TOP

Ndugga akubye oluyimba olusiibula Pasita Yiga n'akaabya abantu

Added 30th October 2020

Atenderezza ebirungi Yiga by’alese akoze ku nsi era mu luyimba luno alagiddemu gyenvudde wa Yiga (okuva e Masaka, okuyingira Kampala ew’omugenzi Livingstone Kasozi gye yatandikira okuyiiya obulamu, okutuuka lwe yeerandiza n’afuuka omusajja ow’amaanyi era ow’ettuttumu mu ggwanga).

Ndugga

Ndugga

Hassan Ndugga ayiiyizza oluyimba olusiibula Pasita Yiga ne lukaabya abantu. Mu luyimba luno olw'eddakiika ettaano (5) olutuumiddwa ‘Nsigadde mu matigga', Ndugga agamba nti Pasita Yiga abadde taata era asumbye n'okuyamba abantu bangi kati abasigadde mu bbanga.

Atenderezza ebirungi Yiga by'alese akoze ku nsi era mu luyimba luno alagiddemu gyenvudde wa Yiga (okuva e Masaka, okuyingira Kampala ew'omugenzi Livingstone Kasozi gye yatandikira okuyiiya obulamu, okutuuka lwe yeerandiza n'afuuka omusajja ow'amaanyi era ow'ettuttumu mu ggwanga).

Wadde ng'enteekateeka yabadde ya bayimbi abaaliko mu kibiina kya Pasita Yiga ekya Revival Band okukola oluyimba olwa wamu, Ndugga eyaliko mu bbandi eno yalabye banne tebasalawo kwe kukozesa obwangu n'ayingira sityudiyo era oluvannyuma lw'essaawa mukaaga yavuddeyo n'oluyimba oluwedde kati oluli ku mimwa gy'abawagizi n'abagoberezi ba Pasita Yiga.

Ndugga obwedda ayita Yiga muzeeyi agamba nti nga abali mu nsiike y'okuyimba basubiddwa omuzadde, omuntu abadde abateekamu ssente ate nga munnabitone munnaabwe kuba abadde muyimbi, muyiiya ate nga muwandiisi wa nnyimba n'emizannyo.

Ebimu ku bigambo ebiri mu luyimba :

Bino njogera nga akulaba. Tubadde baana gy'oli musumba waffe ebyakusoboko akubeerenga, omwoyo agutuuze mu batuukirivu. Tubadde ndiga zo nga ggwe amanyi okusumba. Tuli eno twemagaza. Abayimbi abazannyi ba katemba bonna kw'ossa abadongo otulese mu biwoobe. Nsula nkaaba naayitanga ani amanyi ebyange, Yiga wummula mirembe. Olumbe luno lumaze abange ate abalungi bokka Nsigadde mu matigga. Omuyiiya w'ennyimba, omuwabuzi asinga, nnannyini Revival bbandi. Yiga wummula mirembe. Abadde amanyi okusaaga... N'ebirala.

Hassan Ndugga ayiiyizza
oluyimba olusiibula
Pasita Yiga ne lukaabya
abantu.
Mu luyimba luno
olw'eddakiika ettaano (5)
olutuumiddwa ‘Nsigadde
mu matigga', Ndugga
agamba nti Pasita
Yiga abadde taata era
asumbye n'okuyamba
abantu bangi kati abasigadde
mu bbanga.
Atenderezza ebirungi
Yiga by'alese akoze ku nsi era mu
luyimba luno alagiddemu gyenvudde
wa Yiga (okuva e Masaka, okuyigira
Kampala ew'omugenzi Livingstone Kasozi
gye yatandikira okuyiiya obulamu,
okutuuka lwe yeerandiza n'afuuka
omusajja ow'amaanyi era ow'ettuttumu
mu ggwanga).
Wadde ng'enteekateeka yabadde
ya bayimbi abaaliko mu kibiina kya
Pasita Yiga ekya Revival Band okukola
oluyimba olwa wamu, Ndugga
eyaliko mu bbandi eno yalabye banne
tebasalawo kwe kukozesa obwangu
n'ayingira sityudiyo era oluvannyuma
lw'essaawa mukaaga yavuddeyo
n'oluyimba oluwedde kati oluli ku
mimwa gy'abawagizi n'abagoberezi ba
Pasita Yiga.
Ndugga obwedda ayita
Yiga muzeeyi agamba
nti nga abali mu nsiike
y'okuyimba basubiddwa
omuzadde, omuntu
abadde abateekamu
ssente ate nga munnabitone
munnaabwe kuba
abadde muyimbi, muyiiya
ate nga muwandiisi wa
nnyimba n'emizannyo.
Ebimu ku bigambo ebiri mu
luyimba :
Bino njogera nga
akulaba. Tubadde baana gy'oli
musumba waffe ebyakusoboko
akubeerenga, omwoyo agutuuze mu
batuukirivu. Tubadde ndiga zo nga
ggwe amanyi okusumba. Tuli eno
twemagaza. Abayimbi abazannyi ba
katemba bonna kw'ossa abadongo
otulese mu biwoobe. Nsula nkaaba
naayitanga ani amanyi ebyange,
Yiga wummula mirembe. Olumbe
luno lumaze abange ate abalungi
bokka Nsigadde mu matigga.
Omuyiiya w'ennyimba, omuwabuzi
asinga, nnannyini Revival
bbandi. Yiga wummula mirembe.
Abadde amanyi okusaaga...
N'ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...