
Maama ng’oyaka!
Ekyo kyabulijjo kiringa luyimba lwa ggwanga.
Gwe ani?
Flavia Mawagi
Omulimu gwo?
Nze nnayimba ‘Napaakinga’ ate nzannya ne firimu.
Obeera wa?
Masanafu naye nzaalibwa Mityana.
Okola otya okwaka?
Sirina situleesi, buli lwe nseka nsala ku myaka...
Omwagalwa wo nga yeesiimye...
Hahaha... nnaku za baami! Naye ajja kwesiima bwendiba mmufunye.
Ky’ogamba tolina akubiita?
Lwaki ekyo okyesibako? Tujja kubyogerako lwe tunaddamu okusisinkana.
Abasajja tobalaba?
Mbalaba mu bungi naye sinnafuna angyamu.
Kale ntegedde naye ssinga Katonda amukuleetera, oyagala afaanana atya?
Atya Katonda, alina ebirowoozo ebizimba, anfaako kuba nninga bbebi. Bwe siweebwa
mata kinkaabya era nnyinza n’okulwala.
Abasajja abakukwana obakola otya?
Mbateeka mu kasengejja.
Olunaku oyinza kukwanibwa abasajja bameka?
Sibamanyi muwendo...
Olowoza bakwegombako ki?
Hahaha... Bingi kuba bwe nneeraba, ndi kikemo kyennyini kuba sirina wanyoomebwa.
Biki ebyo by’otoyogera?
Gwe ondabyeko kiki?
Ate ebirala obirekeddeyo ani?
Bye biriwa ebyo? Ndeka sirina gabyogera...
Ani akuteekamu kaasi?
Hahaha..., kati oba nkugambe ani? Ebyo nnabikugaanye.
Ssinga ofuna omusajja oyagala akukolere ki?
Njagala anfuule wanjawulo ku bantu abalala, ansoosowaze, nfuuke emmunyeenyeso.
Ate ebyenfuna?
Abasajja bangi abagagga naye tebamanyi mukwano.
Njagala omusajja ankwata nga bbebi