo. Kyokka n'omuziki gwa Yesu tagusuuliridde era akozeeko n'abayimbi nga Nakato eyeeyita Nakie, Luther T ne Patricia Mujungu. 

Okutabula omuziki agattako okukola nga (yinginiya w'amaloboozi) mu bivvulu bya Nabbi Kakande ebibeera mu bisaawe ebinene nga Namboole. Kayanja mutabani w'abagenzi Mark Nyombi ab'e Kabowa okumpi n'essomero lya St. Anne.

Yasomera ku St. Anne e Kabowa, St. Kalemba Nazigo, St. Mary's Kitende n'oluvannyuma n'agenda e South Africa gye yakugukira mu kutabula omuziki. Kayanja agamba nti mu kiseera kino yakwataganye ne banne ne batandikawo enkola y'okusomesa abantu okuyimba n'okukwata ennyimba ku ntambi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.