TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Omusajja asiba faamu y'abakazi tankolera

Omusajja asiba faamu y'abakazi tankolera

Added 6th May 2014

Kiki ekisinga okukusanyusa ku mubiri gwo? Hayiti yange enneeyagaza ate bangi bagyegomba.



EH.. maama ng’oyaka, ggwe ani?
Eseri Nabulime oyinza okugattako n’erya Ethel.

Olina emyaka emeka?
25 gyokka.

Obeera wa?
Busega

Okola mulimu ki?
Ndi muyizi ku yunivasite e Makerere nsoma diguli mu busomesa. Ndi mu mwaka gwakubiri ate ne mu kuyimba ndi muka!

Ebitabo obikwasaganya otya n’okuyimba?
Eby’okuyimba mbadde nnabivaako nga nnakoowa ababbi.

Babbi ki abo?
Abatutwala okuyimba ne batatusasula era kati nasigaza kimu kuyimbira mu kkanisa mpozzi ne zino empaka ze nneetabyemu.

Mpaka ki?
Eza Coca Cola Rated Next.

Kiki ekyakusikiriza okuzeetabamu?
Njagala kuwangula bukadde 50, nnyongere okutumbula ekitone kyange n’okulaba nga sisigala kye kimu mu bulamu bwange singa mpangula.

Akuteekamu ssente ali atya?
Obuuza maneja? Sirina onfunirayo?

Ky’ogamba totegedde gwe mbuuza. Akubiita ali atya?
Mulungi

Eh… watulyako dda embaga?
Hahaha… ggwe bw’ondaba nfaanana abafumbo?

Abafumbo obalabira ku ki?
Ekyo tukiveeko. Nninayo omuntu wange wadde sibeera naye kuba abeera bweru wa ggwanga.

Tomusubwa?
Ekyo okirabirawo.

Olinayo abasajja bameka abayamba ku wuwo?
Hahaha……Nvaako nze. Saagala musajja asiba faamu y’abakazi, kati nze lwaki nsiba faamu y’abasajja?

Olowooza yakwegombako ki?
Simanyi kyetaaga omwebuulize.

Baali bakumenyeeko omutima?
Nze tebansobola ndabira wala ne nneetegula nga bukyali.

Oba gwe omenya abasajja emitima?
Simanyi kuba tewali yali avuddeyo kuking’amba.

Oyinza okubaawo nga tolina musajja?
Lwaki nedda, ekyo kyangu.

Kiki ekisinga okukusanyusa ku mubiri gwo?
Hayiti yange enneeyagaza ate bangi bagyegomba.

Mpaayo ekimu ku birooto byo?
Njagala kuba mukazi wa linnya ate nga ndi mugagga.

Bubaka ki bw’owa abawala abato?
Bafube okusoma baleme kukeera kulowooza ku kya kufumbirwa.

Omusajja asiba faamu y’abakazi tankolera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...