TOP

Abanjagala munkubire ku 0704...

Added 2nd January 2015

Kiki kino kye ndaba, sooka oggyeko gaalubindi ndabe

Kiki kino kye ndaba, sooka oggyeko gaalubindi ndabe

Ekiki ky’oyagala okwetegereza?

Weebale kunyirira, naye olya biki?

Omuceere n’enkoko.

Lwaki enviiri zo za ngerigeri?

Nnasalawo okuzikola bw’enti kubanga zinjawula ku bayimbi abalala.

Eeh…. Obwedda njogera na sereebu. Wayimba nnyimba ki?

Tulo Tulo, Muntu wange, n’olupya lwe nnatuumye Okikola otya?

Wabula olina ekitone. Amannya go amatuufu gwe
ani?

Naira Ali Nabattu wano e Masanafu.

Wano e Masanafu nago mannya go?

Obadde ki? Ntegeeza gye mbeera. 

Vidiyo z’ennyimba zo nnungi nnyo, ani akuteekamu ssente?

Tewali muntu yenna, wabula nfuba okukola ekintu ekirungi naye nga ssi kya
bbeeyi nnyo.

Olabika tolina musajja...

Nga lwaki? Nnina omwagalwa wange.

Ehh ye Muzungu gw’otera okubeera naye?

Haha…. Oyo bambi mukwano gwange ate ye nnannyini kifo kye ntera okuyimbiramu
ne bbandi yange.

Omulenzi wo wali omukubiddeyo oluyimba nga lulwe?

Oluyimba lwa ‘Sweetie’ nnaluyimbira ye.

Okola mirimu ki emirala ng’oggyeeko okuyimba?

Nkuba n’okusiiga ebifaananyi kubanga bye nasomerera e Makerere.

Baakutikira ne ddiguli, weebale kusoma. Biki ebikusanyusa
mu kuyimba?

Buli lwe nninnya ku siteegi ne mpulira abawagizi nga bayimba wamu nange. Ekyo kinkolera nnyo.

Londa ennyimba ssatu ezisinze endala mu mwaka guno?

Dilema olwa Bobi Wine, Cindy, ne Mr G. Neera olwa Radio ne Weasel, ne Sitya loss olwa Eddy Kenzo.

Bantu ki abasinze okubeerawo ku lulwo?

Hassan Kikago, Dix Promoter, Producer Rico, Dickens, abooluganda n’emikwano. 

Abakwagala bakufuna batya?
Essimu yange eri 0704 704 330,

0772 161 739

 

Abanjagala munkubire ku 0704...

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...