TOP

Nze ku musajja ntabuka

Added 22nd November 2016

Abasajja b'e Uganda abasinga bayaaye ate tebalina mukwano gwa nnamaddala.

 Wayezu

Wayezu

GYEBALEKO nnyabo? Kale Ssebo naawe gyebale.

Nsaba kumbuulira ku mannya go? Nze Sylivia Wayezu.

Mpozzi Wayezu beddira ki? Nze sirina muziro ndi w’e Kigali.

Kati babuuza batya mu Lunyalwanda? Bagamba “Omezute”

Kati tudde mu Luganda. Olina emyaka emeka ? 21 gyokka.

Obeera wa? Mbeera wano e Nansana.

Okola mulimu ki? Ndi muyimbi muto ate nnina ne saluuni gye nzirukanya.

Ali atya akusula ku mwoyo? Gyali, talina buzibu.

Abasajja b’e Uganda obasanze otya? Si bangu.

Ate batya? Abasinga bayaaye ate tebalina mukwano gwa nnamaddala.

Waliwo eyali akulaze ku by’ekiyaaye? Abo be bangi naye kati nababuuka nafunayo omu yekka gwe ngumirako.

 

Kiki ky’osinga obutayagala ku musajja? Ssaagala musajja ankwana ng’akwatirira.

Wamma kituufu abawala abava e Rwanda mubeera n’obusungu bungi? Ekyo si kituufu naffe tulinga abantu abalala.

Kati ggwe kiki ekiyinza okukunyiiza n’olwana? Nze ku musajja ntabuka era naye akimanyi.

Bw’osanga omulenzi wo mu kikolwa n’omukazi omulala okola otya? Haaaaaa, tokyogera kubanga simanyi naye bwe mba n’ekissi nsobola okumutta olw’obusungu kubanga mmwaagala nnyo.

Ekitegeeza toli mwangu? Ebirala ndi mwangu naye ku musajja sisaaga.

Totya kulabikira ku Gataliiko Nfuufu nti wasse omusajja? Ago amawulire nze nsinga okugatya naye bwe kiba kyetaagisa kulabikirako nga nnwaanira musajja wange sifaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...