TOP

Bw'ompa omukwano ng'ebyange biwedde

Added 30th June 2016

Bagamba nti abawala nga ggwe temutera kukaluubiriza basajja mu by’omukwano? Ekyo kiva ku ngeri omusajja gy’ayogeramu olwo okusalawo ne kusigala gy’oli naye si nti buli akugambako ogenda bugenzi.

Okimanyi nti nkutunuulidde  n’omutima ne guntyemuka?

Nga lwaki, ky’ogamba ntiisa abasajja?

Anti onfaananidde omuntu gwe mmanyi.

Kasita okimanyi nti okufaanana si luganda.

Omubiri gwo ogukuuma otya?

Nneewa mirembe mpozzi nguliisa amatooke n’ekyennyanja.

Kale nsaba ku mmanya go ne gy’obeera?

Bwe nkubulira we mbeera ojja kuntawaanya naye nga nsangibwa Gayaza, amannya nze Cissy Namatovu Mukandooli.

Bagamba nti abawala nga ggwe temutera kukaluubiriza basajja mu by’omukwano?

Ekyo kiva ku ngeri omusajja gy’ayogeramu olwo okusalawo ne kusigala gy’oli naye si nti buli akugambako ogenda bugenzi.

Ssinga omusajja akulabikira bulungi kyokka n’atakusaba mukwano osobola okumwegambira?

Sisobola naye bwe kimpitirirako nkola kyonna ekimulaga nti andabikidde bulungi.

Okulabika obulungi ku musajja okipimira ku ki?

Ennyambala ye n’engeri gye yeeyisaamu ng’ali ne banne.

Wali oyagadde ku basajja abasukka mu omu omulundi ogumu?

Kizibu nnyo omukazi okucanga abasajja kuba kyangu omwagalwawo okukimanya era sikikolangako.

Wali oganzizza ku bba wa mukwano gwo?

Ye ng’olinga gwe bampendulidde? Sikikolangako era sisuubira kukikola.

Bintu ki ebisinga okukumalako emirembe?

Okumpaayiriza n’okunnimba binkolera ddala bubi.

Wali olimbyeko?

Engeri gyendi muntu mukulu eby’okulimba mbyewalira ddala, naye nalimbako maama n’ankuba kata anzite.

Wamulimba ki ekyakukubya?

Yatugaana okugenda ku mbaga ne twebba ne mukwano gwange ne tugenda, bwe nnakomawo n’ambuuza gye mbadde ne mulimba kyokka nga waliwo eyatulaba eyandoopayo.

Kirabo ki kye wadyagadde omwagalwawo akutonere?

Omukwano n’obwesigwa okuva mu ye tewali kirala.

Bubaka ki bw’owa abawala abali mu myaka gyo?

Beewe ekitiibwa nga beeyisa bulungi ate n’obutayanguyira nnyo basajja n’ebintu by’ensi, ekiseera ekituufu kijja.

Olwo nnyinza kukusangako wa, twogere eby’ekikulu?

Hm., kyokka abasajja!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....