TOP

MUSEVENI YEYAMYE KU TEEKA LY'EBISIYAGA

Added 27th December 2013

ABAKULEMBEZE b’enzikiriza ez’enjawulo basabidde eggwanga libukalemu emirembe ne balabula ku bakozesa obubi obuyinza era ne basiima palamenti ku mateeka ge yaakayisa.



Bya Basasi ba Bukedde
ABAKULEMBEZE b’enzikiriza ez’enjawulo basabidde eggwanga libukalemu emirembe ne balabula ku bakozesa obubi obuyinza era ne basiima palamenti ku mateeka ge yaakayisa.

Pulezidenti Museveni agambye nti agenda kusooka kwetegereza tteeka ku bisiyaga nga tannalissaako mukono.

LUBAGA: Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yasanyudde Lutikko bwe yategeezezza nti Kabaka Ronald Mutebi agenda kulambula Bugerere omwezi ogujja.

Katikkiro Mayiga yategeezezza nti ebintu bingi ebituukiddwaako wakati wa Gavumenti ne Buganda bukyanga ajja mu buyinza n’asaba Gavumenti okussa mu nkola ebyakkaanyizibwako wakati wa Mmengo nayo.

Okusaba kwetabiddwaamu omumyuka wa pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi. Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga, eyakulembedde okusaba yasabye abakwatibwako okuddamu okwekenneenya Konsitityusoni n’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezitali zimu omuli Federo ne Regional Tier okufuna enkola eneeyamba eggwanga lyonna.

E NAMIREMBE: Omulabirizi Wilberforce Kityo Luwalira yalabudde nti obugugumuko bususse mu ggwanga ekituusizza n’Abakristaayo mu makanisa agamu okusitukira mu baweereza nga bagamba nti tebabaagala.

Yabadde abuulira n’agamba nti okugugumuka kususse mu ggwanga ekituusizza ababaka abamu mu palamenti okuyuliza ebiwandiiko mu maaso ga sipiika ate mu KCCA abamu ku bakansala ne balinnya ku mmeeza okutuusa obutali bumativu bwabwe ku nsonga ezimu.

Okusaba kwetabiddwaamu akola nga Ssaabalamuzi Steven Kavuma, Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda, Nelson Kawalya, Katikkiro wa Uganda eyawummula, Polof. Apollo Nsibambi ne mukyala we n’abalala.

MUSEVENI E MBARARA: Pulezidenti Yoweri Museveni agambye nti agenda kwetegereza etteeka ku bisiyaga bw’alisanga nga lirimu ebirumira alizze mu palamenti balirongoose.

Yabadde ayanukula abamu ku bakulembeze b’enzikiriza ng’Omusumba Joseph Serwadda abaabadde bamupeeka okulissaako omukono mu bwangu.

Museveni ne mukyala we baabadde mu kusaba kwa Ssekukkulu ku kkanisa y’Abalokole eya Daystar mu munisipaali y’e Mbarara.

Pulezidenti yayozaayozezza omusumba Ibrahim Nathan Turyamureeba olw’okuzimba ekifo n’asaba abasumba okwetooloola eggwanga bakubirize abagoberezi okukozesa obulungi ebitone byabwe n’awaayo obukadde 60 n’asuubiza obulala 20 okutumbula SACCO ya Daystar.

LUGAZI: Omusumba w’essaza ly’e Lugazi, Mathias Ssekamaanya yasinzidde Namagunga n’ategeeza nti obusungu obususse bwe buvuddeko abantu okutting’ana n’abaana ne bakulira mu maka nga temuli ssanyu n’asaba bakozese amazaalibwa okusonyiwagana.

Yagambye nti ekivuddeko okutta abantu e South Sudan ye mukulembeze okwagala obuyinza ekisusse.

Mu kkanisa ya St Mark e Kayanja Can. Samuel Wasswa yennyamidde olw’ensi ejjudde ebitiisa mu maka ne ku mirimu.

NAMUNG’OONA: Ssaabasumba w’eklesia y’Abasodokisi Jonah Lwanga yasabye abantu okuteeka Katonda mu buli kye bakola ebyetaago by’ensi bireme kubakozesa bitasaana.

KU ALL SAINTS NAKASERO: Omulabirizi Hannington Mutebi yasabidde bonna abaafiirwa ebyabwe mu muliro gw’akatale ka Park Yard bagume era basabe Katonda abaddizeewo.

Okusaba kwetabiddwaamu minisita Crispus Kiyonga, Gen. Aronda Nyakairima, Sam Kuteesa, Col. Fred Mwesigye, Miria Matembe, Miria Obote, Betty Bigombe, Betty Kamya, Gordon Wavamunno n’abalala.

KITOVU- MASAKA:Omusumba John Baptist Kaggwa yeemulugunyizza ku masabo agasusse ng’ekyennyamiza waliwo n’abeefuula abakkiriza naye nga bagakola okunoga ensimbi n’avumirira enguzi.

KAKO - MASAKA: Omulabirizi wa West Buganda, Rt. Rev. Godfrey Makumbi yavumiridde ennyambala embi ng’okusiba ‘bbalansi’ .

MUKONO: Omulabirizi w’e Mukono, James William Ssebaggala yasinzidde ku lutikko e Mukono n’anyolwa olw’olutalo oluli e South Sudan olukwatiddemu Bannayuganda.

MITYANA: Omulabirizi w’e Mityana, Dr. Steven Kazimba yasinzidde Namukozi n’agamba nti ennaku enkulu abantu bandizimazeeko nga basaba n’okwegayirira obutebenkevu.

NSAMBYA: Kalidinaali Emmanuel Wamala yasabye Bannayuganda okusabira South Sudan olutalo lukomekkerezebwe.

VICTORY CENTRE NDEEBA: Omusumba Frida Serwadda yavumiridde abanguyira omukwano ne kituusa n’abawala abamu okugabira abalenzi ‘jalibu’ ng’olumugambako ayagala bagenderewo n’abafumbo abamu n’obasanga ng’eby’omu nju babinyumya mu mikwano.

Mukyala Sserwadda yeyabuulidde mu Ndeeba

LUWEERO: Bp. Evans Mukasa Kisekka yasinzidde mu Lutikko e Luweero n’asaba Abakristaayo basabe nnyo bafune amuddira mu bigere baleme kwenyigira mu nkaayana nga bwekiri mu bulabirizi obumu.

Ate Omusumba w’essaza lya Kasana Luweero, Paul Semwogerere yennyamidde olw’ebikolwa by’obusamize, ettemu, okulwanagana mu maka, ettamiiro, okutyoboola eddembe ly’abalala n’ebivve n’asaba abantu okubyenenya olw’Omulokozi azaaliddwa.

 

Museveni yeeyamye ku tteeka ly’ebisiyaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze, Bakaluba n'abakulembeze abalala nga bajaganya olw'obuwanguzi bwa NUP obwamaanyi e Mukono.

Bakaluba Mukasa awangudde e...

Rev. Peter Bakaluba Mukasa yalangiriddwa ku buwanguzi nga ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono wakati mu mizira...

Bafaaza abazze ne ambuleera...

BAFAAZA ku Lutikko e Lubaga bacamudde abantu abeetabye mu mmisa ey'okusabira Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula,...

Swengere ne bannamawulire b...

Bannamawulire abaayimbuddwa kuliko Kasolo ng'ono aweerezza pulogulaamu y'okumakya eya Kokoliyooko ku laadiyo ya...

Katikkiro Mayiga akunze aba...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubirizza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda...

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...