
Mumbejja oba leero nasanze ani ow’omukisa?
Olabika obuze nze siri mumbejja.
Olwo weddira ki?
Neddira Ngabi, nze Desire Namatovu.
Simanyi naawe olina ekitone?
Nze nvaako naawe.
Obeera wa?
Kireka.
Amazaalibwa waakakuza
ameka?
Ga mirundi 23 gyokka.
Ani oyo eyanaaba olweza akusula ku mwoyo?
Olowooza nno mmulina?
Kati ebinusu ebikunyiriza obiggya wa?
Nze nneeteekamu, mpozzi ne ddadi wange bwe mba nnemereddwa akikolako.
Okola mulimu ki?
Nsiba nviiri ate nnina n’edduuka eritunda engoye z’abasajja e Kireka.
Ky’ogamba tofunangayo akugambako?
Bangi abansaba omukwano naye eby’abasajja nabiwummulamu.
Ky’ogamba walinako n’obivaako?
Tonzijukiza maziga ge navaamu.
Kiki kye yakukola ekyakukaabya?
Yaganza muganda wange gwe nali nsinga okubeera naye nga tanva ku lusegere.
Kika ky’abasajja ki ky’osaba Mukama obutaddamu kusisinkana?
Simanyi naye nsaba Katonda y’aba annoonyeza omusajja omutuufu.
Ky’ogamba onoonya?
Ye naye nkyasaba Mukama andeetereyo owange obw’omu.
Olwo watya nga gw’ofunye omukutte ne mukwano gwo mu kisenge?
Awo mba ntuuse okufuuka omusiisita kuba ntya okungattako.
Ssinga okizuula nti omusajja gw’olonze alina akawuka ka mukenenya ate nga ggwe tokalina okola otya?
Ensobi gye sisobola kukola kwerabira okwekebeza n’omuntu nga tetunnagenda wala.
Kintu ki ky’otosobola kugumiikiriza ku musajja?
Okungattako kinkaabya ky’ova olaba sisobola kugumiikiriza bwenzi bwa musajja.
Ssinga obadde musajja kakodyo ki ke wandikozeseza okutengula emmeeme y’omuwala omulungi nga ggwe?
Nsooka kumutwalako mu kifo eky’enjawulo awasirifu olwo ne mmwatulira kuba ekifo ekisirifu kimusobozesa okufumiitiriza ku kye mmugambye.
Kitundu ki eky’omubiri gwo ky’osinga okwebaliza Katonda?
Emimwa gyange gikuba bangi.
Kiki ky’osinza bawala banno?
Nnina omukwano ogwannamaddala.
Nsobi ki gye wali okoze mu bulamu bwo gy’okyejjusa?
Olunaku lwe nazza omusango ku ssomero ne bayita maama ne mmwegaana. Yansonyiwa naye kikyannuma.
Bubaka ki bw’owa abawala abato nga ggwe?
Beekolerere, abasajja baagala mukyala mukozi ate si buli agamba nti nkwagala aba akitegeeza, tebamala gapapa.
Kale mpa ku nnamba yo.
Mpozzi noonya Deezinamatovu ku facebook kwendi.