TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Laavu gye nnina ekulukuta nga mubisi

Laavu gye nnina ekulukuta nga mubisi

Added 1st May 2014

Kiki ekisinga okuyiisa abasajja endusu ku mubiri gwo? Katonda yampa ffiga tosobola kuntunulako n’osigala kye kimu.



Sswiiti ng’onyirira luno. Tubuulire ku mannya go.
Nze Winnie Nakanwagi naye mu by’okuyimba bampita Whitney.

Ky’ogamba oli muyimbi?

Kituufu, sikooka ne bakooka.

Luyimba ki abantu lwe bakumanyiddeko?
Nnyingi okuli; Gwe nnoonya, Gubeera mukwano n’endala. N’ekirala nze omu ku beetabye mu mpaka za Coca- Cola Rated Next era nkakasa obukadde 50 nja kubutwala.

Obeera wa?
Namasuba.

Olina omulimu omulala gw’okola?
Nze ntuukirwako abagenyi (receptionist) ku situduyo ya Monster.

Weebale kutulyako mbaga...
Hoho….maama nze nvaako siri mufumbo.

Leka naawe .. olinga agamba nti obufumbo kivve?
Si kivve naye simanyi oba nnyinza okubusobola. Ky’ogamba tolina atambuza obulamu?
Mmulina naye tetubeera wamu.

Y’ani oyo?
Ha..naye eby’amannya ge tubireke.

Ky’ogamba y’asoose?

Wabula musajja wattu obuuza ne ky’olabako... bw’ontunuulira olaba nkyali mbeerera?

Ojjukirako bameka?
Naye eby’abasajja twandibivuddeko... nga mbonyebonye n’abasajja! Bwe nzijukira ‘ggaapu’ z’abayaaye ze nguddemu mpulira ng’eby’abasajja bintamye.

Ky’ogamba tolina mukisa , ofuna bayaaye bokka?
Simanyi naye Katonda y’amanyi.

Oba naawe oli muyaaye?
Ndi muntumulamu era Katonda ye mujulizi wange. Laavu gye nnina nga nnagikuwadde toyinza kulowooza ku kubaliga naye simanyi lwaki bampisa bubi.

Ono gw’olina naye taakuyiwe?
Sisuubira naye era nsaba Katonda kireme kubaawo kubanga nkooye abayaaye.

Naye lwaki tobyesonyiwa?
Mwana ggwe! Si byangu olumu mbeera ng’abyesonyiye ate ne wajjawo antengula omutima.

Kiki ekisinga okuyiisa abasajja endusu ku mubiri gwo?

Katonda yampa ffiga tosobola kuntunulako n’osigala kye kimu.

Kiki ekyakusikiriza okwetaba mu mpaka za Coca- Cola Rated Next?
Okutumbula ekitone kyange ne ssente obukadde 50 nzaagala.

Singa owangula ssente ogenda kuzikolamu ki?

Kwongera mu muziki wange n’okulabirira n’okusomesa omwana wange.

Kiki ky’osaba abakusomako?
Bannange munnonde nsigale mu mpaka zino nga muweereza SMS. Genda mu ssimu yo, wandiika ‘Vote’ lekawo akabanga ozzeeko ennamba yange (1) oweereze ku
8338.

Laavu gye nnina ekulukuta nga mubisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...