Maama ng’oyaka?
Ekyo kya bulijjo kiringa luyimba lwa ggwanga.
Tuwe ku mannya go?
Nze Flavia Mawagi.
Okola mulimu ki?
Ndi muyimbi eyakuyimbira Napaakinga ate era ndi muzannyi wa firimu.
Obeera wa?
Masanafu naye nga nzaalibwa Mityana.
Okola otya okwaka bwotyo?
Ekikulu, sirina ‘situleesi’ ate nneewa emirembe kuba buli lwe nseka mbeera nsala ku myaka.
Maama, omwagalwa wo nga yeesiimye?
Hahaha... Ajja kwesiima bw’aliba azze mu maaso eyo.
Ky’ogamba tolina akubiita?
Ebyo lwaki obyesibyeko? Tujja ku kyogerako lwe tunaddamu okusisinkana nga mmaze okumufuna.
Ky’ogamba tobalabawo abasajja?
Mbalaba mu bungi naye sinnafuna ansaanira.
Omusajja ggwe weegwanyiza alina kubeera atya?
Ekisooka, alina okubeera ng’atya Katonda, alina ebirowoozo ebizimba, era afaayo kuba nninga bbebi. Bwe siweebwa mata kinkaabya.
Abasajja abakukwana obakola otya?
Mbateeka mu kasengejja kuba buli muntu abeera n’embeera ze.
Olunaku oyinza kukwanibwa abasajja nga bameka?
Ekituufu kiri nti sibamanyi muwendo.
Olowooza bakwegombako ki?
Hahaha... Nsuubira bingi nnyo kuba bwe nneeraba, ndi kikemo sirina we nnyoomebwa.
Biki ebyo by’otoyogera?
Ggwe ondabyeko ki?
Bagamba nti olina simayiro ennungi esikiriza abalabi.
Ate ebirala obirekeddeyo ani?
Bye biki ebyo?
Ndeka sirina gabyogera.
Ani akuteekamu kaasi?
Hahaha… Kati oba nkugambe ani?
Singa obeera ofunye omusajja, wandyagadde akukolere ki?
Njagala anfuule wanjawulo ku bantu abalala bonna, ansoosowaze era nfuuke emmunyeenyeso ye.
Ate ebyenfuna nga tobikonyeeko?
Abasajja bangi bagagga naye eby’omukwano tebabitegeera ekivuddeko abakazi okwenyigira mu bwenzi n’amaka gaabwe okusasika.
Ggwe omukwano ogugwo guli gutya?
Ogwange gwa kirimuttu kimanyibwa nnyinikyo.
Omusajja asoosowaza ensonga ankolera