TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Ffeesi yange n'amaaso bitengula abasajja

Ffeesi yange n'amaaso bitengula abasajja

Added 3rd November 2016

Kitundu ki ky’osinga okwagala ku mubiri gwo? Feesi yange awamu n’amaaso buli musajja antunuulira tasigala kye kimu naye lwakuba buli anneegomba mmulaba nga sitaani kubanga tebalina mulamwa.

NALI mmanyi nti abalungi baakoma ku mulembe gwa Yesu, gwe wasigalira otya?

Ssebo ne ku mulembe Omutebi gyetuli.

Kale mbuulira ku mannya go?

Omumbejja Tasha Birungi.

Ky’ogamba oli mwana wa ηηoma?

Ekyo kituufu.

Ng’oli mukyala munyumya kitegeeza abasajja banguyirwa okwogerako naawe?

Nze sizannyirwako, olwokuba nkuwadde obudde ne njogera naawe tekitegeeza nti ndi mwangu nnyo eri abasajja.

Kati ky’ogamba tolinaayo mwana munno akuwummuza ebirowoozo ?

Ekisooka abasajja abasinga tebeesigwa, nze nkyali mwana muto saagala kwetawaanya nnyo na basajja, naye nninayo gwe nkyetegereza.

Maama nga bw’okyetegereza ekitegeeza nange eyakwegombye obwedda nnina omukisa okutandikira wano ne tugenda mu maaso?

Nga bwe nakugambye nti abasajja temwesigika naawe tolina njawulolo na balala era totawaana obudde nkyabuwadde oli gwe nkyetegereza.

Nga bwe nkusanze wano leero nnyinza kuddamu kukusangako wa?

 Sirowooza nti olina ensonga endala gy’onjagaza naye bw’oba olina ky’oyagala twogereko nga kikwatagana na bya mirimu onsanga Kawempe.

Okola mulimu ki?

Nkyasoma mu ttendekero erimu mu Kampala, wabula nga ngattako n’okuzannya katemba n’okuyimba.

Ozannyira mu kibiina ki?

Ndi mu bibiina bingi sinnafunako kya nkalakkalira.

Naye olwo omubiri bwe gubanja okola otya?

Nze nkyali bbebi era sirina bimmanja naye bwe nnaatuuka mu kiseera ekituufu ebyo byonna nja kutandika okubifunira eky’okukola, naye kati sirina bintawaanya.

Muyimbi ki gw’osinga okwegomba?

David Lutalo ankolera nnyo.

 Kitundu ki ky’osinga okwagala ku mubiri gwo?

Feesi yange awamu n’amaaso buli musajja antunuulira tasigala kye kimu naye lwakuba buli anneegomba mmulaba nga sitaani kubanga tebalina mulamwa.

Olaba otya bwe nfuuka maneja wo?

Nja kwerowooza naye bw’ofuna omukisa ne nkuyita njagala okole kikuleese kyokka saagala olowooze nti ogenda kukwataganya ebintu ebirala.

 Abawagizi bo bakufunira ku ssimu ki?

Ayagala okwogerako nange genda ku mutimbagano ojja kunsanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...