
Maama, abasomi baffe bawe ku mannya go?
Ssinnatuuka kuzaala akwenkana, naye kale nze Shifah Namutebi.
Akwagala akusanga wa?
Bunnamwaya.
Obeerayo n’ani?
N’omwana wange.
Olwo taata bbebi yadda wa?
Yatambulamu naye tuwulizigannya.
Watandikira ku mulimu ki era nga bakusasula mmeka?
Nnali ofiisi mesenja nga bansasula 100,000/- omwezi.
Kiki ekikuggya mu mbeera?
Omuntu annimba antamira ddala.
Ate biki ebikusanyusa?
Njagala nnyo okunfaako kubanga nnina ekyejo.
Ye abange okola mulimu ki?
Ndi musuubuzi ate naye nga nzannya ne katemba.
Wasemba ddi okukaaba?
Lwe nnawerekera omwagalwa wange okugenda ku kyeyo.
Ako si kajanja? Olwo nga kiki ekikukaabya?
Nga ndaba ng’enda kumusubwa nnyo.
Kiki kye weekakasa ky’okubya abasajja ku mubiri gwo?
Nneebaza Katonda nti nzenna mpera era naawe ondaba tolina w’onnyooma.
Wasemba ddi okulwana?
Ntya nnyo okukosa olususu lwange era sisobola kulwana.
Bwe bakunyiiza okola otya?
Nkaaba bukaabi ne mmwenenya.
Wali weegombye ku musajja?
Kituufu kuba okwegomba kwa buntu
Wamwatulira?
Nedda ssebo ntya nnyo okweweebuula
Kale abasomi bawe ku kanamba.
Sigaba nnamba yange naye bagambe bansange mu Freedom Entertainment.
Nze ekyejo tebaakinkubira...