TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Nnina bye mmaliriza ndyoke ndowooze laavu'

Nnina bye mmaliriza ndyoke ndowooze laavu'

Added 18th September 2016

Nnina bye mmaliriza ndyoke ndowooze laavu’

 Vickie azannya mu ‘Omwana w’endagu’ ogulagibwa ku Bukedde TV ku Mmande ekiro.

Vickie azannya mu ‘Omwana w’endagu’ ogulagibwa ku Bukedde TV ku Mmande ekiro.

SISINKANA Munnamasaka Vickie azannya mu fi rimu ‘Omwana w’endagu’ eragibwa ku Bukedde TV buli Mmande ku ssaawa 2:00 ez’ekiro.

Ag’obuzaale ye Vickie Nabukeera Mutazindwa. Muwala wa Fred Muwonge ne Victoria Nassaka ab’e Masaka. Yazaalibwa mu 1996 era alina emyaka 21.

Yasomera Holy Spirit P/S Kasangati, Blessed Sacrament Masaka ne Mt. St. Henry’s High School Mukono. Kati muyizi ku Buganda Royal Institute ng’akola byamawulire. Bw’aba tali ku siteegi, aba aweereza ku TV. Era ayimba n’ennyimba z’eddiini mu kkanisa.

Agamba nti enzannya ya Mariam Ndagire ey’okwekkiririzaamu ye yamusikiriza okwesogga katemba. Agamba ayagala azannye fi rimu afune ettutumu ng’erya Jackie Apia omuzannyi wa fi rimu z’Ebinigeria. Bw’omubuuza oba alina omulenzi amuwaana, addamu kimu nti tayagala kumanya era tanoonya.

Era agamba alina by’ayagala okusooka okumaliriza naye tabyogera! Mu fi rimu eno azannya nga Vickie omuwala wa kaliyoki atera okutabulatabula abantu naddala abeegwanyiza mukamaawe, Kevin kubanga Kevin bba wa mukwano gwe Mulungi. Vickie muzinyi mu kaliyoki ate ayagala nnyo okuleetawo obuvuyo mu bantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...