TOP
  • Home
  • Special News
  • Tunuulira abakazi n'abasajja abakola emirimu egitali gya bulijjo

Tunuulira abakazi n'abasajja abakola emirimu egitali gya bulijjo

Added 24th June 2013

ABAGANDA baalugera nti enswa bw’ekyusa amaaso, nga naawe okyusa envubo. Abantu bwe balabye ng’emirimu gikalubye ne bakyusa obuwuufu anti emirimu egibadde gimanyiddwa ng’egy’abasajja, kati n’abakazi bagikola ate n’abasajja ne bakola egy’abakazi. Abeenyigidde mu mirimu gino batotodde engeri gye bakol

 

 

 

 

 

Bya KIZITO MUSOKE ne SOFIA NALULE

ABAGANDA baalugera nti enswa bw’ekyusa amaaso, nga naawe okyusa envubo. Abantu bwe balabye ng’emirimu gikalubye ne bakyusa obuwuufu anti emirimu egibadde gimanyiddwa ng’egy’abasajja, kati n’abakazi bagikola ate n’abasajja ne bakola egy’abakazi. Abeenyigidde mu mirimu gino batotodde engeri gye bakolamu.

Grace Mbabazi kondakita mu wa takisi: “Mbeera Makindye omulimu guno ngukolera mu mmotoka ezigenda e Nateete - Wakaliga.

Nnali ddereeva wa mmere mu kibuga, kyokka KCCA ng’etuyigganya era bwe nalaba ng’emmere ekalubye, ate nga nnina omwana gwe nnina okulabirira kwe kusalawo okusaba abavuga mmotoka banzikirize nkole obwakondakita.

Bwe nagutandika abakyala bangi bampagira, era kino kyanzizaamu amaanyi.

Omulimu guno gufuna okusinga okutambuza emmere. Tewali mulimu gwatonderwa basajja oba bakazi buli mulimu oba oli mukazi oba musajja ogusobola.

Abasajja abamu baagezaako okunzigya ku mulamwa nga bankwana naye saabitwala ng’ekikulu kubanga nail mmanyi ekindeese era sibamalira budde bwange.

Nkimanyi olunaku lwe naatandika okuganza kondakita munange oba ddereeva ng’enda kuba nfiiriddwa omulimu.”

Grace Mbabazi ng’ali mu mmotoka mw’akolera obwakondakita.

Florence Mirembe, asala nviiri z’abasajja, “Nkolera Nakulabye mu Delight Salon, nga gye nsalira abasajja enviiri. Okutandika okusala enviiri z’abasajja, namala kukiraba ng’abakyala abakola ez’abakazi bangi, nze kwe kwagala okukolawo eky’enjawulo.

Nakizuula nti okusala enviiri z’abasajja kitwala obudde butono. Olw’okuba ndudde mu by’enviiri, nakiraba abalenzi abasala enviiri, batawaanya nga n’olumu tebabeera ku mulimu, kwe kusalawo nange mbayingirire.

Kyokka ekizibu kye ntera okusanga ku basajja abamu bw’oba tonnaba kumusala takkiriza nti osobola, kyokka bw’omukolako obulungi asiima era n’akomawo n’olulala.  Abasajja tebakaluubiriza era tebeeronda.”

Alfred Agom , omusomesa we bye nviiri ku YMCA mu Kampala. “Enviiri sizikomya mu kuzisiba busibi kyokka era ntendeka n’abaagala okuyiga okuzikola. Waliwo n’abantwala mu saluuni ez’enjawulo ne nzibasomesa.

Eby’enviiri mbirinamu dipulooma, okuva mu Supreme School of Beauty. We nasomera ng’abantu bambuuza engeri omusajja gy’oyinza okusoma eby’abakazi, era natuukako ekiseera nga n’olumu siyinza kukyatula nti bye nasoma.

Wabula ggwo omulimu gunyumira nnyo, kuba abakyala bantu balungi okukolagana nabo, era nga bakola enviiri oba balina ssente oba tebalina, tebagumiikiriza busiiwuufu.

Mu mulimu gwange okumanya kwo, kwe kufuna kwo. Omulimu guno gumbezezzaawo era nga nagugulamu n’emmotoka gye ntambuliramu. Abasajja mbakubiriza baguyingire kuba basajja twanguyirwa nnyo abakazi.”

Muniira Nakayiza Bukenya, alina bbuca y’ennyama, era yaagyetemera: “Bwe namaliriza S.6 nakola koosi y’ebyo busuubuzi, kyokka ne sigimalaako nga sirina ssente.

Nakola emirimu mingi omuli okutunda edduuka n’okutambuza emmere, okutuusa byonna lwe nabikoowa ne nkomawo awaka ku Kaleerwe ne ntuula.

Haji Musa Ssennabulya ku Kaleerwe yampa omulimu gw’okumubalira ebitabo bye ku bbuca ye. Omulimu guno nagukola okuva 2000 okutuuka 2004.

Twakeeranga ku 11 ate ne tunnyuka kiro, nasalawo okufumbirwa nsobole okuwummulamu.
Bwe nazaala ne nnoonya omulimu nate nga sigulaba, ate nga sirina na ssente ze nsobola kukozesa kwetandikirawo ogwange.

Twasonda ssente ne ng’amba baze ankolera bbuca y’ennyama ne tugikola e Ntinda.

Ekirungi nnali njize engeri gye mbaddeko ewa Hajji Ssennabulya. Mu bbuca nasooka ne nteekamu omukozi, kyokka ssente nga tezijja bulungi, kwe kusalawo okwekwatiramu era kati ennyama ngitemera ddala.

Akasente kayingira era bakasitoma nnina ate abasajja bampagidde. Bajja nga baagala okulaba ku mukazi atema ennyama. Kati siraba mulimu mulala gwe nsobola kukola. ”

Umar Nsubuga, mukozi wa nviiri e Kazo: “Omulimu guno naguyigira ku maama wange omugenzi Nakato Nansamba. Bwe yafa embeera yambijjirira era n’okusoma ne nkuvaako.

Nasalawo okutandika okukola emirimu egy’enjawulo okusobola okweyimirizaawo. Nasitulako ku migugu, okuyonja kaabuyonjo ku Kafumbe Mukasa, eno gye nasisinkanira omukyala Gloria eyansaba mmuyambeko mu saluni saluuni ye.

Nakozesa amagezi ge najja ewa Gloria ne ntandika okulumba abantu mu mayumba gaabwe nga mbategeeza nga bwe mmanyi okusiba enviiri.

Bano nafunira ddala bangi era ekyavaamu kwe kuteekawo saaluni ne nneetongola. Mu kiseera kino nsibira Kazo era nga nsiba buli kika kya nviiri.”

Nnaalongo Janat Ntege, akuba bbulooka e Nabweru: Oluvannyuma lwa baze Ssaalongo John Ntege okuwummuzibwa ku mulimu nga mulwadde ate n’afa, nakizuula nga sikyalina mulimu mulala gwe nsobola kukola okuggyako okukuba bbulooka.

Nakuba bbulooka ne mpeza 600. Bbulooka zino ze nakozesa okuzimba ennyumba gye nsulamu.
Eby’okunsekerera nti omukazi akuba atya bbulooka nabissa ku bbali, era nga mu kiseera kino okukuba bbulooka gwe mulimu gwange.

Bbulooka emu ngitunda 150 era ssente zino zinnyambye okuweerera abaana n’okubaliisa.
Margret Kubingi, ddiifiri omukazi ow’omupiira gw’abasajja:

“Baze ye yanjagazisa omupiira era n’agunjigiriza omupiira, kuba yali musambi wa mupiira era nga ddiifiri.

Buli lwe yalinanga omupiira gw’okufuuwa ng’antwala.Nagendanga ne kalaamu ne mubuulira buli nsobi gye yafuuwanga.

Omupiira bwe gwaggwanga nga mmubuuza buli nsobi gye yafuuwanga ne nsonga eyali emufuuyisizza ensobi eyo.

Nga wayiseewo emyaka ebiri, yantwala ne njiga okugufuuwa. Nze omukazi yekka eyatendekebwa mu kusoma okwo era nga Charles Masembe ye yatutendeka.

Natandikira mu baana ba masomero era kati emyaka 14 nga ngufuuwa. Nfuuyiddeko mu mipiira gy’amasaza, egy’ekibinja ekisooka ne Supa.

Mu kiseera kino nnina baaji ya FUFA ne FIFA era nasoma okutendeka baddiifiri.

Mu kiseera kino nsomesa badiifiri mu ggwanga.

Nze ssentebe wa baddiifiri abakyala mu ggwanga era nfunyeemu ebirungi bingi nga ssente n’okumanyibwa abantu.”

Alex Ice Mutumba,(mu kifaananyi) omusibi w’enviiri z’abakazi; agamba nti, “Nkolera ku kizimbe kya Majestic Plaza nga kwe nsibira enviiri.

Omulimu guno natandika okugwagala nga nkyali muto kuba maama gwe yakolanga.

Maama yanjigirizaamu akatono okutuusa mikwano gyange okuli Wizzi ne Isaac lwe banjigiriza.

Abakyala bampagidde nnyo era ng’okusinga nsiba nviiri za ‘dread locks’, ‘stylin’ ne ‘Cornrose’. Abakazi bantu balungi era banettanidde.

Okukola mu bakazi kinnyambye okufunamu ssente era nguze poloti nsuubira n’okufuna ebirala bingi.”

 

 

 

Tunuulira abakazi n''abasajja abakola emirimu egitali gya bulijjo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...