
Wabula bbebi oyaka luno!
Weebale kusiima.
Wamma kituufu nti abawala abeeru abasajja babettanira?
Simanyi naye nkakasa nti buli muntu Katonda yamutonda nga yeemala ate kiva ku mutima gwa musajja okwagala omuwala nga nze oba omulala yenna.
Ggwe ky’ogamba tebakukwana?
Nga lwaki, nze omwana w’abantu omubalagavu bwenti?
Naye mukwano abeeyo bakuyita ani era olina emyaka emeka?
Ky’ogamba nti kati nfuuse mukwano gwo? Wabula abasajja! Kale nze Brenda Nampijja, nnina emyaka 21 gyokka.
Obeera wa ?
Mbeera Makindye Luwafu.
Okola mulimu ki?
Wabula obuuza, kale nnina saluuni mu kibuga kwe ngatta okutunda obuviiri bw’abakyala n’engoye. Mpozzi era njolesa n’emisono.
Ani akuteekamu kaasi?
Obadde naawe oyagala kunteekamu kaasi? Hmm, wabula nze ndi muwala eyeekolera nga nneenoonyeza ssente wabula olumu muganzi wange annyambako.
Akubiita y’ani oyo?
Nze ndeka, oyagala agayaaye gamunzibeko. Naye nga musajja mulungi ng’ate Muzungu.
Kiki ekirala ky’okola?
Njagala nnyo okuyamba abatalina mwasirizi kubanga bazadde bange bonna baafa naye waliwo abaandabirira.