TOP

Abasajja mbakubya maaso na ffiga

Added 7th May 2014

Kiki abasajja kye basinga okukuwaanako? Basinga kuwaana mikuufu gyange. Abalala bampaana amaaso ne ffiga yange.



Ye okola ki wano mu situdiyo ya Bobi?
Nzize kukwata nnyimba zange.

Eee bulijjo oli muyimbi?
Akabuuza ggyako...

Gwe ani?
Eva Nabawanga eyavuganya mu Miss Uganda mu 2012.

Olina enkolagana ne Bobi Wine?
Mpozzi ey’okuba nti nnyumirwa  emiziki gye.

Kiki ekikwambazza emikuufu eminene mu bulago?
Nnyumirwa nnyo okwolesa emisono. Eby’omu bulago bye binjawula ku bawala abalala.

Kiki abasajja kye basinga okukuwaanako?
Basinga kuwaana mikuufu gyange. Abalala bampaana amaaso ne ffi ga yange.

Mirundi emeka gye waakaawukana n’abasajja?
Eby’abasajja sibigendako nnyo. Nnina ebirooto bingi mu maaso ate mbeera n’ebyokukola bingi mu lunaku.

Nkyasoma ku yunivasite e Makerere n’olwekyo sirina budde bw’abasajja.

Birooto ki ebyo by’olina?

Ebimu nnabituukako dda gamba ng’eky’okuvuganya mu mpaka z’obwannalulungi mu 2012.

Njagala okufuuka omuyimbi akola enjawulo mu ggwanga.

Kiki ekyakulemesa okuwangula?
Ndabika nnafaayo nnyo ku by’okwambala okusinga bye nkola.

Biki bye weenyumiriza mu mpaka ezo?
Nnafuna ettuttumu.

Abasajja mbakubya maaso na ffiga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita w'ebyobulamu Jane Acheng (ku ddyo) n'omukungu w'ekibiina ky'ebyobulamu Dr.Dr Yonas Tegegn (wakati).

Minisitule  y'ebyobulamu ey...

Minisitule  y'ebyobulamu eyongedde ku muwendo gw'abantu abalina okusooka okugemebwa ekirwadde kya covid 19 nga...

Minisita Elioda Tumwesigye ng'annyonnyola.

Gavt. etaddewo obuwumbi 17...

Gavt. etaddewo ssente obuwumbi 17 okwongera okutumbula obuyiiya. Ssente zino zigenda kugabirwa Bannayuganda...

Ababaka abalonde nga basimbye ennyiriri okuyingira bbaasi.

Ababaka ba palamenti aba NR...

Ababaka ba NRM abapya aba palamenti ey'omulundi 11 abasoba mu 200 basimbudde akawungeezi ka leero okwolekera olusirika...

Omulangira  Jjuuko ng'attotola abatemu bwe baalumbyemu.

Abeebijambiya balumbye ekya...

ABATEMU abatannategeerekeka balumbye ekyalo Nabaziza mu Kyengera Town Council mu Wakiso ne batemaatema abatuuze...

Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule.

Abakulembeze mukubirize aba...

Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu akubirizza abakulembeze mu Buganda okubeera...