TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Sikolagana na musajja atakwata ssimu yange

Sikolagana na musajja atakwata ssimu yange

Added 13th October 2016

Sikolagana na musajja atakwata ssimu yange

Omulungi kkiriza njogereko naawe?

Tuukira ku nsonga obudde obwogera n’abantu abataakoze pulogulaamu nina butono.

Nga sinagenda wala mpozzi amannya go ggwe ani?

Gw’atasooka kubuuza bantu bakuliza wa olyoke otandikire ku mannya, kale bw’oba ky’oyagade nze Hope Natasha.

Bwe mba sikusanze ku kkubo osangibwa wa mukwano?

Mbeera mu bifo bingi era sitera kwagala kulagirirayo basajja kubanga mulemera ko,naye kale olw’okuba onsabye nsangibwa Makerere Kikoni.

Obulungi bw’oliko wayonka buyonke oba wakola bukole?

Olwo ndi mulungi nnyo?

Kale bulijjo sikimanyi ggwe osoose okukingamba, naye ewaffe tuli balungi.

Tusisinkane wa nkutwaleko okudigida kuba ekituufu mwanamuwala gwe asaanye okulya ku ssente zange?

Ssebo omuntu wange awulira atya nti waliyo omulala gwe mpepeya naye ate nga namusuubiza obutamulyamu lukwe.

 

Kati olwo olulenzi olulungi nga nze ondese wa?

Kituufu oli lulenzi lulungi era nandyagadde okukuganza naye walwawo waliwo akwasaganya ensonga gwe ndowooza nti akira abalala bonna.

Ye maama okola mulimu ki ntandike okukuwagira nga mukwano gwange?

Ndi mubazi wa ssente mu kifo ekimu wano mu Kampala.

Olwo gwe abala ennyo ssente taata bulamu wo omulaba ko ddi?

Nze sigatika mulimu na musajja era naye mufissizaawo obudde obubwe obumumala ate ne muleka nga musanyufu.

Omwagalwa wo ki ky’ayinza okukola ne kimukukyaya ?

Saagala kumukubira ssimu n’atagikwata ate n’obutanzikiriza kukebera bibeera mu ssimu ye awo mukyayirawo.

Kalabo ki ke yali akuwadde n’olayira okumufiirako emirembe gyonna?

Tewali nnyo kya maanyi naye buli lw’andaba ampisa nga bbebi ate kye mugamba okukola akinkolera mu bwangu.

Osobola okufumba ne muggyawo mu maka ge gamu?

‘Baby’ ekyo sikiyinza.

Kiki ekisinga okukusanyusa ku mubiri gwo ?

Obunnya bwange obw’oku matama bunkolera nnyo era abandaba bonna bwe basinga okunneegombako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze, Bakaluba n'abakulembeze abalala nga bajaganya olw'obuwanguzi bwa NUP obwamaanyi e Mukono.

Bakaluba Mukasa awangudde e...

Rev. Peter Bakaluba Mukasa yalangiriddwa ku buwanguzi nga ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono wakati mu mizira...

Bafaaza abazze ne ambuleera...

BAFAAZA ku Lutikko e Lubaga bacamudde abantu abeetabye mu mmisa ey'okusabira Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula,...

Swengere ne bannamawulire b...

Bannamawulire abaayimbuddwa kuliko Kasolo ng'ono aweerezza pulogulaamu y'okumakya eya Kokoliyooko ku laadiyo ya...

Katikkiro Mayiga akunze aba...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubirizza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda...

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...